bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 8
Jeremiah 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 9 →
1
“ ‘Mu budde obwo, Omukama agamba, amagumba ga bakabaka n'ag'abakungu ba Yuda, aga bakabona be n'ag'abalanzi be n'ag'abaali abatuuze b'omu Yeruzaalemu, galiggyibwa mu ntaana zaabwe.
2
Galyanikibwa mu maaso g'enjuba, ag'omwezi n'ag'eggye lyonna ery'omu ggulu, ebyo bye baayagalanga era bye baaweerezanga, bye baagobereranga n'okwebuuzangako, era bye baavunnamiranga. Tegaliddamu kukuŋŋaanyizibwa yadde okuziikibwa, wazira galisuulibwa ng'obusa awo ku ttaka kungulu.
3
Abaliba basigaddewo mu zzadde lino ebbi balyeyagaliza olumbe okusinga obulamu yonna eyo gye ndiba mbagobedde, Omukama w'Amagye y'agamba.’
4
“Onoobagamba nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Abantu bwe bagwa, tebasituka? Omuntu bw'awaba, takomawo?
5
Lwaki abantu bano bawabye? Lwaki Yeruzaalemu awabidde ddala obutadda? Banyweredde ku bulimba, bagaanyi okudda.
6
Nategereza ne mpulira, naye teboogera kituufu; tewali yeenenya kibi kye, n'agamba nti: “Kiki kye nkoze?” Buli omu agoba kkubo lye, nga bw'olaba embalaasi eyeefubitika olutalo.
7
Newandibadde ssekanyolya ku ggulu amanyi ebiseera bye, n'ejjiba, akataayi ne ŋŋaali, ebiseera eby'okusenguka. Naye abantu bange tebamanyi mateeka ga Mukama.
8
“ ‘Muyinza mutya okugamba nti: “Tuli bagezi, n'Etteeka ly'Omukama tulirina?” naye, laba, mazima ekkalaamu y'omuwandiisi erifudde lya bulimba.
9
Abagezi ensonyi ziribakwata; balitekemuka ne bakwatibwa. Baamala okusuula eri Ekigambo ky'Omukama, bakyalina magezi ki?
10
N'olw'ekyo bakazi baabwe nzija kubafumbiza abasajja abalala, n'ennimiro zaabwe nziwe abalala bazitwale. Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balulunkanira kufuna; abalanzi ne bakabona okwo, bonna balimbalimba.
11
Ebiwundu by'abantu bange babinyigisa lusaago; beewoleza: “Ddembe, ddembe!” sso nga tewali ddembe.
12
Baswala olw'ebikolwa byabwe ebyenyinyalwa? Nedda, tebaliimu nsonyi. Tebamanyi na kusonyiwala; kyebaliva bagwira mu abo abaligwa; balimeggebwa mu kadde ak'okubonerezebwa kwabwe, Omukama y'agamba.
13
“ ‘Nandyagadde okubanogako, Omukama y'agamba, naye ku mizabbibu tekuli bibala, ne ku mitiini tekuli ntontogolo, n'amakoola gawotose. N'olw'ekyo kye mbadde mbawadde kiribaggyibwako.’ ”
14
“Lwaki tutuula obutuuzi? Mugire tukuŋŋaane tugende mu bibuga okuli ebigo, eyo gye tuba tusaanirawo; mbeera Omukama Katonda waffe atusalidde gwa kusaanawo. Atuwadde amazzi omuli obutwa tunywe, kubanga twayonoona ew'Omukama.
15
Twasuubira mirembe, naye tewali kalungi kajja; twasuubira akaseera ak'okuwonyezebwa, laba ntiisa ye yajja.
16
Okufugula kw'embalaasi ze kuwulirwa okuva mu Daani; embalaasi ze bwe zikaaba ensi yonna ekankana. Zizze okuvunjaga ensi na buli kirimu, ekibuga na bonna abakisulamu.”
17
“Nzuuno nzija kubasindikamu emisota, amasalambwa agatasobola kugulikibwa galibabojja,” Omukama y'agamba.
18
Ennaku etewonyezeka enkutte; omutima gunnennyise.
19
Wulira eddoboozi ly'okulaajana kw'abantu bange, kuva mu nsi ey'ewala nti: “Ddala Omukama takyali mu Siyoni? Kabaka we takyalimu?” “Lwaki bannyiiza n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale, n'ebibajje byabwe ebigwira omutali kantu?”
20
“Amakungula gayise, ekyeya kikomye, naye ate tetuwonye!”
21
Olw'ekiwundu ky'abantu bange nange nfumitiddwa; nkaaba, n'entiisa enkutte.
22
Tekyali masanda ga ddagala mu Gileyaadi? Tekyali musawo n'omu? Lwaki ekiwundu ky'abantu bange tekiwonyezebwa?
23
Singa nno omutwe gwange gwali nsulo ya mazzi, n'amaaso gange luzzi lw'amaziga! Nandimaze emisana n'ekiro nga nkaabira abattiddwa ab'abantu bange.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52