bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 46
Genesis 46
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 47 →
1
Yisirayeli n'agenda n'ebibye byonna. Bwe yatuuka e Beeriseba, n'aweereza Katonda wa kitaawe Yizaake ebitambiro.
2
Katonda n'ayogera ne Yisirayeli mu kulabikirwa kw'ekiro, n'amuyita nti: “Yakobo, Yakobo.” N'amwanukula nti: “Nzuuno.”
3
N'amugamba nti: “Nze Katonda, Katonda wa jjajjaawo. Totya kuserengeta Misiri, kubanga eyo ndikufuulirayo eggwanga eddene.
4
Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era nkukakasa nti ndikuggyayo ne nkukomyawo, ne Yozefu yennyini y'alikuzza ebikowe.”
5
Yakobo n'ava e Beeriseba, batabani be ne bamutwala n'abaana n'abakazi baabwe mu bigaali Faraawo bye yali aweerezza okutwala kitaabwe.
6
Ne batwala amagana gaabwe n'obugagga bwabwe bwonna bwe baali bafunidde mu nsi Kanaani, ne bajja mu Misiri; Yakobo n'ezzadde lye lyonna,
7
batabani be, bazzukulu be abalenzi, bawala be ne bazzukulu be abawala; ezzadde lye lyonna.
8
Gano ge mannya ga batabani ba Yisirayeli, Yakobo n'ezzadde lye, abaagenda mu Misiri: Omuggulanda wa Yakobo Rubeni.
9
Batabani ba Rubeni: Kanoki, Pallu, Kezuroni ne Karumi.
10
Batabani ba Simewoni: Yemweli, Yamini, Owadi, Yakini, Zokari ne Sawulo mutabani ow'omukazi Omukanaani.
11
Batabani ba Leevi: Gerusoni, Kewati ne Merari.
12
Batabani ba Yuda: Eri, Onani, Sela, Perezi ne Zeraki. Eri ne Onani baali baafa dda mu Kanaani. Batabani ba Perezi be ba Kezuroni ne Kamuli.
13
Batabani ba Yissakari: Tola, Puva, Yasubi ne Simuroni.
14
Batabani ba Zebuluni: Seredi, Eloni ne Yakuleeli.
15
Abo be batabani ne bazzukulu ba Leya be yazaalira mu Paddani-Aramu, awamu ne Dina muwala we. Bonna awamu ezzadde lye baali abantu asatu mu basatu.
16
Batabani ba Gaadi: Zifuyoni, Kaggi, Suni, Ezuboni, Eri, Arodi, ne Areli.
17
Batabani ba Aseeri: Yimuna, Yisuva, Yisuvi ne Beriya, ssaako Sera mwannyinaabwe. Batabani ba Beriya: Keberi ne Malukyeli.
18
Abo be batabani ne bazzukulu ba Zilupa Labani gwe yawa Leya muwala we, Zilupa be yazaalira Yakobo; bonna awamu baali kkumi na mukaaga.
19
Batabani ba Rakeli mukazi wa Yakobo be ba Yozefu ne Benyamiini.
20
Mu Misiri Yozefu yazaalirwayo abaana ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira, be ba Manasse ne Efurayimu.
21
Batabani ba Benyamiini: Bela, Bekeri, Asubeli, Gera, Naamani, Eki, Rosi, Muppimu, Kuppimu ne Arudi.
22
Abo be batabani ne bazzukulu ba Rakeli be yazaalira Yakobo. Bonna wamu baali kkumi na bana.
23
Mutabani wa Daani yali Kusimu.
24
Batabani ba Nafutali: Yakuzeeli, Guni, Yezeri ne Sillemi.
25
Abo be batabani ba Biluwa, Labani gwe yawa Rakeli muwala we, Biluwa be yazaalira Yakobo; bonna awamu abaana musanvu.
26
Abantu bonna abaagenda ne Yakobo mu Misiri, b'azaala kennyini, nga totaddeeko baka batabani be, baali nkaaga mu mukaaga.
27
Batabani ba Yozefu, abaamuzaalirwa mu nsi y'e Misiri, baali babiri. Awo bonna awamu n'ennyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu.
28
Yakobo yatuma Yuda amwesookeyo eri Yozefu amulagirire e Goseni. Bwe baatuuka mu nsi y'e Goseni,
29
Yozefu n'ategeka ekigaali kye, n'agenda okusisinkana kitaawe Yisirayeli mu Goseni. Bwe yamweraga, n'amuwambaatira, n'akaaba okumala akaseera.
30
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Kati ne bwe nfa, kasita nkulabyeko nti okyali mulamu.”
31
Yozefu n'agamba baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe nti: “Nzija kugenda, mbuulire Faraawo, nzija kumugamba nti: ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi y'e Kanaani, bantuuseeko.
32
Bantu balunzi ba ndiga, anti bakuumi ba magana; endiga, ente n'ebyabwe byonna babireese.’
33
Faraawo bw'anaababuuza nti: ‘Mulimu ki gwe mukola?’
34
Mwanukula nti: ‘Abaweereza bo okuva obuto bwaffe n'okutuusa kati, okufaanana nga bajjajjaffe, tuli balunzi.’ Ebyo bye munaayogera, musobole okusenga mu nsi y'e Goseni, kubanga Abamisiri b'enyinyala buli mulunzi wa ndiga.”
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 47 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50