bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 37
Genesis 37
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
1
Ye Yakobo yabeeranga mu nsi Kanaani kitaawe mwe yali asenze.
2
Kino kye kifaayo kya Yakobo. Yozefu bwe yali akyali mulenzi muto, ng'aweza emyaka kkumi na musanvu, yali alunda amagana wamu ne baganda be batabani ba Biluwa ne Zilupa bakazi ba kitaawe, n'aloopa baganda be eri kitaabwe.
3
Yakobo yayagalanga Yozefu okusinga abaana be bonna, kubanga yali mwana we eyamuzaalirwa mu bukadde, n'amutungira ekkanzu ey'amajjolobera.
4
Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga batabani be bonna, ne bamukyawa nga tebakyasobola kwogera naye mu ddembe.
5
Olumu Yozefu yaloota ekirooto, bwe yakinyumizaako baganda be, ne bamukyawa okusingawo.
6
Yabagamba nti: “Muwulire ekirooto kyange kye naloose:
7
Twabadde tusiba emiganda gy'eŋŋano mu nnimiro, ogwange amangu ago ne gusituka ne gwesimba, egyammwe emiganda ne gigwetooloola ne giguvunnamira.”
8
Baganda be ne baanukula nti: “Ggwe oliba kabaka waffe? Ggwe olitufuga?” Ne bongera okumukyawa olw'ebirooto n'ebigambo bye.
9
Yalootayo n'ekirooto ekirala n'akinyumiza baganda be nti: “Mu kirooto nalabye enjuba, omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binsinza.”
10
Bwe yakinyumiza kitaawe ne baganda be, kitaawe n'amukomako n'agamba nti: “Ekirooto kino kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulikuvunnamira ku ttaka?”
11
Olw'ekyo baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye ye kitaawe ekigambo ekyo n'akikuuma mu birowoozo.
12
Olumu baganda be baagenda okulunda amagana ga kitaabwe okumpi n'e Sekemu,
13
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Baganda bo balunda endiga kumpi n'e Sekemu, jjangu, ka nkutume gye bali.” Ye n'ayanukula nti: “Neetegese.”
14
N'amugamba nti: “Genda, olabe baganda bo nga bwe bali n'amagana nga bwe gali, ate okomewo ombuulire ebifaayo.” N'amutuma ng'asinziira mu kiwonvu ky'e Keburoni; Yakobo n'agenda e Sekemu.
15
Omusajja n'amusanga ng'atangatanga ku ttale, n'amubuuza nti: “Onoonya ki?”
16
Ye n'ayanukula nti: “Nnoonya baganda bange; nnyamba ombuulire gye balundira endiga.”
17
Omusajja n'amugamba nti: “Wano baavuddewo; nawulidde bagamba nti: ‘Tugende e Dotani.’ ” Yozefu n'awondera baganda be, n'abasanga e Dotani.
18
Bwe yali akyaliko wala ne bamulengera; yali tannabatuuka ne basala olukwe bamutte.
19
Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja.
20
Mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe yamulya.’ Kale tuliraba ekiriva mu birooto bye.”
21
Rubeni bwe yakiwulira, n'ayagala okumuwonya mu mikono gyabwe.
22
Rubeni n'agamba nti: “Tuleme kumutta. Muleme kuyiwa musaayi; mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumussaako mukono gwammwe.” Yali ayagala kumuggya mu mikono gyabwe amuddize kitaawe.
23
Yozefu olwali okutuuka, baganda be ne bamwambula ekkanzu ye, ekkanzu ey'amajjolobera gye yali ayambadde,
24
ne bamusuula mu kinnya; kyali kikalu nga temuli mazzi.
25
Bwe baali batudde balya emmere, bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky'abasuubuzi Abayisimayeli nga bava e Gileyaadi, eŋŋamiya zaabwe nga zeetisse ebirungo, amasanda ag'eddagala n'obubaani obwa mirra nga zibitwala mu Misiri.
26
Yuda n'agamba baganda be nti: “Bwe tunatta muganda waffe ne tukweka omusaayi gwe kinaatugasa ki?
27
Mugire tumuguze Abayisimayeli mu kifo ky'okumutta, anti muganda waffe, mubiri gwaffe, musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
28
Abasuubuzi Abamidiyaani baali bayitawo, ne basikayo Yozefu mu kinnya, ne bamuguza Abayisimayeli ebitundu bya ffeeza amakumi abiri. Bo ne bamutwala mu Misiri.
29
Rubeni agenda okudda ku kinnya, yasanga Yozefu taliimu,
30
n'ayuza ebyambalo bye, n'agenda eri baganda be n'abagamba nti: “Omwana taliimu, nze nnadda wa?”
31
Ne batta embuzi ennume, ne baddira ekkanzu ye ne baginnyika mu musaayi gwayo;
32
ne batwala ekkanzu ey'amajjolobera eri kitaabwe, ne bagamba nti: “Tusanze kino; laba oba ye kkanzu ya mutabani wo, oba nedda.”
33
Kitaawe n'agitegeera, n'agamba nti: “Kkanzu ya mwana wange. Ensolo enkambwe yamulya, ekisolo kyamutaagula.”
34
N'ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akaabira omwana we.
35
Batabani be ne bawala be bonna ne bajja bakubagize kitaabwe; n'agaana okukubagizibwa; n'agamba nti: “Nedda! Ndiserengeta mu magombe eri omwana wange nga ndira.” Kitaawe n'amukaabira.
36
Bo Abamidiyaani Yozefu ne bamutunda mu Misiri, ne bamuguza Potifari omukungu wa Faraawo, omukulu w'abakuumi be.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50