bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 6
Jeremiah 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 7 →
1
“Mudduke mwewonye, mmwe abantu ba Benyamiini; muve mu Yeruzaalemu. Mufuuwe eŋŋombe e Tekowa; musimbe ebendera e Beti-a-Keremu. Kubanga akabi kabindabinda okuva emambuka, akabenje ddekabusa.
2
Omulungi Kabirinnage, Muwala wa Siyoni, nzija kumuzikiriza.
3
Abasumba n'amagana gaabwe bamulumba, bakubye ensiisira okumwetooloola, buli omu ng'alunda zize.
4
Mwetegeke okumulwanyisa. Musituke; tumulumbe mu ttuntu. Kyokka tulabye, olunaku luuluno luggweekerera; ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuyirira.
5
Musituke, tulumbe ekiro, tuzikirize embiri ze.”
6
Kubanga bino by'agamba Omukama w'Amagye: “Muteme emiti gye, mutuume embibiro ku Yeruzaalemu, kibuga kya kubonereza; kyonna kijjudde kunyigiriza.
7
Ng'oluzzi bwe luzza obuggya amazzi gaalwo, bw'azza atyo obuggya obugwagwa bwe; eby'obukambwe n'okwonoona bye biwulirwamu; buli kabanga ndaba ndwadde na biwundu.
8
Yeruzaalemu, kkiriza okulabulibwa; oba si ekyo nzija kukyukira eri mbaveeko, ensi ngifuule matongo, ensi omutali asenzeemu.”
9
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Mazima balikuŋŋaanya abaliba basigaddewo mu Yisirayeli kyenkana nga mu mizabbibu; yisaayisa omukono gwo mu matabi, ng'omunozi w'emizabbibu bw'akola.”
10
Ani gwe mba ŋŋamba mmulabule? Ani anampuliriza? Laba, amatu gaabwe si matayirire; tebayinza kutegereza. Ekigambo ky'Omukama basekerera kisekerere; tebakisanyukira.
11
Sso nze nzijudde obuswandi bw'Omukama. Sikyasobola kubuzibiikiriza. “Bumalire ku baana mu nguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, abakadde n'abo abazeeyuse.
12
Amayumba gaabwe galigabirwa balala, wamu n'ennimiro zaabwe ne bakazi baabwe. Sirimba, nzija kugololera omukono gwange ku bantu b'ensi eno,” Omukama y'agamba,
13
“kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balulunkanira kufuna; abalanzi ne bakabona okwo, bonna balimbalimba.
14
Ebiwundu by'abantu bange babinyigisa lusaago; beewoleza: ‘Ddembe, ddembe!’ sso nga tewali ddembe.
15
Baswala olw'ebikolwa byabwe ebyenyinyalwa? Nedda, tebaliimu nsonyi. Tebamanyi na kusonyiwala; kyebaliva bagwira mu abo abaligwa; balimeggebwa ku olwo lwe ndibabonereza,” Omukama y'agamba.
16
Omukama kino ky'agamba: “Muyimirire mu masaŋŋanzira mulabe; mwebuuze amakubo ag'edda; mubuuze ekkubo eddungi gye liri; lye muba nno mukwata, olwo mulyezuulira ekiwummulo. Bo ne bagamba nti: ‘Tetujja kulikwata.’
17
Nabateekako abakuumi, ne ŋŋamba nti: ‘Mutegereze eddoboozi ly'eŋŋombe.’ Bo ne bagamba nti: ‘Tetuutegereze.’
18
Kale nno muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ekibiina, ebinaabagwira.
19
Ggwe ensi, wulira: Nzija kuleetera abantu abo akabenje; ge magoba g'ebirowoozo byabwe; kubanga tebaategereza bigambo byange, n'etteeka lyange baalisambajja.
20
Obubaani obuva e Saba bwakugasa ki, n'ekisubi ekya kalifuuwa ekiva mu nsi ey'ewala? Ebitambiro byammwe ebyokye sibisiima, n'ebyonziira byammwe tebinsanyusa.”
21
Omukama kyava ayogera bino nti: “Laba, abantu bano nzija kubateera enkonge mu kkubo: bakitaabwe b'abaana n'abaana balizeesittalako; ab'emiriraano n'ab'emikwano balizikirira.”
22
Omukama kino ky'agamba: “Abantu baabo bava mu nsi ey'emambuka; eggwanga eddene likungiddwa okuva ku nkingi z'ensi.
23
Babagalidde emitego n'obujogolo; bakambwe, tebalina kisa. Bawuuma ng'ennyanja bw'eyira, beebagadde ku mbalaasi, bajja ng'eggye eritaze, bajja okulwanyisa ggwe, muwala wa Siyoni.”
24
Amawulire g'ebyo gatutuuse; emikono gitulagaya; ennaku etukutte, n'okulumwa ng'okw'omukazi azaala.
25
Temufuluma kugenda mu nnimiro, temutambula mu nguudo, kubanga eyo eriyo ekitala ky'omulabe n'entiisa ku njuyi zonna.
26
Mmwe bantu bange, mwesibe ebisuna, mwevulunge mu vvu, mukungubage ng'akungubagira omutabani eyazaalibwa omu, mulage okunyolwa, kubanga azikiriza ajja kutuzinduukiriza.
27
“Nkutaddewo ng'omugezesa w'ekyuma mu bantu bange, omanye, era ogeze amakubo gaabwe.
28
Bonna abajeemu, ba mputtu, bagenda bakonjera, bali kikomo na kyuma; bonna babi.
29
Emivubo gifuuwa n'amaanyi, omuliro guseebengereze essasi; naye kusaanuusa kwa bwereere, ababi tebasengejjeddwamu.
30
Bayitibwa ffeeza omuzire, kubanga Omukama abazize.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52