bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 1
Jeremiah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Yeremiya, mutabani wa Kilukiya, ow'omu bakabona b'e Anatoti, mu nsi ya Benyamiini.
2
Ekigambo ky'Omukama kyajja gy'ali mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'obwakabaka bwe,
3
era ne mu mirembe gya Yoyakimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zedekiya mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, ab'e Yeruzaalemu lwe baagenda mu buwaŋŋanguse.
4
Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi nga kigamba nti:
5
“Nali sinnakukola mu lubuto lwa nnyoko, nga nkumanyi; wali tonnaba na kuzaalibwa, ne nkutukuza, ne nkulonda obeere mulanzi eri amawanga.”
6
Ne ŋŋamba nti: “Yii, Mukama Katonda, nga simanyi kwogera, nkyali mwana bwana!”
7
Omukama n'aŋŋamba nti: “Leka kugamba nti: ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga buli bantu gye nnaakutuma, ojja kugendayo, na byonna bye nnaakulagira, ojja kubyogera.
8
Tobatya, kubanga ndi naawe okukutaasa; Omukama y'agamba.”
9
Awo Omukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Omukama n'angamba nti: “Kati nkutadde ebigambo byange mu kamwa ko.
10
Laba, olwa leero nkutadde ku mawanga ne ku bwakabaka, osimbule, oyabye, ozikirize, osuule eri, ozimbe, osimbe.”
11
Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi, nga kigamba nti: “Yeremiya, olaba ki?” Nze ne nziramu nti: “Ndaba omuti ogw'endoozi.”
12
Awo Omukama n'aŋŋamba nti: “Olabye bulungi. Kubanga ntunudde ndabe ekigambo kyange nga kituukirira.”
13
Ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi omulundi ogwokubiri, ne kigamba nti: “Olaba ki?” Ne ŋŋamba nti: “Ndaba entamu etokota ng'ebunduse okuva emambuka.”
14
Awo Omukama n'aŋŋamba nti: “Okuva emambuka akabi kanaabundulwa ku bonna abali mu nsi,
15
ŋŋenda kukunga obwakabaka bwonna obw'emambuka,” Omukama bw'agamba, “balijja ne basimba buli omu nnamulondo ye ku mizigo gy'emiryango gya Yeruzaalemu; okwebungulula bbugwe we yenna na buli kibuga kya Yuda.
16
Nzija kwatula ensala yange ku bo olw'okusobya kwabwe kwonna, bwe banjabulira ne banyookeza balubaale obubaani, ne basinza emikono gyabwe bye gyakola.
17
Ggwe nno weekindikire, situka, bagambe byonna bye nkulagira. Tebakutekemula, oba si ekyo ndikutekemula mu maaso gaabwe.
18
Olwa leero nkufudde kibuga ekiriko bbugwe, empagi ey'ekyuma, ekigo eky'ekikomo, owakanye ensi yonna, bakabaka ba Yuda, abakungu baamu, bakabona baayo n'abantu bonna mu ggwanga.
19
Bajja kukulwanyisa, naye tebagenda kukusobola, kubanga nze ndi naawe okukutaasa.” Omukama y'agamba.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52