bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 33
Jeremiah 33
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 34 →
1
Yeremiya yali akyassiddwako ekkomo, mu luggya lw'abakuumi, ekigambo ky'Omukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti:
2
“Omukama kino ky'agamba, Omukama eyakola ensi, eyagitetenkanya n'agissaawo, Omukama lye linnya lye, nti:
3
‘Nkoowoola, nzija kukwanukula; nzija kukubuulira ebintu ebikulu, ebikusike, by'otomanyiiko.’
4
Kubanga Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku nnyumba ez'omu kibuga kino, ne ku mbiri za kabaka wa Yuda ezaamenyebwa olw'okwetaasa embibiro z'okuzingiza n'ekitala
5
mu kulwanyisa Abakaludeya, nti: ‘Zinajjula emirambo gy'abantu be natta mu busungu bwange ne mu buswandi. Nzija kuggya amaaso gange ku kibuga kino, olw'obugwenyufu bwabwe bwonna.
6
Naye nzija kukiwonya nkissuuse. Nzija kubawonya, mbooleke eddembe n'obutebenkevu eby'ekitalo.
7
Ndikomyawo abasibe ba Yuda n'aba Yisirayeli; ndibazimba buggya nga bwe baali mu kusooka.
8
Ndibatukuza ne baggwaako ebibi byabwe byonna bye baayonoonamu gye ndi; ndibaddiramu ebibi byabwe byonna eby'okunjeemera.
9
Olwo ekibuga kino kirimpeesa erinnya, ne kindeetera essanyu, ettendo n'ekitiibwa mu maaso g'amawanga gonna ag'ensi agaliba gawulidde ebirungi byonna bye nkikolera. Balitya ne bakankana olw'ebirungi enkumu n'eddembe bye ndikikolera.’
10
“Omukama kino ky'agamba: ‘Mwogera ku kifo kino nti: “Matongo masa, temuli muntu yadde ekisolo,” naye mu bibuga bya Yuda ne mu mpya za Yeruzaalemu, ebiri amatongo, omutali yadde omuntu oba ekisolo, muliddamu okuwulirwa
11
eddoboozi ery'essanyu n'ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa n'ery'omugole n'amaloboozi g'abo abaleeta mu Kiggwa ky'Omukama ebitambiro eby'okwebaza nga bayimba nti: “ ‘ “Mwebaze Omukama w'Amagye, kubanga Omukama mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Kubanga nzija kuzza abasibe b'ensi eno nga bwe baali mu kusooka.’ Omukama y'agamba.
12
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Mu kifo kino amatongo, omutali muntu yadde ekisolo, ne mu bibuga bino byonna, mujja kuddamu okubeeramu amalundiro abasumba mwe banaawummulizanga endiga.
13
Mu bibuga eby'omu nsozi ne mu bibuga by'omu Sefela, mu bibuga by'omu Negevu, ne mu nsi ya Benyamiini, mu byalo ebyetoolodde Yeruzaalemu ne mu bibuga bya Yuda, amagana galiyitanga wansi w'omukono gw'oyo agabala,’ Omukama y'agamba.
14
‘Ebbanga lijja,’ Omukama y'agamba, ‘lwe ndituukiriza ekigambo ekirungi kye nayogera eri ennyumba ya Yisirayeli n'eri ennyumba ya Yuda.
15
“ ‘Mu nnaku ezo ne mu bbanga eryo, ndisibusiza Dawudi Ettabi ettuukirivu, erikola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu mu nsi.
16
Mu bbanga eryo Yuda alirokolebwa, ne Yeruzaalemu alituulanga ntende. Lino lye linnya lye balikiyita: 'Mukama bwe Butuukirivu bwaffe'.’
17
“Kubanga Omukama kino ky'agamba: ‘Dawudi talibulwa muntu atuula ku nnamulondo ya nnyumba ya Yisirayeli;
18
era mu bakabona Abaleevi temulibula musajja ayimirira mu maaso gange kuweereza bitambiro ebyokye, okwokya ebitone eby'obuwunga n'okuweereza ebitambiro bulijjo.’ ”
19
Ekigambo ky'Omukama kyajja eri Yeremiya nti:
20
“Omukama kino ky'agamba: ‘Oba osobola okumenya endagaano yange gye nalagaana n'olunaku, n'endagaano gye nalagaana n'ekiro, emisana n'ekiro ne bitatuukira mu budde bwabwo bukakafu,
21
olwo endagaano yange ne Dawudi omuweereza wange eriyinza okumenyebwa ne wataba mwana addamu kutuula ku nnamulondo ye; kye kimu n'endagaano ne bakabona Abaleevi, abaweereza bange.
22
Ng'emmunyeenye ez'eggulu bwe zitasoboka kubalika, n'omusenyu gw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuweereza wange n'Abaleevi abaweereza bange.’ ”
23
Ekigambo ky'Omukama kyajja eri Yeremiya nti:
24
“Tolabye bantu bano kye bagamba nti: ‘Ennyumba zombi Omukama ze yali alonze azisudde’? Bwe batyo bagaya abantu bange, tebakyabamanyi ng'eggwanga.
25
Omukama kino ky'agamba: ‘Obanga mazima saakola ndagaano na misana na kiro, nga n'olubaale n'ensi sibiwanga mateeka,
26
olwo kale ndisuula abantu ba Yakobo n'aba Dawudi omuweereza wange, era sirironda n'omu ku bazzukulu be kufuga zzadde lya Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo. Kubanga ndikomyawo abasibe baabwe era ndibagirira ekisa.’ ”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52