bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 3
Jeremiah 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
1
“Omusajja bw'agoba mukazi we, n'omukazi n'amuvaako n'afumbirwa omusajja omulala, aba akyasobola okuddira omukazi? Ensi eyo eba tefaafaaganidde ddala? Naye ggwe akoze obwamalaaya ne baganzi bo enkumu, kati n'odda gye ndi?” Omukama y'agamba.
2
“Yimusa amaaso ku busozi obwereere olabe. Waliwo akafo w'otaganzikiddwa? Watuulanga ku makubo n'obalinda, nga Omuwarabu mu ddungu. Ensi wagyonoona n'obwamalaaya bwo, n'obugwagwa bwo.
3
Oluwandaggirize kyeruvudde luziyizibwa, n'enkuba ya Ttoggo n'etajja. Naye ggwe amaaso go makalu ng'aga malaaya, towuliramu na nsonyi.
4
Siwankakoowoola nti: ‘Kitange, mukwano gwange okuva mu buvubuka bwange,
5
onoonyiiga ebbanga lyonna? Onoosunguwala mirembe gyonna?’ Bwe mutyo bwe mwogera, naye mwonoona nga bwe mwagala.”
6
Mu mirembe gya kabaka Yosiya Omukama yagamba nti: “Olabye Yisirayeli omujeemu ky'akoze? Alaze ku buli kasozi akagulumivu na buli wansi wa muti oguggumizza n'akolerawo obwamalaaya.
7
Nalowooza nti bw'anaamala okukola ebyo byonna, anadda gye ndi, naye teyakikola, ate muganda we Yuda ataali mwesigwa n'akiraba.
8
Nawa Yisirayeli omujeemu ebbaluwa ey'obugobe ne mmugoba olw'obwenzi bwe. Kyokka nalaba nga muganda we Yuda ataali mwesigwa teyatyako n'akamu; yagenda bugenzi naye n'akola obwamalaaya.
9
Kubanga obwamalaaya bwe ku ye tekyali kantu, ensi yagyonoona, n'akola obwenzi n'amayinja n'emiti.
10
Newandibadde bwe gutyo bwe gwali, muganda we ataali mwesigwa teyadda gye ndi na mutima gwe gwonna, wabula na bukuusa,” Omukama y'agamba.
11
Omukama n'agamba nti: “Yisirayeli omujeemu mutuukirivu okusinga Yuda atali mwesigwa.
12
Genda nno olangirire ebigambo bino ng'otunuulidde emambuka, ogambe nti: “ ‘Komawo, Yisirayeli omujeemu,’ Omukama y'agamba, ‘sijja kukutunuuliza maaso manyiivu, kubanga ndi wa kisa.’ Omukama y'agamba. ‘Sijja kusunguwala budde bwonna.
13
Kyokka kkiriza ekyonoono kyo: Wajeemera Omukama Katonda wo, wamala geeyisa otyo mu bagwira, wansi wa buli muti oguggumizza, n'otogondera ddoboozi lyange,’ Omukama y'agamba.”
14
“Mukomeewo, mmwe abaana abajeemu,” Omukama y'agamba, “kubanga nze mukama wammwe; nzija kubaggyayo, omu mu kibuga, babiri mu kika, mbaleete mu Siyoni.
15
Ndibalabira abasumba be neesiimidde, balibakulembera n'amagezi n'okutegeera.
16
Mu nnaku ezo,” Omukama y'agamba, “bwe muliba mumaze okwala n'okuzaala ku nsi, tebaliddayo kugamba nti: ‘Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama!’ Baliba tebakyagirowoozaako, yadde okugijjukira, newandibadde okugisaalirwa, era terikolwayo ndala.
17
Mu budde obwo Yeruzaalemu balikiyita ‘Nnamulondo ya Katonda.’ Amawanga gonna galikuŋŋaanira mu Yeruzaalemu okugulumiza erinnya ly'Omukama. Tebaliddayo na kugoberera bukakanyavu bwa mutima gwabwe omubi.
18
Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Yisirayeli, era bombi baliviirayo wamu mu nsi y'emambuka ne balaga mu nsi gye nawa bajjajjammwe okuba obusika.
19
“Nze kennyini nagamba nti: Wamma nnaakuteeka mu baana bange, ne nkuwa ensi eyeegombebwa, obusika obusinga obulungi mu mawanga. Nalowooza nti olimpita lya ‘Kitange’, nti tolirekera awo kungoberera.
20
Naye okufaanana omukazi atali mwesigwa eri bba, nammwe bwe mutaali beesigwa gye ndi, ayi nnyumba ya Yisirayeli,” Omukama y'agamba.
21
Eddoboozi liwulirwa ku busozi obwereere, okukaaba n'okuwanjaga kw'abantu ba Yisirayeli, kubanga ekkubo lyabwe balyonoonye; beerabidde Omukama, Katonda waabwe.
22
“Mukomeewo mmwe abaana abajeemu; nzija kubawonya obujeemu bwammwe.” “ Tuutuno tuzze gy'oli, kubanga ggwe Mukama, Katonda waffe.
23
Mazima, obusozi bwali bulimba n'oluyoogaano lw'oku nsozi. Mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokofu bwa Yisirayeli.
24
Okuva mu buvubuka bwaffe, bya nsonyi bye byamira emirimu gya bajjajjaffe, endiga zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
25
Twebake mu nsonyi zaffe, obuswavu bwaffe butubikke, kubanga twasobya ew'Omukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe; okuviira ddala mu buvubuka bwaffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero, tetwawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52