bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 11
Jeremiah 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 12 →
1
Ekigambo ky'Omukama ekyajja eri Yeremiya nga kigamba nti:
2
“Wulira ebigambo by'endagaano eno, obigambe abantu ba Yuda n'abo abasula mu Yeruzaalemu.
3
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Oyo atawulira bigambo bya ndagaano eno, avumirirwe.”
4
Bye bigambo bye nakuutira bajjajjammwe ku lunaku lwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kabiga k'essasa. Nabagamba nti: “Muwulire eddoboozi lyange; mukole byonna bye mbalagira; olwo lwe munaabeera bantu bange, nange ndibeera Katonda wammwe.
5
Olwo ndituukiriza ebirayiro bye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga bwe kiri kati.” ’ ” Awo ne nziramu nti: “Amiina, ayi Mukama.”
6
Ate Omukama n'aŋŋamba nti: “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu mpya za Yeruzaalemu nti: ‘Muwulire ebigambo by'Endagaano eno, mubituuse.
7
Nalabula bajjajjammwe lwe nabaggya mu Misiri, ne nzija nga mbalabula buli olukedde n'okutuusa ku lunaku lwa leero nti: “Mugondere eddoboozi lyange.”
8
Naye tebaawulira, yadde okufaayo, wabula buli omu yagoberera obukakanyavu n'obugwenyufu bw'omutima gwe. Kyennava ntuukiriza ku bo ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nali mbalagidde okugoberera ne batagigoberera.’ ”
9
Omukama n'aŋŋamba nti: “Waliwo okwekobaana mu bantu ba Yuda, ne mu abo abali mu Yeruzaalemu.
10
Bazzeeyo mu bibi bya bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange. Na bano bagoberedde balubaale ne babaweereza. Ennyumba ya Yisirayeli n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nakola ne bajjajjaabwe.
11
Omukama nno kino ky'agamba nti: ‘Nzija kubasindikira akabenje ke bataliyinza kusumattuka; ne bwe banandaajanira, sijja kubawuliriza.
12
Ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yeruzaalemu baliraajanira balubaale be banyookeza obubaani, naye tebalina kye balibayambamu ng'akabi katuuse.
13
“ ‘Yuda, balubaale bo benkana n'ebibuga byo obungi, n'emyaliiro gy'ozimbye okwokerako ekyensonyi obubaani, kwe kugamba, emyaliiro gy'ozimbidde Baali, gyenkana n'enguudo z'omu Yeruzaalemu obungi.’
14
“Tosabira bantu bano, yadde okuwanjaga n'okuweereza essaala ku lwabwe, kubanga sigenda kubawuliriza bwe balindaajanira mu kadde kaabwe akabi.
15
“Omwagalwa wange akola ki mu nnyumba yange, ate ng'ateesa enkwe nnyingi ate embi? Bye weetema n'ennyama emponge binaawugula akabi okuva w'oli? Osobola okusanyuka?”
16
'Oliva engimu, erembedde ebibala ebirungi', lye linnya Omukama lye yakuyita. Naye n'okuyira kw'omuyaga ogw'amaanyi, aligyokya omuliro, n'amatabi gaayo ne gamenyeka.
17
“Omukama w'Amagye eyakusimba akukoowooleddeko akabenje kubanga ennyumba ya Yisirayeli n'ennyumba ya Yuda bakoze ekibi ne bannyiiza olw'okunyookeza Baali obubaani.”
18
Omukama yanjoleka olukwe lwabwe, ne ndumanya, olwo wandaga bye banteeseza.
19
Sso nze nali ng'endiga eŋŋonvu gye batwala mu bbaagiro, nga sitegedde nkwe ze baali bansalira, nga bagamba nti: “Omuti tugutte nga gwakabala; tumwerewo ku nsi y'abalamu, erinnya lye lireme kuddamu kujjukirwa.”
20
Ayi Mukama w'Amagye, asala mu butuufu, eyekenneenya omutima n'emmeeme, mpa ndabe bw'owoolera eggwanga ku bo, kubanga ggwe gwe nakwasa ensonga zange.
21
“Omukama nno kino ky'agamba abantu b'e Anatoti abanoonya okukutta nga bagamba nti: ‘Tolanganga mu linnya lya Mukama, oba si ekyo ojja kufa nga tukwettira n'emikono gyaffe.’
22
N'olw'ekyo Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Nze nzija kubabonereza; abavubuka baabwe balifa ekitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa enjala.
23
Mu bo tewaliba asigalawo, kubanga nzija kuleetera abantu b'e Anatoti akabi mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe.’ ”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52