bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 13
Jeremiah 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 14 →
1
Omukama kino kye yaŋŋamba: “Genda ogule omusipi ogw'olugoye ogwesibe mu kiwato; kyokka togunnyika mu mazzi.”
2
Bwentyo nagula omusipi, nga Omukama bwe yali andagidde, ne ngwesiba mu kiwato.
3
Ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi omulundi ogwokubiri nti:
4
“Ddira omusipi gwe wagula gw'osibye mu kiwato kyo, ogende ku mugga Furaati ogukweke eyo mu mpampagama y'olwazi.”
5
Ne ŋŋenda ne ngukweka ku Furaati, nga Omukama bwe yali andagidde.
6
Nga wayise ebbanga ggwanvu, Omukama n'aŋŋamba nti “Genda ku Furaati oggyeeyo omusipi gwe nakulagira okukwekayo.”
7
Ne ŋŋenda ku Furaati, ne nsima, ne nzigyayo omusipi mu kifo mwe nali ngukwese. Naye kati omusipi gwali guvunze, nga tegukyalina kye gugasa.
8
Awo ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi nti:
9
“Omukama kino ky'agamba: ‘Bwe ntyo bwe ndivunza olunkulu lwa Yuda n'okwekuza kwa Yeruzaalemu okungi.
10
Abantu abo ababi abaagaana okuwulira ebigambo byange, abagoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, abanoonya balubaale abagwira ne babasinza n'okubaweereza, balifaanana ng'omusipi ogwo, nga tebalina kye bagasa.
11
Anti ng'omusipi bwe gwesibibwa mu kiwato ky'omuntu, nange bwe nali nnywerezza ntyo ennyumba ya Yisirayeli yonna n'ennyumba yonna eya Yuda ku nze, Omukama y'agamba, balyoke babeere bantu bange, linnya lyange, ttendo lyange era kitiibwa kyange. Naye tebaawulira.’
12
“Abantu abo bagambe nti: ‘Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba nti: “Buli ndyanga ya vviini ejjuzibwe evviini.” ’ Bagenda kukuddamu nti: ‘Tetumanyi nga buli ndyanga ya vviini ejjuzibwa vviini?’
13
Olwo bagambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: “Abantu b'omu nsi eno bonna ŋŋenda kubajjuza obutamiivu, omwo nga mw'obalidde bakabaka abawaŋŋamye ku nnamulondo ya Dawudi, bakabona, abalanzi, n'abo bonna abali mu Yeruzaalemu,
14
ŋŋenda kubawumiza omu ku munne, abazadde n'abaana baabwe wamu,” Omukama y'agamba. Sirisaasira, sirisonyiwa, siriddiramu mbu ndeke kubazikiriza.’ ”
15
Muwulire, mutege amatu, temwekuza, kubanga Omukama ayogedde.
16
Mumuwe ekitiibwa Omukama, Katonda wammwe nga tannaleeta kizikiza, nga n'ebigere byammwe tebineesittala ku nsozi ezikutte enzikiza. Musuubira ekitangaala, naye agenda kukifuula nzikiza ekutte, alikifuula kazigizigi.
17
Naye bwe mutaawulire, ŋŋenda kukaabira mu nkiso olw'olunkulu lwammwe, amaaso gange galikaaba ebitakaabika, ne gafukumula amaziga, kubanga eggana ly'Omukama litwaliddwa mu busibe.
18
Mugambe kabaka ne nnamasole nti: “Mukke mutuule wansi, kubanga engule yammwe ey'ekitiibwa ebavudde ku mutwe.
19
Ebibuga by'emaserengeta biggaddwawo; tewali wa kubiggula, Yuda yenna awaŋŋangusiddwa, yenna atwaliddwa ddala.
20
“Yimusa amaaso olabe abava emambuka. Eggana eryakukwasibwa liri ludda wa, endiga ezaali ettendo lyo?
21
Oligamba ki bw'alikussaako nga bakama bo abo bennyini be weeyigiririza okuba mikwano gyo? Okulumwa tekulikukwata ng'okw'omukazi ng'azaala?
22
Bw'alyebuuza nti: ‘Lwaki bino bingwiridde?’ Lwa bibi byo ebingi, kubanga emivuluya gyo gyakwambulwako n'okolebwako eby'obukambwe.
23
Omukuusi ayinza okukyusa olususu lwe, oba engo, amabala gaayo? Nammwe temusobola kukola kalungi, mmwe abaamanyiira okukola obubi.
24
Kyendiva nno mbasaasaanya ng'essubi bwe likolebwa empewo ey'omu ddungu.
25
Ogwo gwe mugabo gwammwe, ekitundu ky'ekipimo kye mbageredde,” Omukama y'agamba, “kubanga nze mwanneerabira, ne weesiga obulimba.
26
Nze kennyini ndiyimusiza emivuluya gyo ku maaso go, ensonyi zo ne zirabibwa.
27
Nnyaabula, obwenzi bwo n'okubebera! Obwa malaaya bwo obugwenyufu! Nalaba ebyenyinyalwa by'okolera ku nsozi ne mu miseetwe. Zikusanze, Yeruzaalemu; Onoolinda kutuusa wa nga toli mulongoofu?”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52