bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 27
Jeremiah 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
1
Mu masooka g'obwakabaka bwa Zedekiya, mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama nti:
2
Omukama kino kye yaŋŋamba, nti: “Weekolere emiguwa n'ebikoligo obyeyambike mu bulago.
3
Olwo weereza obubaka eri kabaka w'e Edomu, kabaka w'e Mowabu, kabaka w'Abammoni, kabaka w'e Tiiro ne kabaka w'e Sidoni ng'obuyisa mu babaka abazze eri Zedekiya kabaka wa Yuda mu Yeruzaalemu.
4
Bawe obubaka buno babutwale eri bakama baabwe nti: ‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Bakama bammwe kino kye muba mubagamba nti:
5
Nze nakola ensi n'abantu baayo n'ebisolo ebiriko n'omukono gwange omugolole, n'omukono gwange ogw'amaanyi, era ngiwa oyo gwe mba njagadde.
6
Kaakano nno mpadde ensi ezo zonna mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni, omuweereza wange; n'ebisolo eby'ettale mbimuwadde bimuweereze.
7
Amawanga gonna galimuweereza, ye, mutabani we ne muzzukulu we, okutuusa ate obudde bw'abantu be lwe bulituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka ab'obuyinza balimufuula muweereza.
8
Eggwanga oba obwakabaka ebitaligondera Nebukadunezzari, kabaka w'e Babiloni, ensingo yaabwe ne batagikutamiza kikoligo kya kabaka w'e Babiloni, eggwanga eryo ndiribonereza n'ekitala n'enjala ko ne kawumpuli okutuusa lwe ndibawaayo mu mikono gye, Omukama y'agamba.
9
Mmwe nno temuwuliriza balanzi bammwe, balaguzi, baloosi ba birooto, mmandwa na balogo bammwe abagenda bagamba nti: “Temugenda kufugibwa kabaka wa Babiloni.”
10
Bye balanga gye muli bya bulimba, ekirivaamu muliggyirwa ddala mu nsi yammwe; ndibagoba ne muzikirira.
11
Naye eggwanga bwe liriwetera ensingo yaalyo ekikoligo kya kabaka w'e Babiloni, ne limuweereza, ndirireka mu nsi yaalyo okugirima n'okugibeeramu, Omukama y'agamba.’ ”
12
Nagamba Zedekiya, kabaka wa Yuda ebigambo bye bimu nti: “Ensingo zammwe muzikutamize ekikoligo kya kabaka w'e Babiloni; mumuweereze, ye n'abantu be, olwo munaalama.
13
Lwaki ggwe n'abantu bo mwagala okufa ekitala, enjala ne kawumpuli Omukama by'aweredde eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babiloni?
14
Muleke kuwuliriza bigambo by'abalanzi abagenda babagamba nti: ‘Temugenda kufugibwa kabaka w'e Babiloni,’ kubanga bye balanga gye muli bulimba bwereere.
15
Kubanga nze sibatumanga, Omukama y'agamba; balanga bya bulimba mu linnya lyange. Nzija kubagoba, muzikirire, mmwe n'abalanzi abalanga gye muli.”
16
Awo ne ŋŋamba bakabona n'abantu bonna nti: “Omukama kino ky'agamba: Muleke kuwuliriza bigambo bya balanzi bammwe abagenda balanga nti: ‘Mu bbanga ttono ebibya by'omu Kiggwa ky'Omukama bijja kuzzibwa okuva mu Babiloni.’ Ebyo bye balanga gye muli bya bulimba bwereere.
17
Temubawuliriza; muweereze kabaka w'e Babiloni, olwo munaalama. Lwaki ekibuga kino kyandifuuse matongo?
18
Obanga balanzi, obanga balina n'ekigambo ky'Omukama mu bo, beegayirire Omukama w'Amagye, ebintu ebisigadde mu Kiggwa ky'Omukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yeruzaalemu, bireme kutwalibwa mu Babiloni.
19
Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'ayogera ku mpagi, ku Nnyanja, ku butandaalo ne ku bintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,
20
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni by'ataatwala lwe yawaŋŋangusa Yekoniya mutabani wa Yoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu bonna aba Yuda n'ab'e Yeruzaalemu n'abatwala e Babiloni ng'abaggya mu Yeruzaalemu.
21
Ddala Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba ku bintu ebyalekebwa awo mu nnyumba y'Omukama, mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yeruzaalemu nti:
22
‘Bigenda kutwalibwa e Babiloni, gye biribeera okutuusa olunaku lwe ndibirowoozaako nate,’ Omukama y'agamba. ‘Olwo ndibiggyayo ne mbizza mu kifo kino.’ ”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52