bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 33
Genesis 33
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
1
Yakobo bwe yasitula amaaso, laba n'alaba Ezawu. Yali ajja n'abasajja ebikumi bina; Yakobo abaana be n'agenda ng'abassa abamu ne Leya, abalala ne Rakeli n'abandi n'abaweereza baabwe.
2
Abazaana bombi ne batabani baabwe n'abakulembezaamu, Leya ne batabani be ne baddako, Rakeli ne Yozefu ne bakoobera.
3
Ye n'akulemberamu, n'agenda ng'avunnama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we.
4
Naye muganda we Ezawu n'addukanako okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, ne bakaaba.
5
Ezawu bwe yasitula amaaso n'alaba abakazi n'abaana baabwe n'agamba nti: “Bano baani abali naawe?” N'ayanukula nti: “Be baana, Katonda be yawa omuweereza wo olw'ekisa.”
6
Abazaana n'abaana baabwe bwe baasembera, ne bavunnama.
7
Ne Leya n'asembera n'abaana be, nabo ne bavunnama; Yozefu ne Rakeli be baasembayo, nabo ne bavunnama.
8
Ezawu n'agamba nti: “Kino kyonna ekibinja kye nsisinkanye kyaki?” Yakobo n'ayanukula nti: “Ndyoke nsange ekisa mu maaso go, mukama wange.”
9
Naye Ezawu n'agamba nti: “Muganda wange, nnina bingi, ebibyo byesigalize.”
10
Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, nedda. Obanga nsanze ekisa mu maaso go, ekirabo kyange kiggye mu mikono gyange okitwale; mu mazima nze okulaba amaaso go, mbadde ng'alabye amaaso ga Katonda, omaze n'onsanyukira.
11
Nkwegayiridde, kkiriza ekirabo ekikuleeteddwa, kubanga Katonda yansaasira; nnina byonna bye neetaaga.” Yakobo bwe yamusindirira, n'akkiriza.
12
Ezawu n'agamba nti: “Tutambule; ka ŋŋende nammwe.”
13
Yakobo n'agamba nti: “Mukama wange, omanyi nnina abaana abakyali abato, nnina endiga n'ente eziyonsa; bwe zinaagobwa ekiyitiridde, ne bwe lunaaba lunaku lumu luti, eggana lyonna lijja kufa.
14
Mukama wange leka akulemberemu omuweereza we; nange najja mpola nga ngoberera amagana okutuukana ne bwe gasobola okwanguwa, era n'abaana abato, okutuusa lwe nnaatuuka mu Seyiri, mukama wange.”
15
Ezawu n'ayanukula nti: “Nkwegayiridde, ka nkulekere abamu ku bantu be ndi nabo.” Yakobo n'agamba nti: “Lwaki ate? Singa nno nsanze ekisa mu maaso go.”
16
Ezawu n'addayo ewaabwe mu Seyiri ku olwo.
17
Yakobo n'alaga e Sukkoti, ne yeezimbirayo ennyumba, n'amagana ge n'agateekerayo weema; ekifo ekyo kwe kukituuma Sukkoti.
18
Yakobo bwe yava e Paddani-Aramu, n'atuuka mirembe mu kibuga Sekemu eky'omu Kanaani, n'asiisira kumpi n'ekibuga.
19
N'agulawo ekitundu ky'ettaka mwe yali atadde weema ye; yakigula ku batabani ba Kamori kitaawe wa Sekemu; yasasula ebitundu bya ffeeza kikumi.
20
N'azimbayo omwaliiro n'aguwa erinnya 'Katonda, Katonda wa Yisirayeli'.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50