bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 14
Jeremiah 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
1
Kino kye kigambo ky'Omukama eri Yeremiya ku kyeya:
2
“Yuda ali mu kukungubaga; ebibuga bye biyongobedde; balaajana olw'ensi; emiranga gyambuse mu Yeruzaalemu.
3
Abakungu batuma abaweereza baabwe emugga; batuuka ku nzizi naye tebasangamu mazzi; bakomawo ng'ensuwa nkalu, basobeddwa, baterebuse ne beebikka emitwe gyabwe.
4
Ettaka likaze, kubanga ku nsi tekukyali nkuba; abalimi batekemuse, ne beebikka emitwe gyabwe.
5
N'empeewo yennyini ku ttale ereka omwana gwayo, kubanga tewali muddo.
6
Endogoyi ez'ettale ziri waggulu ku busozi obwereere, ziwejjawejja ng'ebibe; amaaso gaziyimbadde olw'okubulwa omuddo.”
7
Newandibadde ebibi byaffe bitulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo. Kituufu, twakujeemera nnyo, twasobya gy'oli.
8
Ayi Mukama, essuubi lya Yisirayeli, Omulokozi we mu budde obw'akabi, lwaki obeera ng'omugwira mu nsi eno, ng'omutambuze asula ekiro ekimu?
9
Lwaki ofaanana ng'omuntu atangaaliridde, ng'omutabaazi atayinza kutaasa? Sso nno oli mu makkati gaffe, ayi Mukama, tuyitibwa n'erinnya lyo, leka kutwabulira.
10
Omukama kino ky'agamba ku bantu bano: “Banyumirwa bulala okuzuŋŋana, tebakoma ku bigere byabwe. Omukama bwe butabaagala. Kaakano agenda kujjukira ensobi zaabwe ababonereze olw'ebibi byabwe.”
11
Omukama n'aŋŋamba nti: “Abantu bano tobasabira babe bulungi.
12
Ne bwe balisiiba, sigenda kuwulira kuwanjaga kwabwe; ne bwe baliweereza ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga, sigenda kubisiima, wazira ŋŋenda kubazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.”
13
Nze kwe kuddamu nti: “Yii, Mukama Katonda, abalanzi baabagamba nti: ‘Temuliraba kitala, n'enjala tegenda kubagwira; wabula ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ”
14
Omukama n'anziramu nti: “Abalanzi balanga bya bulimba mu linnya lyange; sibatumanga, sibalagiranga yadde soogeranga gye bali. Bye balanga gye muli kulabikirwa kwa bulimba, bulaguzi mutali, bintu bifumbirire mu mitwe gyabwe.
15
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba ku balanzi abo abalanga mu linnya lyange: Sibatumanga, ate ne bagenda nga bagamba nti: ‘Tewagenda kubeera kitala na njala mu nsi muno.’ Abalanzi bennyini abo balifa ekitala n'enjala.
16
Ate abantu abo be babuulira nga balanga batyo, balikasukibwa ebweru mu nguudo za Yeruzaalemu olw'enjala n'ekitala; tewaliba muntu abaziika: bo, bakyala baabwe, batabani baabwe, newandibadde bawala baabwe, ŋŋenda kubabunduggulako obujeemu bwabwe.
17
“Awo nno bagambe ekigambo kino nti: ‘Amaaso gange ka gakulukute amaziga emisana n'ekiro awatali kusalawo, kubanga embeerera muwala w'abantu bange, akubiddwa nnyo, n'assibwako obuvune obw'amaanyi.
18
Bwe ŋŋenda mu kyalo, nsanga abattiddwa ekitala; bwe nnyingira mu kibuga, nsanga ndwadde olw'enjala. Abalanzi ne bakabona babungeeta mu nsi, tebakyategeera.’ ”
19
Yuda omuviiriddemu ddala? Siyoni akutamidde ddala? Lwaki otukubye bw'otyo ne wataba na ssuubi lya kuwona? Twasuubira mirembe, naye tewali kalungi kajja; twasuubira obudde obw'okuwonyezebwa, laba ntiisa ye yajja.
20
Tukkiriza, ayi Mukama, obugwenyufu bwaffe n'okusobya kwa bajjajjaffe; kituufu, twasobya gy'oli.
21
Olw'obulungi bw'erinnya lyo tobasuula, toweebuula linnya lyo ery'ekitiibwa. Jjukira era tomenyawo ndagaano gye wakola naffe.
22
Mu bitaliimu by'ab'amawanga mulimu ekiyinza okutonnyesa enkuba? Yadde eggulu ku lwalyo liyinza okuleeta oluwandaggirize? Si ggwe, ayi Mukama? Ayi Katonda waffe? Awo nno tusuubira mu ggwe, kubanga ggwe okola ebyo byonna.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52