bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 32
Genesis 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
1
Labani bwe yazuukuka ku makya, n'anywegera batabani be ne bawala be, n'abawa omukisa n'addayo ewaabwe.
2
Yakobo naye n'agenda; bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
3
Bwe yabalaba, n'agamba nti: “Zino nsiisira za Katonda!” Ekifo n'akituuma Makanayimu.
4
Yakobo n'asindika ababaka bamwesooke ewa Ezawu muganda we mu nsi y'e Seyiri mu Edomu.
5
N'abalagira nti: “Mukama wange Ezawu bino bye muba mumugamba, nti: ‘Omuweereza wo Yakobo akugambye nti: “Mbadde mbeera wa Labani, gye ndudde n'okutuusa kati.
6
Nnina ente n'endogoyi, endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana; nzuuno ntuma ababaka eri mukama wange nsobole okusanga ekisa mu maaso go.” ’ ”
7
Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bamugamba nti: “Tutuuse eri Ezawu muganda wo, wuuyo ajja okukusisinkana; ajja n'abasajja ebikumi bina.”
8
Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira, n'ayawuza mu bantu abaali naye, n'endiga, amagana n'eŋŋamiya; yayawulamu ebibinja bibiri
9
ng'agamba nti: “Singa Ezawu anaalumba ekibinja ekimu, ekibinja ekirala ekinaaba kisigaddewo kinadduka.”
10
Yakobo ne yeegayirira nti: “Katonda wa jjajjange Yiburayimu, Katonda wa kitange Yizaake, Mukama, ggwe waŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi yo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kukuwa obeere bulungi.’
11
Sisaanidde bya kisa na byonna eby'obwesigwa by'olaze omuweereza wo. Nasomoka Yorudani nga nnina muggo buggo, kati nkomawo nga nnina ebibinja bibiri.
12
Ntaasa mu mikono gya muganda wange Ezawu, kubanga ntidde ajja kutta abaana ne bannyaabwe.
13
Ggwe wagamba nti: ‘Nzija kukuwa obeere bulungi, ezzadde lyo ndyongere, lyenkane omusenyu gw'ennyanja, ogutasobola kubalika olw'obungi bwagwo.’ ”
14
Ekiro ekyo n'akimala awo; n'addira ku ebyo bye yalina, n'alondamu ebirabo eby'okuweereza Ezawu muganda we:
15
embuzi enkazi ebikumi bibiri, n'ennume abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, n'ennume makumi abiri,
16
eŋŋamiya eziyonsa n'obuto bwazo amakumi asatu, ente enkazi amakumi ana n'ennume kkumi; endogoyi enkazi amakumi abiri n'ensajja kkumi.
17
N'azikwasa abaweereza be buli ggana lyokka. N'agamba abasajja be nti: “Munkulemberemu; mugende nga muleka ebbanga wakati w'eggana ne linne waalyo.”
18
Era n'alagira eyali akulembedde nti: “Ezawu muganda wange bw'akusisinkana amala akubuuza nti: ‘Oli waani? Ogenda wa? Ensolo zino z'ogoba zaani?’
19
Omwanukula nti: ‘Bya muweereza wo Yakobo, birabo abiweerezza mukama wange Ezawu. Naye yennyini atuli awo mabega ajja.’ ”
20
N'alagira bw'atyo owookubiri n'owookusatu, na bonna abaali bagoberera amagana ng'agamba nti: “Bwe musanga Ezawu, mwenna mwogere ebigambo bye bimu,
21
nga mwongerako na kino nti: ‘Ne Yakobo yennyini omuweereza wo ajja atugoberera.’ ” Kubanga yali alowooza nti: “Nnaamuwooyawooya n'ebirabo ebikulembeddemu, oluvannyuma nange bwe nnaamusisinkana oboolyawo anankwatirwa ekisa.”
22
Ebirabo ne bimukulemberamu, naye ye n'asigala mu lusiisira ekiro ekyo.
23
Bwe yazuukuka ekiro, n'addira bakazi be ababiri n'abaweereza be babiri, ne batabani be ekkumi n'omu n'asomoka omusomoko gwa Yabboki.
24
Bwe yamala okubasomosa, n'ebibye byonna n'abiweereza emitala w'omugga,
25
n'asigala bw'omu. Ne wabaawo omusajja, n'ameggana naye okutuusa ku mmambya ng'asala.
26
Omusajja yalaba amulemeddwa, n'akoona ku nteeko ya bbunwe, amangu ago bbunwe wa Yakobo n'anuuka bwe yali ameggana n'oli.
27
N'amugamba nti: “Ndeka, wuuno mmambya asaze.” Yakobo n'ayanukula nti: “Sijja kukuta; omala kumpa mukisa.”
28
N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'ayanukula nti: “Yakobo.”
29
Ko oli nti: “Erinnya lyo tokyayitibwanga Yakobo, wabula Yisirayeli, kubanga omegganye ne Katonda n'abantu n'owangula.”
30
Yakobo n'amubuuza nti: “Mbuulira: erinnya bakuyita ani?” N'ayanukula nti: “Lwaki obuuza erinnya lyange?” N'amuwa omukisa awo wennyini.
31
Yakobo ekifo ekyo n'akituuma Penuweli, ng'agamba nti: “Ndabye Katonda maaso ku maaso naye ne nsigala nga ndi mulamu!”
32
Enjuba yavaayo ng'amalako Penuweli; yali awenyera olw'okubeera bbunwe.
33
Olw'ensonga eyo Abayisirayeli tebalya kinywa eky'omu bbunwe n'okutuusa ku lunaku lwa leero kubanga yakoona ku kinywa ky'enteeko ya bbunwe wa Yakobo.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50