bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 29
Jeremiah 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 30 →
1
Bino bye bigambo by'ebbaluwa Yeremiya omulanzi gye yaweereza okuva e Yeruzaalemu eri abaali bakyawonyeewo mu bakadde abaali mu buwaŋŋanguse, n'eri bakabona, abalanzi n'abantu abalala bonna Nebukadunezzari be yali aggye e Yeruzaalemu n'abatwala e Babiloni.
2
Kino kyaliwo nga kabaka Yekoniya, nnamasole, abakungu, abakulembeze ba Yuda ne Yeruzaalemu, abafundi n'abaweesi bamaze okuva mu Yeruzaalemu okugenda mu buwaŋŋanguse.
3
Ebbaluwa yakwasibwa Eleyasa mutabani wa Safani, ne Gemariya mutabani wa Kilukiya, Zedekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babiloni eri Nebukadunezzari, kabaka w'e Babiloni. Yali esoma bw'eti:
4
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba abasibe bonna be naggya mu Yeruzaalemu ne batwalibwa e Babiloni:
5
‘Muzimbe amayumba; mukkalire; musimbe ennimiro, mulye bye zibazizza.
6
Muwase abakazi muzaale abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Muwasize batabani bammwe abakazi; mufumbize ne bawala bammwe bazaale abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; mwale bwazi nga muli eyo, temukendeera.
7
Mukolerere obulungi bw'ekibuga gye nabawaŋŋangusiza. Mukisabirenga ew'Omukama, kubanga bwe kibeera obulungi, nammwe muliba bulungi.
8
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Temukkiriza balanzi bammwe abali mu mmwe kubawubisa, yadde abalaguzi bammwe; temuwuliriza birooto byammwe bye mubaloosa.
9
Balanga bya bulimba gye muli mu linnya lyange. Nze sibatumanga n'akamu, Omukama y'agamba.
10
Kubanga Omukama kino ky'agamba: Emyaka ensanvu bwe girimala okujjula ku lwa Babiloni, ndibalambula, ne ntuukiriza ekisuubizo kyange ekirungi eky'okubakomyawo wano.
11
Anti nze mmanyi ebirowoozo bye mbalinako, Omukama bw'agamba: birowoozo bya ddembe, si bya kubabonyaabonya, bya kubawa bulamu na ssuubi.
12
Munankoowoolanga, ne mujja ne musaba ewange, nange ŋŋendanga kubawulira.
13
Munannoonyanga ne munsanga, bwe muliba munnoonyezza n'omutima gwammwe gwonna.
14
Mulinsanga, Omukama bw'agamba, nange ndibaggya mu busibe bwammwe; ndibakuŋŋaanyaayo eyo yonna mu mawanga, ne mu bifo byonna gye nabagobera, Omukama y'agamba, ne mbakomyawo mu kifo kino mwe nabaggya okubawaŋŋangusa.’
15
“Mwandigamba nti: ‘Omukama yatusibusiza abalanzi e Babiloni.’
16
Naye Omukama kino ky'agamba kabaka atudde ku nnamulondo ya Dawudi n'abantu bonna abasula mu kibuga kino, baganda bammwe be mutaagenda nabo mu buwaŋŋanguse:
17
‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nzija kubasindikira ekitala, enjala ne kawumpuli; nzija kubafaananya ng'entontogolo z'emikunyu embi, embi ennyo ezitasobola na kuliika.
18
Nzija kubawondera n'ekitala, enjala ne kawumpuli. Ndibafuula abantu abeesisiwaza eri buli bwakabaka bwonna obw'ensi, ekikolimo, eky'entiisa, ekinyoomebwa n'okuvuma mu mawanga gonna gye nabagobera,
19
kubanga tebaawuliriza bigambo byange, Omukama y'agamba, ebyo bye nabatuusangako buli olukedde nga mbiyisa mu baweereza bange abalanzi; naye era temwawulira, Omukama bw'agamba.
20
Kale nno mwenna be nawaŋŋangusa okuva mu Yeruzaalemu, ne mbaweereza e Babiloni, muwulire ekigambo ky'Omukama.
21
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku Akabu mutabani wa Kolaaya, ne ku Zedekiya mutabani wa Maaseeya, abalanga gye muli eby'obulimba mu linnya lyange: Nzija kubawaayo mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, abatte nga nammwe mulaba.
22
Olw'okubeera bo, abasibe bonna aba Yuda abali e Babiloni, banaagambanga bwe banaabanga bavumirira nti: “Omukama akufuule nga Zedekiya ne Akabu kabaka w'e Babiloni be yayokya mu muliro!”
23
Kubanga baakola ebikolobero mu Yisirayeli: bayenda ne bakabannaabwe, ate ne boogera eby'obusiru mu linnya lyange, ekintu kye sibalagiranga. Mbimanyi, era ndi mujulirwa, Omukama y'agamba.’ ”
24
Ne Semaaya ow'e Nekelamu mugambe nti:
25
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Kubanga waweereza mu linnya lyo ebbaluwa eri abantu bonna abali mu Yeruzaalemu, n'eri Zefaniya mutabani wa Maaseeya kabona, n'eri bakabona bonna, ng'egamba nti:
26
“Omukama yakufuula kabona mu kifo kya Yoyada, obeere omukulu w'Omukama. Buli yenna eyeerogozza n'alanga, omusibe mu nvuba ne mu kikoligo.” ’
27
Kale lwaki tokoma ku Yeremiya ow'e Anatoti eyeeyita omulanzi eyo ewammwe?
28
Aweerezza ebbaluwa eno ewaffe e Babiloni ng'agamba nti: ‘Ebbanga likyaliyo. Muzimbe amayumba, mukkalire, musimbe ennimiro, mulye bye zibazizza.’ ”
29
Zefaniya kabona ebbaluwa eyo yagisomera Yeremiya omulanzi.
30
Awo ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yeremiya nti:
31
“Weereza obubaka buno eri abawaŋŋangusibwa bonna, obagambe nti ‘Omukama kino ky'agamba ku Semaaya ow'e Nekelamu: Kubanga Semaaya yalanga gye muli, sso nga nze simutumanga, n'abakkirizisa eby'obulimba,
32
kale Omukama kino ky'agamba: Nzija kubonereza Semaaya ow'e Nekelamu n'ezzadde lye; talisigaza muntu n'omu mu bantu bano, era taliraba ku birungi bye ndikolera abantu bange, Omukama bw'agamba; kubanga by'ayogedde bya kujeemera Mukama.’ ”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52