bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 4
Genesis 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
1
Omusajja n'amanya Eva mukazi we; Eva n'afuna olubuto n'azaala Kayini, n'agamba nti: “Nfunye omusajja n'obuyambi bw'Omukama.”
2
N'ayongera n'azaala Abeli muganda wa Kayini. Abeli yali mulunzi wa ndiga, Kayini ye nga mulimi.
3
Nga wayiseewo ebbanga, Kayini n'aleeta ebimu ku bibala eby'omu ttaka okuweereza Omukama.
4
Ne Abeli naye n'aleeta ku biggulanda eby'omu kisibo kye ne ku masavu gaabyo. Omukama n'asanyukira Abeli n'ekitone kye.
5
Naye Omukama teyasanyukira Kayini n'ekitone kye. Kayini n'asunguwala nnyo, n'anakuwala.
6
Omukama n'agamba Kayini nti: “Lwaki osunguwadde? Lwaki onakuwadde?
7
Bw'onooba okoze bulungi toosiimibwe? Naye kati okoze bubi; ekibi kyebakiridde ku mulyango, kyegomba okukwezza, naye ggwe wandikifuze.”
8
Olumu Kayini n'agamba Abeli muganda we nti: “Tugendeko mu nnimiro.” Baali bali eyo mu nnimiro, Kayini n'agwira Abeli muganda we n'amutta.
9
Omukama n'abuuza Kayini nti: “Abeli muganda wo ali ludda wa?” Ye n'ayanukula nti: “Simanyi. Nze nkuuma muganda wange?”
10
Omukama n'amugamba nti: “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gulaajanidde gye ndi nga guyima mu ttaka.
11
Kale nno ovumiriddwa, ogobeddwa ku ttaka eryayasamye ne limira omusaayi gwa muganda wo nga liguggya mu mikono gyo.
12
Bw'onoolimanga, ettaka teriikubalizenga bibala byalyo; ku nsi onoobanga mubungeese.”
13
Kayini n'agamba Omukama nti: “Ekibonerezo kyange kinene, kimpitiridde.
14
Wuuno olwa leero ongobye ku ttaka, nzija kukisibwa amaaso go, era ne mu nsi nnaabanga mubungeese era emmomboze. Buli alinsanga, alitta bussi.”
15
Omukama n'amugamba nti: “Si bwe kijja okuba n'akatono; wabula, buli yenna alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Omukama n'assa akabonero ku Kayini, buli yenna amusanga, aleme kumutta.
16
Kayini n'ava mu maaso ga Katonda, n'asenga mu nsi Nodi ebuvanjuba wa Edeni.
17
Kayini yamanya mukazi we, n'abeera olubuto, n'azaala Enoki. Yali azimba ekibuga, kwe kukituuma erinnya lya mutabani we Enoki.
18
Enoki yazaala Yiradi ne Yiradi n'azaala Mekuyeeli, ne Mekuyeeli n'azaala Metusayeli ne Metusayeli n'azaala Lameki.
19
Lameki n'awasa abakazi babiri: erinnya ly'asooka ye Ada, n'ery'omulala ye Zilla.
20
Ada yazaala Yabali: ye kitaabwe w'abo abasula mu weema era abalunzi.
21
Erinnya lya muganda we ye Yubali: ye kitaawe wa bonna abayimba ku nnanga n'abafuuwa endere.
22
Ne Zilla n'azaala Tubali Kayini eyali omuweesi w'ebikozesebwa byonna eby'ekikomo n'ekyuma. Mwannyina Tubali Kayini nga ye Naama.
23
Lameki n'agamba bakazi be nti: “Ada ne Zilla, muwulire eddoboozi lyange, bakazi ba Lameki, muwulirize ebigambo byange: Natta omusajja olw'ekiwundu kye yanteekako, omuvubuka olw'obuvune bwe yanzisaako.
24
Oba ku Kayini okuwoolera eggwanga kwa mirundi musanvu ku Lameki kwa nsanvu emirundi musanvu.”
25
Adamu n'addamu n'amanya mukazi we, n'azaala omwana mulenzi; yamutuuma Seti, ng'agamba nti: “Katonda anteereddewo ezzadde eddala mu kifo kya Abeli; kubanga Kayini yamutta.”
26
Ne Seti n'afuna omwana wa bulenzi, n'amutuuma Enosi. Mu bbanga eryo abantu we baatandikira okukoowoola erinnya ly'Omukama.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50