bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 48
Jeremiah 48
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 49 →
1
Ku Mowabu: Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Zimusanze Nebo, kubanga bakyayizza! Kiriyatayimu kiswaziddwa, ne kiwambibwa; ekigo kiswadde, kimenyeddwa;
2
Ettutumu ly'e Mowabu terikyaliwo. Mu Kesuboni gye bateesereza akabi ak'okumukola nti: ‘Mujje tukisaanyeewo ng'eggwanga.’ Era naawe Madumeni balikubuniza; ekitala kya kukugoberera.
3
Wulira oluyoogaano lufulumye e Koronayimu: ‘Okuzikiriza! Akabenje ddekabusa,
4
Mowabu amenyeddwa!’ abaana baakyo bayoogaana.
5
Bambuka bakutte ery'e Lukiti, bakaaba, balira nga bwe bagenda; nga bakkirira e Koronayimu, emiranga gy'okuzikirizibwa giwulirwa.
6
Mudduke, mwewonye, mubeere ng'endogoyi ey'ettale mu ddungu.
7
Nga bwe weesiga bye wakola n'obugagga bwo, naawe ojja kukwatibwa, ne Cemosi aligenda mu buwaŋŋanguse, ko ne bakabona be n'abakungu be.
8
Omunyazi alituuka ku buli kibuga, tewali kibuga kinaatalizibwa. Ekiwonvu kya kuvunjaga n'emiseetwe gya kwayiibwa, kubanga Omukama ayogedde.
9
Mowabu muwe ebiwaawatiro kubanga alibuuka n'agenda, n'ebibuga bye bya kufuula matongo, nga temukyali asulamu.
10
“Avumirirwe alagajjalira omulimu gw'Omukama; avumirirwe atiisa ekitala kye omusaayi.
11
“Mowabu abadde mu ddembe okuva obuvubuka, ateekedde ku bbonda lye; tafukwangako kuva mu kita kimu kudda mu kirala, tagendangako mu buwaŋŋanguse; akyasigazizza okuwooma kwe, n'akawoowo ke tekakyukangako.
12
“Naye nno ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe nzija okusindika abafukumula ebita bamufukumulemu; balikaliza ebita bye, baaseeyase n'ensumbi ze.
13
Olwo Mowabu alikwatibwa ensonyi olwa Cemosi, ng'ennyumba ya Yisirayeli bwe yakwatibwa ensonyi olwa Beteli mwe baali batadde obwesige bwabwe.
14
“Muguma mutya okugamba nti: ‘Tuli bazira, tuli ba maanyi mu ntalo’?
15
Mowabu asaanyeewo, ebibuga bye birizindibwa; abavubuka be abasinga obulungi bafiiridde mu kusanjagibwa, Omukama y'agamba, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
16
Okuzikirira kwa Mowabu kusembedde; akabenje ke kajja kujja mangu nnyo.
17
Mumukaabire, mmwe abamwetoolodde, mwenna abamanyi ettutumu lye; mugambe nti: ‘Ddamula ow'obuyinza amenyese atya, omuggo ogw'ekitiibwa?’
18
“Wanukayo mu kitiibwa kyo, otuule ku ttaka ekkalu, ggwe muwala wa Diboni! Kubanga azikiriza Mowabu akujjiridde; amenye ebigo byo.
19
Muyimirire ku kkubo mutunule, mmwe abasula mu Aroweri. Mubuuze omusajja adduka n'omukazi eyeewonya nti: ‘Ate ogubadde?’
20
Mowabu afa ensonyi, kubanga asesegguddwa. Mukube ebiwoobe, muleekaane! Mulangirire mu Arunoni nti Mowabu azikiriziddwa.”
21
“Omusango era gusaliddwa ensi ey'oku museetwe: Koloni, Yakuza ne Mefaati,
22
Diboni, Nebo ne Beti-Dibulatayimu;
23
Kiriyatayimu, Beti-Gamuli ne Beti-Mewoni,
24
Kiriyoti, Bozura n'ebibuga byonna eby'ensi y'e Mowabu, ebiri ewala n'ebiri okumpi.
25
Ejjembe lya Mowabu balitemyeeko, n'omukono gwe gukutuse, Omukama y'agamba.
26
“Mumutamiize, kubanga yeewanika ku Mukama. Mowabu ayavulire mu bisesemye bye, afuuke eky'okusekerera.
27
Ggwe tewasekerera Yisirayeli? Yali asangiddwa mu babbi olyoke omunyeenyeze omutwe buli lwe wamwogerangako?
28
“Mudduke ebibuga, mmwe ab'omu Mowabu; mubeere ng'ejjuba erizimba ekisu mu mpampagama z'oku mumwa gw'empuku.
29
Twawulira ku kwekuza kwa Mowabu - kwekuza kusuffu - ku lunkulu lwe! ku kwekuluntaza kwe! ku kwewanika kwe! ne ku kwegulumiza kw'omutima gwe!
30
Mmanyi bulungi olwetumbu lwe, Omukama y'agamba, Amampaati ge temuli kantu, by'akola temuva kantu.
31
Kyenva nkubira Mowabu ebiwoobe; olwa Mowabu yenna ndeekaana; nkaabira abantu b'e Kiri-Kareseti.
32
Nkukaabira n'okusinga Yazeri, ggwe omuzabbibu gw'e Sibuna! Amatabi go gaayagaagala ne gasukka n'ennyanja; gatuuka ne ku nnyanja y'e Yazeri. Omunyazi agwiridde ebibala byo eby'ekyeya n'amakungula go ag'emizabbibu.
33
Essanyu n'okujaguza bikomye mu nnimiro okuva mu nsi y'e Mowabu. Nkomezza evviini mu masogolero; omusogozi takyakuba buluulu, obuluulu tebukyali buluulu bwa ssanyu.
34
“Ebiwoobe byabwe bisituse okuva e Kesuboni okutuuka e Elewale n'e Yawazi, n'okuva e Zowari okutuuka e Koronayimu, Egulati-Selisiya, n'amazzi g'e Nimirimu gakalidde ddala.
35
Mu Mowabu nzija kumalamu buli yenna atambirira ku bifo ebigulumivu n'abanyookeza balubaale obubaani, Omukama y'agamba.
36
“N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowabu ng'endere; omutima gwange gukaabira abasajja b'e Kiri-Kareseti ng'endere, n'olw'ekyo obugagga bwe baafuna buzikiridde.
37
“Anti buli mutwe mumwe, ba buli kirevu kimwereddwa, emikono gyonna gijjudde emisale, ne mu kiwato beesibye ebikutiya.
38
Ku busolya bw'ennyumba zonna mu Mowabu, ne mu mpya zaayo biwoobe byokka by'owulira, kubanga Mowabu mmwasizzayasizza; ali ng'ensumbi etakyaliko gw'egasa, Omukama y'agamba.
39
Ng'asesegguddwa! Nga bakuba ebiwoobe! Nga Mowabu adduse olw'ensonyi! Bw'atyo Mowabu afuuse eky'okusekerera, ekyesisiwaza eri bonna abamwetoolodde.”
40
Omukama kino ky'agamba: “Laba, empungu ekkirira okukwakkula eyanjululizza ebiwaawaatiro byayo ku Mowabu.
41
Ebibuga birikwatibwa, n'ebigo biriwambibwa, ku olwo emitima gy'abatabaazi ba Mowabu giriba ng'omutima gw'omukazi mu bulumi bw'okuzaala.
42
Mowabu alizikirira ng'eggwanga, kubanga yeewanika ku Mukama.
43
Ntiisa, bunnya, kitimba bye bikutuukiridde, bantu ba Mowabu, Omukama y'agamba.
44
Alidduka entiisa aligwa mu bunnya; aliba avudde mu bunnya aligwa mu kitimba, kubanga Mowabu nzija kumutuusa mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, Omukama y'agamba.
45
“Abadduka bayimiriddeko mu kittuluze kya Kesuboni nga bakoowu; anti omuliro guwamatuse mu Kesuboni, ekitawuliro kiva wakati mu Sikoni; gwokya obwenyi bwa Mowabu, obuwompo bw'abaana abataaluufu.
46
Zikusanze, Mowabu! Abantu b'e Cemosi bazikiridde; batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse, ne bawala bo mu buwaŋŋanguse.
47
Sso ndikomyawo abasibe ba Mowabu gye bujja, Omukama y'agamba.” Okulamulibwa kwa Mowabu wano we kukoma.
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52