bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 45
Genesis 45
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
1
Yozefu yali takyasobola kwefuga mu maaso g'abaweereza be bonna, n'akangula eddoboozi nti: “Buli omu afulume.” Bwe yeeyanjulira baganda be, tewaaliwo mulala yenna.
2
Naye bwe yakaaba n'akuba omulanga, Abamisiri bonna ne bamuwulira, n'amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo.
3
Yozefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yozefu. Kitange akyaliyo mulamu?” Naye baganda be ne batasobola kumwanukula kubanga baali basobeddwa w'ali.
4
Ye n'abayita nti: “Musembere we ndi.” Ne basembera. N'agamba nti: “Nze Yozefu, muganda wammwe gwe mwatunda mu Misiri.
5
Muleke kunakuwala, temunyiiga okulaba nga mwantunda eno. Katonda yabansoosa eno mu Misiri mponye obulamu bwammwe.
6
Gino emyaka ebiri bukya njala egwa mu nsi; ate wakyaliyo emyaka etaano nga tewali kulima wadde okukungula.
7
Katonda yabansoosa eno abateerewo ab'okusigalawo mu nsi, awonye obulamu bwammwe mu ngeri ey'ekitalo.
8
Awo nno si mmwe mwansindika eno, wabula Katonda. Anfudde kitaawe wa Faraawo, mukama w'amaka ge gonna, era omufuzi w'ensi yonna ey'e Misiri.
9
“Mwanguweeko mudde eri kitange, mumugambe nti: ‘Mutabani wo Yozefu agambye nti: “Katonda yanfuula mukama wa Misiri yonna. Tolwa, serengeta ojje eno gye ndi.
10
Ojja kusenga mu nsi Goseni, okumpi nange, ggwe n'abaana bo ne bazzukulu bo, endiga zo n'ente zo, n'eby'obugagga bwo byonna.
11
Nzija kukulabirira, anti wakyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala, sikulwa nga ggwe, ennyumba yo n'ababo mwenna mujeera.” ’
12
Mulabye n'amaaso gammwe, ne muganda wange Benyamiini naye andabye, nti nzennyini, nze njogera gye muli.
13
Mubuulire kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri na byonna bye mulabye. Mwanguweeko, kitange mumuserengese mangu wano.”
14
Awo n'awambaatira Benyamiini muganda we, n'akaaba, ne Benyamiini naye n'amuwambaatira ng'akaaba.
15
Yozefu n'agenda ng'anywegera baganda be bonna nga bw'akaabira ku buli omu. Oluvannyuma lw'ekyo baganda be ne boogera naye.
16
Amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo nti: “Baganda ba Yozefu bazze.” Faraawo n'asanyuka n'abakungu be bonna.
17
Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mukole kino: mutikke ensolo zammwe, muddeeyo mu nsi Kanaani,
18
muggyeyo kitammwe n'amaka gammwe, mukomeewo gye ndi. Nzija kubawa ekitundu ky'e Misiri ekisinga obulungi, mulyenga ku bugimu bw'ensi.’
19
Era balagire nti: ‘Mukole kino: mutwale ebigaali okuva mu nsi y'e Misiri, bireete abaana bammwe n'abakazi, muleete ne kitammwe, mudde.
20
Temufa ku byammwe, kubanga byonna ebya Misiri ebisinga obulungi biriba byammwe.’ ”
21
Batabani ba Yisirayeli ne bakola batyo. Yozefu yabawa ebigaali nga Faraawo bwe yalagira, n'entanda ey'omu lugendo.
22
Yalagira buli omu aweebwe omuteeko gw'ebyambalo ebiggya. Benyamiini yamuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiggya bitaano.
23
Ne kitaawe n'amuweereza endogoyi kkumi, nga zeetisse ku buli kirungi ekisangibwa mu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi nga zeetisse eŋŋano, emigaati n'entanda eya kitaabwe bw'aliba ajja.
24
N'asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n'abakomekkereza nti: “Temuyombera mu kkubo.”
25
Ne bambuka nga bava mu Misiri, ne batuuka mu nsi Kanaani ewa kitaabwe Yakobo,
26
ne bamubuulira nti: “Yozefu akyali mulamu; y'afuga ensi y'e Misiri yonna.” Yakobo n'azirika; yali takkiriza kye bagamba.
27
Naye bwe baamubuulira byonna Yozefu bye yali abagambye, era bwe yalaba ebigaali bye yaweereza okumukima, olwo omutima gwa kitaabwe Yakobo ne gudda engulu.
28
Yisirayeli n'agamba nti: “Ekyo kimala. Omwana wange Yozefu akyali mulamu. Nteekwa okugenda mmulabeko nga sinnafa.”
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50