bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 30
Genesis 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
1
Rakeli yalaba tazaala, n'akwatirwa muganda we obuggya, n'agamba bba nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nzija kufa!”
2
Obusungu bwa Yakobo ne bweserera ku Rakeli, n'amugamba nti: “Nze gw'oyise Katonda akummye omwana mu lubuto lwo?”
3
Ko Rakeli nti: “Omuzaana wange Biluwa wuuno; weebake naye, anzaalire abaana, nange nfunire mu ye ezzadde.”
4
Rakeli n'awa Yakobo Biluwa omuzaana we abeere mukazi we. Yakobo ne yeebaka naye.
5
N'afuna olubuto n'azaalira Yakobo omwana omulenzi.
6
Rakeli n'agamba nti: “Katonda anejjeerezza n'awulira okwegayirira kwange n'ampa omwana ow'obulenzi;” olw'ekyo n'amutuuma Daani.
7
Biluwa omuzaana wa Rakeli n'aba olubuto omulundi omulala, n'azaalira Yakobo omwana omulala ow'obulenzi.
8
Rakeli n'agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange entalo za Katonda, ne mpangula;” n'amutuuma Nafutali.
9
Leya bwe yawulira muli ng'akomye okuzaala, n'addira omuzaana we Zilupa n'amuwa Yakobo abeere mukazi we.
10
Zilupa n'azaalira Yakobo omwana omulenzi.
11
Leya n'agamba nti: “Omukisa omulungi guno;” n'amutuuma Gaadi.
12
Zilupa omuzaana wa Leya n'azaalira Yakobo omwana omulenzi owookubiri.
13
Leya n'agamba nti: “Nga neesiimye! Abakazi bajja kunneesiimisanga;” kwe kumutuuma Aseeri.
14
Olwatuuka, mu budde obw'okusala eŋŋano, Rubeni n'agenda, n'asanga mu nnimiro nakati; n'amutwalira nnyina Leya. Rakeli n'agamba nti: “Mpa ku nakati w'omwana wo.”
15
Oli n'ayanukula nti: “Bbaffe wamwekomya, ekyo tekikumalira; ate ne nakati wa mutabani wange omuntwaleko?” Ko Rakeli nti: “Kale ekiro kino, yeebake naawe olwa nakati wa mutabani wo.”
16
Akawungeezi, Yakobo yali ava mu nnimiro, Leya n'agenda okumusisinkana, n'amugamba nti: “Ojja kwebaka nange, kubanga nakuguze ne nakati wa mutabani wange.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo.
17
Katonda n'awulira Leya, n'aba olubuto n'azaalira Yakobo omwana owookutaano;
18
n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera, kubanga baze namuwa omuzaana wange;” omwana n'amutuuma Yissakari.
19
Leya n'addamu okuba olubuto n'azaalira Yakobo omwana omulenzi owoomukaga.
20
Leya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo ekirungi: leero baze ananteekamu ekitiibwa olw'okumuzaalira abaana omukaaga;” kyeyava amutuuma Zebuluni.
21
Oluvannyuma yazaalayo omuwala, n'amutuuma Dina.
22
Katonda n'ajjukira Rakeli; Katonda n'amuwulira, n'amuggula olubuto.
23
Yabeera olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Katonda aggyeewo ensonyi zange.”
24
N'amutuuma Yozefu ng'agamba nti: “Omukama annyongereyo omwana omulala.”
25
Rakeli bwe yamala okuzaala Yozefu, Yakobo n'agamba Labani nti: “Ndeka, nzireyo ewaffe mu nsi yange.
26
Mpa bakazi bange n'abaana bange be nakolerera ewuwo, ŋŋende, naawe omanyi bulungi omulimu gwe nkukoledde.”
27
Labani n'amugamba nti: “ Obanga nsanze ekisa mu maaso go, anti nalagulwa nti: ‘Katonda ampadde omukisa olw'okubeera ggwe,’
28
mbuulira empeera yo nkusasule.”
29
Ye n'amwanukula nti: “Omanyi nga bwe nakuweereza, n'amagana go engeri gye geeyongeramu nga nkyagakuttemu.
30
Nali sinnajja wuwo, walina bitono, naye kati byeyongedde obungi; Omukama akuwadde omukisa buli wonna we mbadde. Naye nze nditandika ddi okukolerera amaka gange?”
31
Labani n'agamba nti: “Nnaakuwa ki?” Ko ye nti: “Tojja kubaako ky'ompa. Kino kyokka kye nsaba onkolere: ndeka nziremu okulunda, n'okukuuma amagana go.
32
Ka mpiteeyite mu magana go gonna olwa leero ŋŋende nga nnondamu endiga zonna eza bujjagijjagi n'eza bitanga, n'obuliga bwonna obuddugavu, n'embuzi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, zino y'eneebanga empeera yange.
33
Gye bujja obutuukirivu bwange bulinjulira; bw'onojja okulambula empeera yange, zonna mu mbuzi z'onoosanga nga si za bujjagijjagi, oba nga si za bitanga, oba endiga nga si nzirugavu, zinaaba nzibe.”
34
Labani n'agamba nti: “Nzikirizza, ky'osaba kikolebwe nga bw'ogambye.”
35
Ku olwo embuzi ennume ezirina ebiba n'eza bitanga, n'enkazi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, na buli eyaliko ebbala eryeru, ne mu ndiga buli yonna eyali enzirugavu, zonna ezo Labani n'azikwasa batabani be.
36
Awo ne yeesuulaganya ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo. Ye Yakobo n'ayongera okulundanga amagana ga Labani.
37
Yakobo n'addira amatabi amabisi ag'omweramannyo, alimondi n'arumoni n'agenda ng'agasalamu ebikuubo okutuusa okulaga ekyeru eky'omunda mu matabi.
38
Emiggo gye yasusumbula n'agissa mu maaso g'ebyesero ku nsalosalo omwafukibwanga amazzi, amagana bwe gajjanga okunywa, ganywe nga gatunuulidde emiggo egyo; ensolo zaateranga kuwaka nga zizze okunywa.
39
Bwe zityo zawakanga zitunuulidde emiggo egyo, ne zizaala ento ez'ebiba, eza bijjagijjagi n'eza bitanga.
40
Yakobo obuliga yabwawulamu n'abussa waabwo, eggana n'alissa we litunuulirira eza Labani ez'ebiba n'enzirugavu. Bw'atyo amagana agage n'agassa waago, n'atagassa wamu na ga Labani.
41
Enkazi ez'amaanyi bwe zaabanga ziwaka, ng'ateeka emiggo giri mu nsalosalo z'amazzi ziryoke ziwake nga zigitunuulidde.
42
Bwe zaabanga ennafu nga tassaayo miggo. Bwe kityo ennafu nga ze zibeera eza Labani, ez'amaanyi nga za Yakobo.
43
Yakobo bw'atyo n'agaggawala nnyo nnyo, amagana n'afuna nkumu, ssaako abazaana, abaddu, eŋŋamiya, n'endogoyi.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50