bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 22
Jeremiah 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
1
Omukama kino ky'agamba: “Serengeta ku lubiri lwa kabaka wa Yuda oyogerereyo ekigambo kino,
2
ogambe nti: ‘Wulira ekigambo ky'Omukama, ggwe Kabaka wa Yuda atudde ku nnamulondo ya Dawudi, ggwe, abakungu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.
3
Omukama kino ky'agamba: Mukole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu; muwonye gwe banyaze mu mikono gy'amunyigiriza. Omugwira temumuyisanga bubi oba na bukambwe, kye kimu ne ku mulekwa ne nnamwandu; temuyiwanga mu kifo kino musaayi gutaliiko musango.
4
Kubanga singa munaafaayo okutuukiriza ekigambo ekyo, olwo bakabaka abatudde ku nnamulondo ya Dawudi baliyita mu miryango gy'olubiri luno nga bali ku bigaali n'embalaasi, bo, abaweereza baabwe n'abantu baabwe.
5
Naye bwe mutakkirize kuwulira bigambo bino, Omukama y'agamba, neerayidde nzennyini, olubiri luno lulifuuka matongo.’
6
“Kubanga Omukama kino ky'agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda: “Wambeerera nga Gileyaadi, ng'entikko ya Lebanoni; kyokka ddala ŋŋenda kukufuula ddungu, ng'ebibuga omutali kantu.
7
Ndikutegekera abantu okukuzikiriza, buli omu n'ebyokulwanyisa bye; balitema entolookyo zo ennungi ne bazisuula mu muliro.
8
“Amawanga mangi galiyita mu kibuga kino, buli omu n'abuuza munne nti: ‘Lwaki Omukama yayisa bw'ati ekibuga kino ekikulu?’
9
Balibaddamu nti: ‘Kubanga baayabulira endagaano y'Omukama Katonda waabwe, ne bavunnamira balubaale, ne babaweereza.’ ”
10
Muleke kukaabira mufu, temumutemera miranga; wazira mukungubagire nnyo oyo agenze, kubanga si wa kudda; yennyini taliddamu kulaba nsi ya boobwe.
11
Kubanga Omukama kino ky'agamba ku Sallumu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, eyasikira kitaawe Yosiya ku bwakabaka, eyagenda okuva mu kifo kino: “Tagenda kudda wano.
12
Alifiira mu kifo gye baamuwaŋŋangusiriza; taliddayo kulaba nsi eno.”
13
“Zimusanze azimba ennyumba ye nga tagobye butuukirivu, n'ebisenge bye ebya waggulu nga tagobye bwenkanya; munne n'amukozeseza obwereere, n'atamusasula mulimu gwe.”
14
Agamba nti: “Nzija kwezimbira ennyumba engazi, erimu ebisenge gaggadde ebya waggulu.” Awo n'ateekako amadirisa, n'atindiza n'entolookyo, n'agisiiga langi emmyufu.
15
“Olowooza kikufuula kabaka okuba n'obungi bw'entolookyo? Kitaawo ye teyalyanga, teyanywanga? Yatusanga obutuufu n'obutuukirivu; byonna kyebyava bimugendera bulungi.
16
Yamalanga ensonga z'omwavu n'omunaku, olwo byonna kwe kugenda obulungi. Okummanya, ekyo si kye kitegeeza?” Omukama y'agamba.
17
“Sso ggwe amaaso n'omutima bikuli ku kukumpanya bintu, ku kuyiwa musaayi gutaliiko musango, ku kunyigiriza na bukambwe.”
18
Kale nno Omukama kino ky'agamba ku Yoyakimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda: “Tebalimukungubagira nti: ‘Kitalo, muganda wange! Kitalo, mwannyinaze!’ Tebalimukungubagira nti: ‘Kitalo, mukama wange! Kitalo, oweekitiibwa!’
19
Aliziikibwa nga ndogoyi; alikululibwa n'akanyugibwa ebweru w'emiryango gya Yeruzaalemu.”
20
“Linnya ku Lebanoni oleekaane; kaalaamya eddoboozi mu Basani; leekaanira ku Abarimu, kubanga baganzi bo bonna babetenteddwa.
21
Nakugambanga bwe wali mu ddembe, naye ggwe ng'owoza: ‘Sijja kuwuliriza.’ Eyo yali mpisa yo okuva mu buvubuka bwo; towuliriza ddoboozi lyange.
22
Embuyaga erigobera eri abasumba bo bonna, ne baganzi bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Olwo ensonyi zirikukwata n'oswala olw'okubeera obugwenyufu bwo bwonna.
23
Mmwe nno abasula mu Lebanoni, abakoleddwa ebisu mu nnyumba ez'entolookyo, muliwoloma mutya ng'obulumi bubatuukiridde, okulumwa ng'okw'omukazi azaala?
24
“Nze nga ndi mulamu,” Omukama y'agamba, “Koniya, mutabani wa Yoyakimu, kabaka wa Yuda, ne bwe wandibadde empeta ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikunaanuddeko.
25
Nzija kukuwaayo mu mikono gy'abo abanoonya obulamu bwo, mu mikono gy'abo b'otya, mu mikono gya Nebukadurezzari, kabaka w'e Babiloni, ne mu mikono gy'Abakaludeya.
26
Ggwe ne nnyoko eyakuzaala ndibakanyuga mu nsi endala gye mutaazaalirwa; eyo mwembi gye mulifiira.
27
Yo ensi gye mwegomba okudda, temuliddayo.”
28
Ono Koniya nsumbi njatifu, egayibwa, ekibya ekitagasa? Lwaki ye n'ezzadde lye baakasukibwa ebweru, ne bakanyugibwa mu nsi gye baali batamanyi?
29
Owange ensi, nsi, nsi! Wulira ekigambo ky'Omukama.
30
Omukama kino ky'agamba: “Muwandiike omusajja ono ng'atalizaala ku mwana, omusajja tebirimulamira mu biro bye; kubanga tewali wa musaayi gwe gwe biriramira, tewali alituula ku nnamulondo ya Dawudi, tewali aliddayo n'afuga mu Yuda.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52