bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 42
Jeremiah 42
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 43 →
1
Awo abagabe bonna ab'eggye omwali ne Yokanani mutabani wa Karewa, ne Yezaniya mutabani wa Osaaya wamu n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu ne batuukirira
2
Yeremiya omulanzi nga bagamba nti: “Tukwegayiridde, wuliriza bulungi okuwanjaga kwaffe, otusabire ew'Omukama Katonda wo olw'abasigaddewo bano bonna, kubanga, nga naawe bw'olaba, tusigadde batono ffe abaali abangi.
3
Omukama Katonda wo atulage ekkubo lye tuba tukwata ne kye tuba tukola.”
4
Yeremiya omulanzi n'abaddamu nti: “Mpulidde; kale nzija kubasabira eri Omukama Katonda wammwe nga bwe musabye; Omukama ky'anaaba ayanukudde, nzija kukibategeeza; sijja kubakisa kantu na kamu.”
5
Nabo ne bagamba Yeremiya nti: “Omukama y'aba abeera omujulirwa waffe ow'amazima era omwesigwa era atulumirize singa tetuukole nga Omukama Katonda wo bw'anaaba akutumye gye tuli.
6
Oba kirungi, oba kibi, tujja kuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waffe gye tukutumye, tulyoke tubeere bulungi, olw'okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waffe.”
7
Nga wayise ennaku kkumi, ekigambo ky'Omukama kyajja eri Yeremiya.
8
Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Karewa, n'abagabe b'eggye bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
9
n'abagamba nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli, gye mwantuma okumwanjulira okuwanjaga kwammwe, kino ky'agamba:
10
‘Bwe mukkiriza okusigala mu nsi muno, ŋŋenda kubazimba, siribazimbulula; ŋŋenda kubasimba, sigenda kubasimbula, kubanga nejjusa akabi ke nabakola.
11
Muleke kutya kabaka w'e Babiloni, oyo kati gwe mutya; temumutya, Omukama y'agamba, kubanga ndi nammwe; nzija kubawonya mbaggye mu mikono gye.
12
Nzija kubagirira ekisa abasaasire, abakkirize okudda mu nsi yammwe.
13
Naye bwe munaagamba nti “Tetujja kusigala mu nsi eno,” ne mutawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe,
14
oba ne mugamba nti: “Nedda, tujja kugenda mu nsi y'e Misiri, gye tutagenda kulaba ku lutalo na kuwulira ku ddoboozi lya ŋŋombe yadde okulumirwa emmere enjala,”
15
awo nno, mmwe abasigaddewo mu Yuda, muwulire ekigambo ky'Omukama. Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: “Bwe mumalirira okugenda mu Misiri, ne mugenda ne mubeera eyo,
16
ekitala kye mutya kigenda kubasangayo eyo mu Misiri, n'enjala ebeeraliikiriza egenda kubalondoolayo eyo mu Misiri; gye mulifiira.
17
Abantu bonna abagugubidde ku kugenda e Misiri n'okubeerayo, gye balifiira ekitala, enjala ne kawumpuli; tewaliba asumattuka, aliwona kabenje ke ndibaleetera.”
18
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Ng'obusungu n'obuswandi bwange bwe bwebunduggula ku baali mu Yeruzaalemu, bwe butyo obusungu bwange bwe bulibeebunduggulako bwe muligenda e Misiri. Mulibeera ekikolimo, ekintu eky'entiisa, ekivumo era eky'okusekerera; era temuliddayo kukuba liiso ku kifo kino.” ’
19
“Wattu abaasigalawo mu Yuda, Omukama abagambye nti: “Temugenda mu Misiri.” Mumanyire ddala, mbalabula olwa leero,
20
nti mwawaba mu mitima gyammwe bwe mwantuma eri Omukama Katonda wammwe nga muŋŋamba nti: “Tusabire ew'Omukama, Katonda waffe; tubuulire kyonna Omukama, Katonda waffe ky'anaaba alagidde, tujja kukituukiriza.”
21
Ate bwe nkibabuulidde olwa leero, temuwulirizza ddoboozi lya Mukama, Katonda wammwe ku ebyo byonna by'antumye gye muli.
22
Kale nno mumanyire ddala nga muli ba kufiirayo ekitala, enjala ne kawumpuli, eyo gye mwesiimidde okugenda okubeera.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52