bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 30
Jeremiah 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
1
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama nti:
2
“Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkugambye.
3
Ennaku zijja, Omukama y'agamba, nzigye mu busibe abantu bange Yisirayeli ne Yuda, mbazze mu nsi gye nawa bajjajjaabwe ebeere yaabwe, Omukama y'ayogera.’ ”
4
Bino bye bigambo Omukama bye yagamba Yisirayeli ne Yuda:
5
“ ‘Omukama kino ky'agamba: Twawulira enduulu ez'akasattiro; za ntiisa, si za ddembe.
6
Mwebuuze nno mwetegereze: Omusajja ayinza okuzaala omwana? Lwaki ate ndaba nga buli musajja emikono gimuli ku lubuto ng'omukazi alumwa? Lwaki amaaso gabapeeruuse?
7
Kitalo, olunaku olwo nga luliba lwa kikuuno! Tewali lulirwenkana; luliba budde bwa kabi ku Yakobo; kyokka aliwonyezebwa.
8
“ ‘Ku olwo, Omukama w'Amagye y'ayogera, ndikutula ekikoligo ekibali mu bulago, ndikutula enjegere zaabwe; abagwira tebalibafuula baddu nate;
9
wazira baliweerezanga Omukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibasitusiza.
10
“ ‘Awo nno, Yakobo omuweereza wange, leka kutya; Yisirayeli, totekemuka,’ Omukama y'agamba, ‘ŋŋenda kukununula mu nsi ey'ewala, n'ezzadde lyo ndiggye mu nsi gye lyasibirwa. Yakobo agenda kudda, atebenkere, abeere mu ddembe; tewaliba amukanga.
11
Kubanga ndi naawe okukuwonya,’ Omukama y'agamba, ‘ndisaanyizaawo ddala amawanga gonna, gye nakusaasaanyiza; wazira ggwe sirikusaanyizaawo ddala. Ndikubonereza ekisaanidde, kyokka sirikulekera awo nga sikubonerezza.’
12
“Omukama agamba nti: Obuvune obubwo si bwa kuwona; ekiwundu kyo kikookodde.
13
Tewali wa kuwuliriza nsonga zo; ekiwundu kyo tekiriiko kuvumula; ku ggwe teri kuwona.
14
Abaali baganzi bo bonna bakwerabidde, tebakufaako. Nakukuba ng'omulabe bwe yandikukubye, ng'omukambwe bwe yandikubonerezza. Kubanga omusango gwo munene bulala, n'ebibi byo byayitirira obungi.
15
Lwaki olaajana olw'ekiwundu kyo, olw'obulumi bwo obutali bwa kuwona? Olw'omusango omunene n'ebibi byo ebingi, kyennava nkukola ekyo.
16
Kyokka abo bonna abaakukavvula, balikavvulibwa; n'abalabe bo bonna baliwaŋŋangusibwa, buli omu; abo abaakunyaga, balinyagibwa; na bonna abaakwaya, nabo baliyaayibwa.
17
Ndikuwonya ne nkuzzaawo, ndiwonya ekiwundu kyo,” Omukama y'agamba, “kubanga bakuyita ‘Omuboole, Siyoni, atalina amufaako’.
18
“Omukama kino ky'agamba: ‘Nzija kuzzaawo weema za Yakobo, ndiddiramu ebisulo bye. Ekibuga kirizzibwawo we kibadde entuumu, n'olubiri lulizzibwa mu kifo kyalwo.
19
Mu bo mulivaamu ennyimba ez'ettendo, n'amaloboozi g'abajaguza. Ndibafuula bangi, tebalikendeera; ndibagulumiza, tebalinyoomebwa.
20
Abaana baabwe baliba nga bwe gwalinga edda; n'ekibiina kyabwe kirikakata mu maaso gange; ndibonereza bonna ababatulugunya.
21
Omukungu waabwe aliva mu bo, alibafuga alisituka mu bo, nzija kumusembeza, naye alinsemberera. Anti ani alyewaayo okunsemberera?’ Omukama y'ayogera.
22
“ ‘Olwo mulibeera bantu bange, nange ne mba Katonda wammwe.’ ”
23
Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi.
24
Obusungu bw'Omukama obwesera tebuulekere awo okutuusa ng'amalirizza, ng'atuukirizza omutima gwe bye gutegese. Gye bujja ky'aliko mulikitegeera.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52