bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 23
Jeremiah 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
1
“Zibasanze abasumba abazikiriza n'okusaasaanya eggana ly'omu ddundiro lyange!” Omukama y'agamba.
2
N'olw'ekyo, Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba ku basumba abalunda eggana lyange: “Eggana lyange mulibunyizza emiwabo endiga ne muzigobera eyo, temufuddeeyo kuzirabirira. Nange nno nzija kubeekwatiramu olw'ebikolwa byammwe ebibi,” Omukama y'agamba.
3
“Nze kennyini nzija kwekuŋŋaanyiza zikaawonawo mu ndiga zange, nziggye eyo yonna mu nsi, gye nazigobera, nzizze mu malundiro gaazo; zirizaala ne zaala.
4
Ndizissaako abasumba ne bazirunda; teziriddamu kutya na kutekemuka; tekulibulako n'emu,” Omukama y'agamba.
5
“Laba, ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaasibusiza Dawudi Ettabi ettuufu; kabaka alifuga, aliramuza magezi, alikola ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu mu nsi.
6
Mu bbanga lye Yuda alirokolebwa, ne Yisirayeli alituula ntende. Lino lye linnya lye balimuyita: 'Mukama bwe Butuukirivu bwaffe'.
7
Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’
8
wazira nti ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka, ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe.”
9
Ku balanzi: Omutima gwange gummenyese muli munda; amagumba gange gonna gankubagana; nfuuse ng'omutamiivu, ng'ow'omwenge gwe gugoyezza, olw'okubeera Omukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu.
10
Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'okuvumirirwa, ensi ekungubaga; n'amalundiro mu malungu gakaze. Bakutte ekkubo ebbi, n'obuyinza bwabwe tebugoba bwenkanya.
11
“Abalanzi ne bakabona temukyali ddiini, ne mu Kiggwa kyange nsangamu bwonoonefu bwabwe,” Omukama y'agamba.
12
“N'olw'ekyo ekkubo lyabwe liriseerera; bajja kugobebwa mu nzikiza, eyo gye baligwira. Ŋŋenda kubaleetera akabi mu mwaka mwe balibonerezebwa.” Omukama y'agamba.
13
“Mu balanzi b'e Samariya nalabamu obukopi: baalanganga ku lwa Baali, ne bawubisa abantu bange Yisirayeli.
14
Mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu nalabamu ekyesisiwaza: bakola obwenzi era batambulira mu bulimba. Bawagira abakola obubi, bwe kityo ne wataba n'omu ava mu nsobi ze. Bonna bandabikira nga Sodoma, abantu baamu, nga Gomorra.”
15
N'olw'ekyo, Omukama w'Amagye kino ky'agamba ku balanzi: “Nange abantu bano ŋŋenda kubaliisa omususa, mbanywese n'amazzi agalimu obutwa, kubanga mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu, obugwenyufu mwe buvudde okusaasaanira ensi eno yonna.”
16
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Temuwuliriza bya balanzi bye balanga gye muli; babagumaaza bugumaaza. Boogera bye bafumbiridde mu mitima gyabwe, tebiva mu kamwa ka Mukama.
17
Bagamba lunye abo abannyooma nti: ‘Omukama agambye nti: “Muliba n'emirembe.” ’ Na buli agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bamugamba nti: ‘Tewali kabi kalikugwira.’ ”
18
Naye nno, ani ku abo eyali atudde mu lukiiko lw'Omukama n'alaba era n'awulira ekigambo kye? Ani yali ategerezza n'awulira ekigambo kye?
19
Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi.
20
Obusungu bw'Omukama tebuddirire okutuusa ng'amalirizza, ng'atuukirizza omutima gwe bye gutegese. Gye bujja ky'aliko mulikitegeera bulungi.
21
Situmanga balanzi bo, naye bo badduka; soogeranga gye bali, naye bo balanga.
22
Singa baaliko mu lukiiko lwange, bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange ne babaggya mu kkubo lyabwe ebbi ne mu bikolwa byabwe ebibi.
23
Ndi Katonda nga ndi kumpi kyokka, Omukama y'agamba, nga ndi ewala siri Katonda?
24
Oli ayinza okwekweka gye weekukuma nze ne simulaba? Si nze ajjuza eggulu n'ensi?
25
“Nawulira abalanzi bye balanga, abo abalanga eby'obulimba mu linnya lyange, nga bagamba mbu: ‘Naloose, naloose!’
26
Obulimba bunaatuusa wa obubeera mu mitima gy'abalanzi abalanga eby'obulimba, abalanga bye bamaze gafumbirira mu mitima gyabwe?
27
Balowooza nti ebirooto bye banyumizagana bineerabiza abantu erinnya lyange, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.
28
Omulanzi alina ekirooto anyumye ekirooto kye, naye oyo alina ekigambo kyange ayogere ekigambo kyange mu mazima. Abaffe, ebisusunku bifaanana ng'eŋŋano, Omukama y'agamba,
29
ekigambo kyange tekiri nga muliro, Omukama y'agamba, tekiri nga nnyondo eyasaayasa olwazi obulere?
30
“Awo nno, nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “ababbaŋŋana ebigambo byange.
31
Era nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “abatolobya ennimi zaabwe ne bagenda nga balangirira mbu: ‘Omukama agambye.’
32
Nnwanyisa abalanzi abalanga ebirooto eby'obulimba;” Omukama y'agamba, “babinyumya ne bawubisa abantu bange n'obulimba bwabwe nga bwe beetenda nnyini. Sibatumanga yadde okubalonda; sibalina na kye baali bagasizzaamu bantu bano n'akatono,” Omukama bw'agamba.
33
“Abantu bano, oba omulanzi, oba kabona, singa bakubuuza nti: ‘Omugugu gw'Omukama guluwa?’ ggwe obaddangamu nti: ‘Mmwe mugugu era nzija kubeetikkula, Omukama y'agamba.’
34
“Singa omulanzi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, ŋŋenda kubonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.
35
Kino nno kye muba mugambagana, buli omu agambe munne oba muganda we nti: ‘Omukama azzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’
36
Naye ekya ‘Mugugu gwa Mukama’ temukijjukizanga nate, kubanga buli kigambo oli ky'ayogera gwe guliba omugugu gwe. Bwe mutyo bwe mukyusakyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Omukama w'Amagye, Katonda waffe.
37
Bw'oti nno bw'onoogamba omulanzi nti: ‘Omukama akuzzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’
38
Kubanga mugamba nti ‘Mugugu gwa Mukama’, Omukama kino nno ky'agamba: kubanga mukozesezza enjogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, sso nga nabalabula nti temuddayo ne mwogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’,
39
nzija kubasitula, mbakanyuge eri okuva mu maaso gange, wamu n'ekibuga kye nali mpadde mmwe ne bajjajjammwe.
40
Ndibaleetera okusonyiwala okw'emirembe gyonna, n'obuswavu obutalikoma era obutalyerabirwa.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52