bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 25
Jeremiah 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
1
Ekigambo kyajja eri Yeremiya ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, gwe mwaka omubereberye ogwa Nebukadurezzari, kabaka w'e Babiloni.
2
Ekigambo Yeremiya omulanzi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda, na bonna abasula mu Yeruzaalemu ng'agamba nti:
3
“Okuva mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogwa Yosiya, mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku lunaku lwa leero, gye myaka abiri mu esatu, ekigambo ky'Omukama kijja gye ndi, nange nkibabuulidde buli olukedde, naye temuwulirizza.
4
Omukama atumye buli olukedde gye muli abaweereza be bonna abalanzi, naye temwawuliriza, newandibadde okumutegera amatu gammwe.
5
Baagambanga nti: ‘Mukomeewo, buli omu, muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi, lwe munaasobola okusigala mu nsi Omukama gye yabawa, mmwe ne bajjajjammwe emirembe n'emirembe.
6
Muleke kugoberera balubaale kubaweereza na kubasinza. Muleke kunnyiiza n'ebyo emikono gyammwe bye gyakola, olwo nange sigenda kubakola kabi.’
7
‘Naye temwampulira,’ Omukama y'agamba, ‘bwe mutyo ne munnyiiza n'ebyo emikono gyammwe bye gyakola, ne mwesombera akabi.’
8
“N'olw'ekyo Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Mumaze ne mutawulira bigambo byange,
9
nzija kukunga abantu bonna ab'emambuka,’ Omukama y'agamba, ‘n'omuweereza wange Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, mbaleete balumbe ensi eno n'abalimu, n'amawanga gonna ageetooloddewo. Ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekintu eky'entiisa, ekinyoomebwa era amatongo ag'emirembe gyonna.
10
Ndikomya mu bo eddoboozi ery'okusanyuka n'ery'okujaguza, n'eddoboozi ly'awasizza n'ery'omugole, era n'eddoboozi ly'olubengo olusa n'ekitangaala ky'ettawaaza.
11
Ensi eno yonna eribeera ddungu, matongo masa; amawanga gano gonna galiweereza kabaka w'e Babiloni ebbanga lya myaka nsanvu.
12
Emyaka ensanvu bwe giriyita, ndibonereza kabaka w'e Babiloni n'eggwanga eryo olw'okubeera obugwenyufu bwabwe,’ Omukama y'agamba, ‘era n'ensi y'Abakaludeya; ensi ndigifuula matongo ag'emirembe gyonna.
13
Ebigambo byange byonna bye nawerera ensi eno, ebyawandiikibwa mu kitabo kino, byonna Yeremiya bye yalanga eby'okugwira amawanga gonna, nzija kubikola.
14
Bo baliweereza ng'abaddu amawanga nkumu ne bakabaka ab'amaanyi; ndibasasula nga ngerera ku bikolwa byabwe ne ku mikono gyabwe bye gyakola.’ ”
15
Omukama Katonda wa Yisirayeli kino kye yaŋŋamba: “Nzigya mu ngalo ekikompe kino eky'evviini ey'obusungu oginywese amawanga gonna gye ŋŋenda okukutuma.
16
Bwe baliginywako, bagenda kutagala bagwe eddalu olw'ekitala kye nnaasindika mu bo.”
17
Awo ne nzigya ekikompe ky'evviini mu mikono gy'Omukama, ne nginywesa amawanga gonna Omukama gye yali antumye:
18
Yeruzaalemu n'ebibuga bya Yuda, bakabaka baakyo n'abakungu, ndyoke mbifuule amatongo, ebyesisiwaza, ebinyoomebwa era ekikolimo nga bwe kiri olwa leero;
19
Faraawo kabaka w'e Misiri, n'abaweereza be, n'abakungu be n'abantu be bonna;
20
n'ab'amawanga bonna abaliyo; bakabaka bonna ab'e Wuzi; bakabaka bonna ab'Abafilisitiini (Asukeloni, Gaza, Ekuroni, n'abantu abaasigala mu Asudodi);
21
ab'e Edomu, Mowabu, n'Abammoni;
22
bakabaka bonna ab'e Tiiro; bakabaka bonna ab'e Sidoni; bakabaka bonna ab'oku mbalama eziri emitala w'ennyanja;
23
Dedani, Teema, Buuzi na bonna abakomola enviiri mu bwenyi;
24
bakabaka bonna ab'omu Arabiya ne bakabaka bonna ab'amawanga ababeera mu ddungu;
25
bakabaka bonna ab'e Zimuri, bakabaka bonna ab'e Elamu, bakabaka bonna ab'e Mediya;
26
bakabaka bonna ab'emambuka, ab'okumpi n'ab'ewala, okuva ku omu okudda ku mulala, ne bakabaka bonna ku nkulungo y'ensi. Bonna abo nga baweddeyo, olwo ne kabaka w'e Sesaki naye alinywa.
27
“Era obagambe nti ‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Munywe, mutamiire, museseme, mugwe eri nga temukyaddayo kusituka olw'ekitala kye nzija okusindika mu mmwe.’
28
Bwe baligaana okuggya ekikompe mu mikono gyo banywe, bagambe nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mulina okukinywa.
29
Laba, nzuuno ntandise okuleetera akabi ekibuga okuli erinnya lyange, mmwe mutaabonerezebwe? Temujja kusumattuka kubonerezebwa, kubanga nkoowooledde ekitala kyange ku bonna abali ku nsi, Omukama w'Amagye y'agamba.’
30
“Ggwe nno ebigambo bino byonna ebivumirira birange gye bali, obagambe nti: “ ‘Omukama ajja kuwuluguma ng'ayima waggulu, ajja kuta eddoboozi ng'ayima mu kisulo kye ekitukuvu; ajja kuwulugumira n'amaanyi ekisibo kye. Ajja kuleekaana ng'abasogozi b'emizabbibu; eri abo bonna abali ku nsi.
31
Eddoboozi lya kutuusa ku nkingi z'ensi, kubanga Omukama alina ky'avunaana amawanga; ajja kulamula buli muntu, ababi abawe eri ekitala, Omukama y'agamba.’ ”
32
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Akabenje kaakano kalanda okuva ku ggwanga erimu okudda ku ddala; kikuŋŋunta asituse okuva ku nsonda z'ensi.”
33
Omukama b'alitta ku olwo balibikka okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala; tebalikaabirwa, tebalikuŋŋaanyizibwa yadde okuziikibwa, wabula balisaasaana ng'obusa ku ttaka.
34
Mukube ebiwoobe, mmwe abasumba, mulaajane; mwevulunge mu nfuufu, mmwe abakulu b'eggana; kubanga ennaku zammwe zituuse ez'okusanjagibwa n'ez'okusesegguka ng'ebibya eby'omuwendo.
35
Abasumba tebalibaako buddukiro, n'abakulu b'eggana tebalibeerako buwonero.
36
Wulira okuleekaana kw'abasumba, n'okwaziirana kw'abakulu b'eggana, kubanga Omukama ayayizza amalundiro gaabwe.
37
Amagana g'eddembe bagabunizza, mu maaso g'obusungu bw'Omukama obwesera.
38
Alese enfo ye ng'empologoma; kubanga ensi yaabwe efuuse matongo mu maaso g'obusungu obwesera; mu maaso g'obusungu bw'Omukama obukambwe.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52