bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 46
Jeremiah 46
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 47 →
1
Ekigambo ky'Omukama ekyajja eri Yeremiya omulanzi nga kikwata ku mawanga:
2
Ku Misiri: Ebikwata ku ggye lya Faraawo Neko kabaka w'e Misiri eryali okumpi n'olubalama lw'omugga Furaati, e Karucemisi, Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni lye yawangula mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda:
3
“Mutegeke engabo empaala n'entono, mutalire olutalo!
4
Mutandiike embalaasi, muzeebagale, mmwe abeebagazi! Mutale, enkufiira zibadde ku mitwe! Muzigule amafumu; mwambale ebizibawo eby'ekyuma!
5
Kiki ekyo kye ndaba? Batekemuse; bazze ennyuma. Abatabaazi baabwe bakubiddwa; badduse misinde, tebatunudde na mabega. Ntiisa ku njuyi zonna. Omukama y'agamba.
6
“Omuwenyusi talisobola kudduka; n'omuzira talisumattuka; emambuka, ku mugga Furaati, basirittuka ne bagwa.
7
Ani oyo atumbiira nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agabimba?
8
Misiri atumbiira nga Kiyira; ng'emigga egy'amazzi agabimba. Agamba nti: ‘Ka nnyambuke mbuutikire ensi; nzija kuzikiriza ebibuga n'abantu baamu.’
9
Mmwe embalaasi, mutale! Mmwe ebigaali, mutomere! Abatabaazi, mulumbe, abasajja b'e Kuusi ne Puti abakutte engabo, abasajja b'e Ludi, abalasi b'obusaale.
10
Naye nno olunaku olwo lwa Mukama, Katonda w'Amagye, olunaku olw'okuwoolera eggwanga, okuwoolera eggwanga ku balabe be. Ekitala kirirya ne kikkuta, kirinywa omusaayi gwabwe ne kyekkya; anti Omukama Katonda w'Amagye atambidde, mu nsi y'emambuka, ku lubalama lw'omugga Furaati.
11
“Yambuka Gileyaadi onoonye amasanda g'eddagala, ayi embeerera, muwala wa Misiri. Naye weepiikira bwereere omulagala; Ku ggwe teri kuwona!
12
Amawanga galiwulira bw'oswadde; emiranga gyo girijjula ensi, kubanga omuzira yeesittadde ku muzira munne, bombi bagudde maliri.”
13
Ekigambo Omukama kye yagamba Yeremiya omulanzi nga kikwata ku kujja kwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni okulwanyisa ensi y'e Misiri:
14
“Mukirangirire mu Misiri; mukiraalaase mu Migudoli; mukiraalaase mu Memfi n'e Takupanikesi nti: ‘Muyimirire butengerera, mwetegeke, kubanga ekitala kikavvula ababeetoolodde.’
15
Lwaki Api adduse? Lwaki sseddume wo teyatala? Kubanga Omukama yamulindiggula wansi.
16
Balyesittala emirundi n'emirundi, bangi ne bagwaŋŋanako; ne bagamba nti: ‘Musituke mugire tuddeyo, eri abantu baffe ne mu nsi yaboobwe; tudduke ekitala ky'omulumbaganyi.’
17
Eyo Faraawo kabaka wa Misiri balimutuuma: ‘Aleekaana n'aleka emikisa ne giyita’.
18
“Nze nga ndi mulamu,” kabaka y'agamba, erinnya lye ye Mukama w'Amagye, “nga Tabori bw'ali mu nsozi ne Karumeli ku nnyanja, naye bw'alijja.
19
Ggwe asula mu Misiri, siba engugu y'okuwaŋŋanguka, kubanga Noofu alisigala matongo, eddungu, omutasula muntu.
20
“Misiri, nnyana ennungi ekitalo, naye ekivu kivudde emambuka ne kigigwako;
21
N'abapangise mu ggye lye bali ng'obuyana obusavuwaze, balikuba enkyukira ne badduka kitole; tebalisobola kutala, kubanga olunaku lw'okuzikirira kwabwe lubajjidde, akadde ak'okubonerezebwa kwabwe.
22
Asiiya ng'omusota ogudduka, ng'abalabe bajja n'amaanyi; balijja n'embazzi okumulumba, ng'abasajja abatema enku.
23
Balitema ekibira kye, Omukama y'agamba, newandibadde nga kikwafu, kubanga bangi okukira enzige; abatabalika muwendo.
24
Muwala wa Misiri aliswazibwa; aliweebwayo mu mikono gy'abantu b'emambuka.”
25
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, agambye nti: “Nzija kubonereza Amoni ow'e No, ne Faraawo, ne Misiri ne balubaale be, na bonna abamwesiga.
26
Ndibawaayo mu mikono gy'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, ne mu mikono gy'abagabe be. Kyokka oluvannyuma Misiri aliddamu abantu nga bwe kyabanga mu mirembe egy'edda,” Omukama y'agamba.
27
“Naye ggwe, omuweereza wange Yakobo, leka kutya; toterebuka, ayi Yisirayeli; nzija kukulokola nkuggye ewala eyo, n'abaana bo mbaggye mu nsi y'obuwaŋŋanguse. Yakobo agenda kudda, atebenkere, abeere mu ddembe; tewaliba amukanga.
28
Ggwe Yakobo omuweereza wange, leka kutya, kubanga ndi naawe; Omukama y'agamba, ndizikiririza ddala amawanga gonna, gye nakusaasaanyiza, naye ggwe sirikusaanyizaawo ddala. Ndikubonereza ekisaanidde, kyokka sirikulekera awo nga sikubonerezza.”
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 47 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52