bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 31
Jeremiah 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
1
“Mu budde obwo,” Omukama y'agamba, “ndibeera Katonda w'ebika byonna ebya Yisirayeli, nabo balibeera bantu bange.”
2
Omukama kino ky'agamba: “Abantu abaawona ekitala, basanze omukisa mu ddungu; Yisirayeli alaze mu kiwummulo kye.”
3
Omukama yayima wala n'andabikira ng'agamba nti: “Nakwagala n'okwagala okw'emirembe gyonna, era nkyakwagala n'okwagala okujjudde ekisa.
4
Ndikuzimba buto; ddala oliddamu okuzimbibwa, ayi Embeerera Yisirayeli; oliddamu okwambalira obugoma bwo, n'ogenda okuzina n'abayimba.
5
Oliddamu okusimba emizabbibu ku nsozi z'e Samariya; abalimi balisimba ne beeriira ku bibala.
6
Olunaku lulituuka abakuumi lwe balikoowoolera ku nsozi za Efurayimu nti: ‘Musituke, twambuke ku Siyoni eri Omukama Katonda waffe.’ ”
7
Omukama kino ky'agamba: “Muyimbire waggulu n'essanyu olwa Yakobo, mumukubire emizira oyo omutwe gw'amawanga. Mulangirire, muyimbe, mugambe nti: ‘Ayi Mukama, lokola abantu bo, kaawonawo wa Yisirayeli.’
8
Nzija kubaggya mu nsi ey'emambuka, mbakuŋŋaanye okuva ewala ku nkingi z'ensi. Mwe muliba bamuzibe n'abalema, ab'embuto n'abatuuse okuzaala; ekibiina kinene eky'abalikomawo.
9
Balidda nga bakaaba, ndibazza nga bawanjaga; ndibayisa ku migga egy'amazzi, mu kkubo esseeteevu mwe batalyesittalira. Kubanga ndi kitaawe wa Yisirayeli, ate Efurayimu ye muggulanda wange.”
10
Muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe amawanga, mukirangirire ku bizinga eby'ewala nti: “Oyo eyasaasaanya Yisirayeli alimukuŋŋaanya, alimukuuma ng'omusumba bw'akuuma eggana.
11
Kubanga Omukama alinunula Yakobo, alimuwonya mu mikono gy'oyo amusinga amaanyi.
12
Balikomawo ne bayimba n'essanyu ku kasozi ka Siyoni; balijaguliza mu birungi by'Omukama: eŋŋano, evviini ensu, omuzigo, amagana g'endiga n'ente. Baliba ng'ennimiro efukirirwa obulungi: tebaliddayo kuyenjebuka.
13
Abawala embeerera balisanyuka ne bayimba, abavubuka n'abakadde okwo. Okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, ndibakubagiza, mu kifo ky'ennaku yaabwe ndibawaamu okujaguza.
14
Bakabona ndibakkusa n'omwero gw'emmere; n'abantu bange balijjula ebirungi byange,” Omukama y'agamba.
15
Omukama kino ky'agamba: “Eddoboozi lyawulirwa mu Rama: okukaaba n'emiranga egy'okunyolwa, Rakeli ng'akaabira abaana be. Tayagala kukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali n'omu.”
16
Omukama kino ky'agamba: “Ggya eddoboozi lyo ku kukaaba, n'amaaso go gakaze amaziga, kubanga olifuna empeera y'omulimu gwo,” Omukama y'agamba, “kubanga balidda okuva mu nsi y'omulabe.
17
Waliwo essuubi gye bulijja,” y'agamba Omukama, “abaana bo bagenda kudda mu nsi yaboobwe.
18
Kwo okuwulira nawulira emiranga gya Efurayimu: ‘Ommonerezza ng'akayana akalalu, nange ne nzikiriza okubonerezebwa; nkomyawo, nange nzija kudda, kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19
Bwe nawaba, neenenya; bwe nategeera, neenenya. Naswala, ne nswaluka, kubanga naliko ensonyi z'omu buvubuka bwange.’
20
Kazzi Efurayimu si mwana wange omwagalwa, omwana ansanyusa? Newandibadde mmunenya ntakera, nkyamujjukira. Omutima gwange gumunnumira; ankwasa ekisaasaazi kingi,” Omukama y'agamba.
21
“Simba obubonero bw'oku luguudo; weeteerewo endagiriro; omutima gusse ku kkubo, ku luguudo lw'okutte. Komawo, ayi Embeerera Yisirayeli, komawo mu bibuga byo.
22
Olitangatanga kutuusa wa, ggwe omuwala omujeemu? Laba Omukama akoze ekiggya ku nsi: omukazi alyebungulula omusajja.”
23
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Bwe ndibazza okuva mu busibe, baliddamu okwogera ebigambo bino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo nti: “ ‘Omukama akuwe omukisa, ggwe ekisulo ky'obutuukirivu, ggwe olusozi olutukuvu.’
24
“Abantu balibeera wamu mu Yuda n'ebibuga byayo byonna: abalimi n'abagenda batambula n'amagana.
25
Ndikkusa abakoowu; ndizzaamu otwanyi abayenjebuse.”
26
Awo ne nzuukuka mu tulo, ne ndaba; otulo twange twali tuwoomu.
27
“Kale nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe ndisiga abantu n'ebisolo mu nnyumba ya Yisirayeli ne Yuda.
28
Nga bwe nabalabirira ku kusimbula, ku kwabya, ku kusuula, okuzikirira n'okuleeta akabi, bwe ntyo bwe ndibalabirira ku kuzimba n'okusimba,” Omukama y'agamba.
29
“Mu nnaku ezo tebaliddayo kugamba nti: “ ‘Bakitaabwe baalya emizabbibu emibisi, amannyo g'abaana ne ganyenyeera.’
30
“Wazira buli muntu alifa lwa kibi kye; aliba alidde emizabbibu emibisi, amannyo gwe galinyenyeera.
31
“Laba, ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe ndikola endagaano empya n'ennyumba ya Yisirayeli, n'ennyumba ya Yuda.
32
Teriba ng'endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri, kubanga baamenya endagaano yange, sso nga nali bbaabwe,” Omukama y'agamba.
33
“Naye eno ye ndagaano gye ndikola n'ennyumba ya Yisirayeli oluvannyuma lw'ennaku ezo,” Omukama y'agamba, “etteeka lyange ŋŋenda kulissa munda mu mmeeme yaabwe, ndiwandiike ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
34
Buli omu talyetaaga kuyigiriza munne, oba buli omu okugamba muganda we nti: ‘Manya Omukama,’ kubanga bagenda kummanya bonna, okuva ku asembayo obuto okutuuka kw'asinga obukulu,” Omukama y'agamba, “kubanga ndibasonyiwa emisango gyabwe, n'ebibi byabwe siriddayo kubijjukira.”
35
Omukama kino ky'agamba, oyo assaawo enjuba eyake emisana, omwezi n'emmunyeenye n'abiragira bimulise ekiro; asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; erinnya lye ye Mukama w'Amagye:
36
“Amateeka gano bwe galivaawo mu maaso gange Omukama y'agamba, olwo n'ezzadde lya Yisirayeli lwe liriggwa ne likoma okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.”
37
Omukama kino ky'agamba: “Olubaale waggulu awo bwe lulisobola okupimibwa, n'omwaliiro gw'ensi ne gufeffettebwa wansi eyo, olwo nange ndisuula eri ezzadde lya Yisirayeli lyonna olwa byonna bye baakola,” Omukama y'agamba.
38
“Kale nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “ekibuga kino lwe kiriddamu okuzimbirwa Omukama, okuva ku Munaala gwa Kananeli okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda.
39
Olukoba olupima luliva awo butereevu okutuuka ku ntikko za Garebu, ate ne ludda ku Gowa.
40
N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'evvu ly'amasavu, ensalosalo zonna okutuukira ddala ku kagga Kiduroni, n'okudda ebugwanjuba okutuuka ku mulyango gw'Embalaasi waliyitibwa watukuvu ku lw'Omukama; ekibuga tekirisimbulwa oba okuddamu okuzikirizibwa emirembe gyonna.”
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52