bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 15
Jeremiah 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
1
Omukama n'aŋŋamba nti: “Musa ne Samweli ne bwe bandiyimiridde mu maaso gange, sandikwatiddwa kisa bantu bano. Bagobe mu maaso gange; bagende.
2
Ate singa bakubuuza nti: ‘Tudde wa?’ baddemu nti: ‘Omukama kino ky'agamba: “ ‘Ab'okufa olumbe, badde eri olumbe; ab'okufa ekitala, badde eri ekitala; ab'okufa enjala, badde eri enjala; ab'okutwalibwa mu busibe, badde eri obusibe.’
3
“Ndibategekerawo engeri nnya ez'okubazikiriza, Omukama y'agamba: ekitala okubatta, embwa okubawalaawala, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'ettale okubakavvula n'okubazikiriza.
4
Ndibafuula ekyesisiwaza eri buli bwakabaka mu nsi, olw'okubeera Manasse, mutabani wa Kezekiya kabaka wa Yuda, bye yakola mu Yeruzaalemu.
5
“Kale alikusaasira ye ani, ggwe Yeruzaalemu? Oba ani alikukungubagira? Ani alikyama okubuuza bw'oli?
6
Mwansuula,” Omukama y'agamba, “mwakuba akaddannyuma, kyenvudde mbagololerako omukono gwange ne mbazikiriza; okusaasira kunkooyezza.
7
Nzija kubawewera ku miryango gy'ensi n'ekkabi eriwewa; mbamazeeko abaabwe, nzikirizza abantu bange, kubanga bagaanyi okukyusa engeri zaabwe.
8
Bannamwandu baabwe mbongedde obungi n'okusinga omusenyu gw'ennyanja; bannyaabwe b'abavubuka abatabaazi mbaleetedde omutemu mu ttuntu wakati; mbasuddeko amangu ago entiisa n'ebikangabwa.
9
Eyazaala abaana omusanvu ayongobedde, azirika; enjuba ye egudde nga bukyali misana; ensonyi zimutta, aswadde. N'abasigaddewo ku bo nzija kubatta n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe,” Omukama y'ayogera.
10
Zinsanze! Nnyabo, wanzaalira ki, nze omuntu ali mu kuwakana, mu mpaka, n'eggwanga lyonna? Siwolanga yadde okwewola; sso bonna banvumirira.
11
Kibeere kityo, ayi Mukama, singa saakuweereza bulungi, singa saakwegayirira ku lw'abalabe mu biseera eby'ebizibu n'ennaku.
12
Omuntu ayinza okumenya mu kyuma, mu kyuma eky'emambuka n'ekikomo?
13
“Ebintu byo n'obugagga nzija kubiwaayo binyagibwe ku bwereere olw'ebibi byo byonna wonna mu nsi yo.
14
Nzija kukufuula muweereza wa balabe bo mu nsi gy'otomanyi; kubanga obusungu bwange bukoleezezza omuliro ogunaabasiriiza.”
15
Omanyi, ayi Mukama; nzijukira, ndabirira, ompoolerere eggwanga ku banjigganya. Mu kugumiikiriza kwo okungi tonzigyawo, lowooza ku kuvumibwa kwe nvumiddwamu olw'okubeera ggwe.
16
Ebigambo byo bwe byajja, nabirya; ekigambo kyo kyali ssanyu na kujaganya mu mutima gwange, kubanga nayitibwa erinnya lyo, Mukama Katonda w'Amagye.
17
Situulanga na bakozi ba binyumu, sibinukanga nabo; wabula natuulanga nzekka kubanga omukono gwo gwandiko, kubanga wali onzijuzizza okwennyamira.
18
Lwaki obulumi bwange tebuwona, n'ekiwundu kyange tekiwona, tekivumulikika? Onfuukidde ng'engezi erimbalimba, ng'amazzi agatasimba.
19
Olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Bw'olyeddamu, nange ndikuzzaawo; olwo olimpeereza. Bw'olyogera ebirimu ensa, sso si ebyo omutali, olibeera kamwa kange; leka abantu bano badde gy'oli, sso si ggwe okudda gye bali.
20
Ndikufuula bbugwe omugumu ow'ekikomo eri abantu bano; balikulwanyisa naye tebalikusobola, kubanga nze ndi naawe okukuwonya n'okukutaasa, Omukama y'agamba.
21
ŋŋenda kukutaasa mu mikono gy'ababi, ndikununula mu mikono gy'abakambwe.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52