bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 50
Genesis 50
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
1
Yozefu ne yeesuula ku kitaawe nga bw'akaaba n'okumunywegera.
2
N'alagira abasawo be abamuweereza bazirage kitaawe Yisirayeli.
3
Ne bamuziraga, ne kibatwalira ennaku amakumi ana, kubanga lino lye bbanga okuziraga lye kwatwalanga. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo ennaku nsanvu.
4
Ennaku ez'okukungubaga bwe zaggwa, Yozefu n'agamba ab'omu lubiri lwa Faraawo nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso gammwe, muŋŋambire Faraawo nti:
5
‘Kitange yandayiza n'agamba nti: “Wuuno nfa; onziikanga mu ntaana yange gye neesimira mu nsi Kanaani.” Kale nno nzikiriza nyambuke nziike kitange, nkomewo.’ ”
6
Faraawo n'amugamba nti: “Yambuka oziike kitaawo, nga bwe yakulayiza.”
7
Yozefu n'ayambuka okuziika kitaawe. Abakungu ba Faraawo bonna baagenda naye, abeebitiibwa bonna ab'omu lubiri ne mu nsi yonna ey'e Misiri,
8
n'ennyumba ya Yozefu yonna, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe. Abaasigala bokka be baana abato, endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo baabireka mu nsi y'e Goseni.
9
Abavuzi b'ebigaali n'abeebagazi b'embalaasi baayambuka naye. Kyali kibinja kinene nnyo.
10
Bwe baatuuka e Goreni-Atadi, ekiri emitala wa Yorudani, ne balira mu miranga egy'omwanguka, eminene ennyo. Yozefu n'akungubagira awo kitaawe okumala ennaku musanvu.
11
Abakanaani ab'omu kitundu ekyo bwe baalaba enkungubaga eyo e Goreni-Atadi, ne bagamba nti: “Kuno okukungubaga kwa kitiibwa Abamisiri kwe bakola” Ekifo ekyo emitala wa Yorudani kyebaava bakituuma Abeli-Mizurayimu.
12
Batabani ba Yakobo baakola nga bwe yali abalagidde.
13
Baamutwala mu nsi Kanaani ne bamuziika mu mpuku y'e Makupela, Yiburayimu gye yali agulidde mu nnimiro ebeere obutaka bwe obw'okuziikangamu. Yagigula ku Efuroni Omukitti okumpi ne Mamure.
14
Yozefu bwe yamala okuziika kitaawe, n'akomawo mu Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaali bambuse naye okuziika kitaawe.
15
Baganda ba Yozefu bwe baalaba nga kitaabwe afudde ne balowooza nti: “Sikulwa nga Yozefu atuyigganya n'ayagala okwesasuza olw'ebibi byonna bye twamukola.”
16
Awo ne baweereza Yozefu obubaka nti: “Kitaawo nga tannafa yatulagira nti:
17
‘Bino bye mugambanga Yozefu nti: Nkwegayiridde, sonyiwa baganda bo ebisobyo n'ebibi bye baakola bwe baakuyisa obubi, naffe tukwegayirira osonyiwe ekisobyo ekyo abaweereza ba Katonda wa kitaawo.’ ” Yozefu n'akaaba olw'ebigambo bye baamugamba.
18
Era baganda be ne bajja gy'ali ne bagwa wansi mu maaso ge, ne bagamba nti: “Tuli baddu bo.”
19
Ye n'abaanukula nti: “Muleme kutya. Nnyinza okwessa mu kifo kya Katonda?
20
Mmwe mwagenderera kunkola bubi, ye Katonda n'akiviisaamu ekirungi, alyoke atuukirize ekiriwo: okuwonya abantu abangi.
21
Awo nno muleke kutya. Nze nzija kubalabirira, mmwe n'abaana bammwe.” N'abagumya, n'ayogera nabo na kisa.
22
Yozefu n'abeera mu Misiri wamu n'ennyumba ya kitaawe yonna; Yozefu yawangaala emyaka kikumi mu kkumi.
23
N'alaba batabani ba Efurayimu okutuuka ku bazzukulu bannakasatwe; ne batabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, baazaalirwa ku maviivi ga Yozefu.
24
Awo n'agamba baganda be nti: “Nnaatera okufa. Kituufu Katonda agenda kubalambula, abaggye mu nsi eno abambuse mu nsi gye yalayirira Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.”
25
Yozefu n'alayiza batabani ba Yisirayeli nti: “Kituufu Katonda alibalambula; amagumba gange mugambusanga okuva wano.”
26
Yozefu n'afa ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamuziraga ne bamussa mu ssanduuku mu Misiri.
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50