bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 32
Jeremiah 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 33 →
1
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama, mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zedekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadurezzari.
2
Mu budde obwo eggye lya kabaka w'e Babiloni lyali lizinze Yeruzaalemu; Yeremiya omulanzi yali musibe mu luggya lw'abakuumi olw'omu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
3
Zedekiya, kabaka wa Yuda yali amusibidde awo ng'amuvunaana nti: “Lwaki olanga ebyo by'olanga? Ogenda ogamba nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Ekibuga kino ŋŋenda kukiwaayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni akikwate.
4
Zedekiya kabaka wa Yuda taliwona mikono gya Bakaludeya, naye aliweebwa mu mikono gya kabaka w'e Babiloni; alyogera naye maaso ku maaso era alimwerabirako ddala n'agage.
5
Alitwala Zedekiya e Babiloni, gy'alisigala okutuusa lwe ndimujjukira, Omukama y'agamba. Bwe muligeza okulwanyisa Abakaludeya, temuliwangula.’ ”
6
Awo Yeremiya n'agamba nti: “Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi nti:
7
‘Kanameli mutabani wa kojjaawo Sallumu ajja kujja gy'oli akugambe nti: “Gula ennimiro yange eri mu Anatoti, kubanga nga bw'oli owooluganda alina obuvunaanyizibwa obw'okununula, ggwe osaana okugigula.” ’
8
Awo Kanameli omwana wa kojjange n'ajja gye ndi mu luggya lw'ekkomera nga Omukama bwe yali ayogedde, n'aŋŋamba nti: ‘Gula ennimiro yange mu Anatoti mu nsi ya Benyamiini, kubanga ggwe olina obuvunaanyizibwa obw'okugitwala n'obw'okuginunula; gyegulire.’ Nategeera nti kino kigambo kya Mukama;
9
kwe kugula ku Kanameli omwana wa kojja ennimiro y'e Anatoti, ne mupimira ssente, sekeli za ffeeza kkumi na musanvu.
10
Nassa omukono ku ndagaano ne ngisiba, ne nzisaawo abajulirwa, ne ndyoka mmupimira ffeeza ku minzaani.
11
Awo ne ntwala endagaano ensibe ey'obuguzi omwali byonna ebikkaanyiziddwako, n'endala eyali ekoppoloddwako etaali nsibe.
12
Endagaano y'obuguzi ne ngikwasa Baruku mutabani wa Neriya, mutabani wa Makuseeya, mu maaso ga Kanameli omwana wa kojjange n'ag'abajulirwa abassa omukono ku ndagaano yaffe ey'obuguzi, n'ag'Abayudaaya bonna abaali mu luggya lw'abakuumi.
13
Awo mu maaso gaabwe, ne ndagira Baruku nti:
14
‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Kwata ebiwandiiko bino, endagaano eno ey'obuguzi ensibe n'eno eteri nsibe, obiteeke mu nsumbi ey'ebbumba mwe bisobola okumala ebbanga eggwanvu.
15
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Amayumba, ennimiro n'emizabbibu bijja kuddamu okugulibwa mu nsi muno.” ’
16
“Bwe namala okukwasa Baruku, mutabani wa Neriya endagaano, ne yeegayirira Omukama nti:
17
Yii! Ayi Mukama, Katonda, watonda eggulu n'ensi n'omukono gwo omugolole, n'omukono gwo ogw'amaanyi; tewali kikulema.
18
Ogirira ekisa enkumi n'enkumi, emisango gya bakitaabwe n'ogiwoolera ku baana baabwe ababaddirira. Ayi Katonda omukulu, ow'obuyinza, erinnya lyo ggwe Mukama w'Amagye.
19
Oli mukulu mu nnamula yo; oli wa buyinza mu by'okola. Amaaso go gatunuulidde abantu nga bwe beeyisa, buli omu n'omuddiza ng'olabira ku makubo ge n'ebyo ebiva mu bikolwa bye.
20
Wakola obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno mu nsi y'e Misiri, na kati okyabikola, mu Yisirayeli ne mu bantu bonna, ne weekolera erinnya nga bwe likyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
21
Waggya abantu bo Yisirayeli mu nsi y'e Misiri n'obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno n'omukono omugolole, n'omukono ogw'amaanyi mu ntiisa ennene.
22
N'obawa ensi eno gye walayira okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
23
Nabo baayingira ne bagitwala naye tebaagondera ddoboozi lyo, tebaatambulira mu tteeka lyo; bye wabalagira okukola, tebaabikola. Kyewava oleka akabi kano konna kabagwire.
24
Laba embibiro bwe zituumiddwa okuzingiza ekibuga, ate olw'okubeera ekitala, enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaludeya abakirwanyisa. Bye wayogera biibyo bituukiridde nga naawe wennyini bw'okiraba.
25
Naye ate ggwe, ayi Mukama Katonda, oŋŋamba nti ‘Gula ennimiro ne ffeeza, osseewo n'abajulirwa,’ sso ng'ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaludeya.”
26
Awo ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yeremiya nti:
27
“Nze Mukama, Katonda w'ebiramu byonna. Waliwo ekintu n'ekimu ekinnema?
28
Olw'ekyo nno Omukama kino ky'agamba: Ekibuga kino ŋŋenda kukiwaayo mu mikono gya Abakaludeya ne mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, akikwate.
29
Abakaludeya abalumbye ekibuga kino bajja kukyokya omuliro, bakyokye wamu n'amayumba abantu gye bannyiiriza nga banyookeza Baali obubaani ku busolya bwago, n'okuyiyira balubaale ebitambiro.
30
Abantu ba Yisirayeli n'aba Yuda okuva mu buvubuka bwabwe bulijjo tebalina kirala kye bakola wabula okukola obubi mu maaso gange; ddala abantu ba Yisirayeli, tebalina kirala kya kukola wabula okunnyiiza ne bye bakola n'emikono gyabwe, Omukama y'agamba.
31
Ekibuga kino okuva ku lunaku lwe baakizimba n'okutuusa ku lwa leero, kinnyiiza n'okunsunguwaza, kyennaava nkiggya mu maaso gange,
32
olw'okubeera obugwenyufu bwonna abantu ba Yisirayeli n'aba Yuda bwe baakola okunnyiiza, bo ne bakabaka baabwe, abakungu, bakabona n'abalanzi baabwe, abasajja ba Yuda n'abantu ba Yeruzaalemu.
33
Bankuba amabega tebantunuulira newandibadde nga nabayigirizanga buli olukedde; tebawuliranga basobole okugunjulwa.
34
Bassa ebyenyinyalwa byabwe mu Kiggwa okuli erinnya lyange ne balyonoona.
35
Baazimbira Baali ebifo ebigulumivu mu Kiwonvu Beni-Yinnomu bawongerere eyo Moleki batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro, nze kye sibalagiranga, era ekitanzijanga mu birowoozo okukola ekyenyinyalwa ekyo, baleetere Yuda okugwa mu kibi.
36
“Kale nno Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ekibuga kino mmwe kye mugamba nti olw'okubeera ekitala, enjala ne kawumpuli kya kuweebwayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni:
37
ŋŋenda kubakuŋŋaanyaayo eyo mu nsi zonna gye nabagobera olw'obusungu n'obuswandi bwange obungi; ŋŋenda kubazza mu kifo kino, era mbatuuze ntende.
38
Olwo balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe.
39
Ndibawa omutima gumu, n'ekkubo limu, bantye ennaku zonna, balyoke babeere bulungi, bo n'abaana baabwe abalibaddirira.
40
Ndikola nabo endagaano ey'olubeerera; sirirekayo kubakolera bulungi; era mu mutima gwabwe ndibateekamu okuntya baleme kuddayo kunneebengulako.
41
Nnaasanyukiranga mu kubakolera obulungi, era ndibasimbira ddala mu nsi muno n'omutima gwange gwonna n'omwoyo gwange gwonna.
42
“Omukama kino ky'agamba: Nga bwe naleetera abantu bano akabi akanene, bwe ntyo era bwe ndibawa ebirungi byonna bye nabagamba.
43
Ennimiro zijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno mmwe gye mugamba nti matongo, temuli muntu yadde ekisolo, eweereddwa mu mikono gy'Abakaludeya.
44
Ennimiro zijja kugulibwa ne ffeeza, n'endagaano zissibweko emikono, zisibibwe, n'abajulirwa bassibwewo mu nsi ya Benyamiini ne mu byalo okwetooloola Yeruzaalemu, mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsozi ne mu Sefela, ne mu bibuga ebiri mu Negevu, kubanga nzija kuzza abasibe, Omukama y'agamba.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52