bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 48
Genesis 48
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
1
Ebbanga nga liyiseewo, ne babuulira Yozefu nti: “Kitaawo mulwadde.” N'agenda ng'atutte ne batabani be ababiri Manasse ne Efurayimu.
2
Ne bategeeza Yakobo nti: “Mutabani wo Yozefu wuuno azze gy'oli.” Yisirayeli ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda.
3
Yakobo n'agamba Yozefu nti: “Katonda Omuyinza wa buli kantu yandabikira e Luzi ekiri mu Kanaani n'ampa omukisa,
4
n'aŋŋamba nti: ‘Nzija kukuwa ozaale, weeyongere obungi; nzija kukuggyamu eggwanga ly'abantu; ŋŋenda kukuwa ensi eno n'ezzadde lyo eririkuddirira ebeere yammwe emirembe gyonna.’
5
Awo nno batabani bo ababiri abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnajja kuno gy'oli, bajja kubalibwa ng'abange; Efurayimu ne Manasse baliba bange nga Rubeni ne Simewoni bwe bali.
6
Abalala b'oliba ozadde ne badda ku bano baliba babo, naye balituumibwa amannya mu busika bwabwe nga babbulwa mu baganda baabwe, Efurayimu ne Manasse.
7
“Bwe nali nva e Paddani, nnyoko Rakeli n'anfaako mu nsi Kanaani bwe twali nga tusigazizzaayo ebbanga ttono okutuuka e Efurati. Ne mmuziika awo ku kkubo erigenda e Efurati, kati ye Beteleemu.”
8
Yisirayeli bwe yalaba batabani ba Yozefu, n'amubuuza nti: “Bano baani?”
9
Yozefu n'agamba kitaawe nti: “Be batabani bange Katonda be yampeera mu kifo kino.” N'agamba nti: “Baleete wano, mbawe omukisa.”
10
Amaaso ga Yisirayeli gaali gatandise okuzitowa olw'obukadde, nga tasobola kulaba. Yozefu n'asembeza abaana gy'ali, n'abanywegera, n'abawambaatira.
11
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo ne nkulabako, naye Katonda anzikirizza n'okulaba ku zzadde lyo.”
12
Yozefu n'abaggya ku mubiri gwa kitaawe, n'akutama ku ttaka.
13
Yozefu bombi ng'abakutte, n'ateeka Efurayimu ku gwa ddyo gwe, gwe gwa kkono ogwa kitaawe, Manasse n'amussa ku gwa kkono, gwe gwa ddyo ogwa kitaawe. Bombi n'abamusembereza.
14
Naye Yisirayeli emikono gye n'agiyisiŋŋanya; bwe yagolola ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu newandibadde nga ye muto ku muganda we, ate ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manasse sso nga ye muggulanda.
15
Yakobo n'awa Yozefu omukisa, n'agamba nti: “Katonda bajjajjange Yiburayimu ne Yizaake gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda abadde omusumba wange obulamu bwange bwonna n'okutuusa ku lunaku lwa leero,
16
Malayika eyamponya obubenje bwonna, awe omukisa abaana bano. Erinnya lyange n'aga bajjajjange Yiburayimu ne Yizaake gabbulirwenga mu bo. Baale, babe bangi mu nsi.”
17
Yozefu bwe yalaba nga kitaawe ogwa ddyo agutadde ku mutwe gwa Efurayimu, ne kitamusanyusa. N'akwata omukono gwa kitaawe aguggye ku mutwe gwa Efurayimu agusse ku gwa Manasse.
18
Yozefu n'agamba kitaawe nti: “Si bwe kityo, kitange, ono ye muggulanda; omukono gwo ogwa ddyo guteeke ku mutwe gwe.”
19
Ye n'agaana, n'agamba nti: “Mmanyi mwana wange, mmanyi. N'ono alivaamu eggwanga ly'abantu, era aliba mututumufu, naye muto we y'alitutumuka okumusinga, n'ezzadde lye lirivaamu ebbiina ly'amawanga.”
20
N'abawa omukisa ku olwo ng'agamba nti: “Yisirayeli anaawanga omukisa nga yeeyamba erinnya lyo nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse.
21
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Wuuno nze nfa, Katonda ajja kubeera nammwe, alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
22
Ggwe, kubanga okira baganda bo, nkuwadde Sekemu, gwe nawamba ku Baamori n'ekitala n'akasaale kange.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50