bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 51
Jeremiah 51
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
1
Omukama kino ky'agamba: “Babiloni n'abantu b'omu Lebu-Kamayi nzija kubasiikuulira omuyaga ddekabusa.
2
Babiloni nzija kumusindikira abagwira; bagenda kumuwewa, bavunjage ensi ye; bagenda kumuzingiza ku njuyi zonna ku lunaku olw'akabi.
3
Omulasi tomukkiriza kuweta musaale gwe, na kussaako kizibawo kye eky'ekyuma, n'abavubuka be temubataliza, wabula eggye lyonna mulizikirize.
4
Abattiddwa baligwa mu nsi ya Kaludeya; n'abafumite mu nguudo ze.
5
Kubanga Yisirayeli ne Yuda sibaabuliddwa Katonda waabwe, Omukama w'Amagye; newandibadde nga yo ensi yaabwe ejjudde bisobyo mu maaso g'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
6
“Mudduke, muve mu Babiloni; buli omu awonye obulamu bwe, muleme kuzikirira mu kibonerezo kye. Buno bwe budde bw'Omukama obw'okuwoolera eggwanga; ajja kumuddiza ekimusaanidde.
7
Babiloni kyali kikompe kya zaabu mu mikono gy'Omukama; kyatamiizanga ensi yonna; amawanga gaanywa ku viini yaakyo, kwe kulaluka.
8
Babiloni agudde mangu n'abetenteka; Mumukubire ebiwoobe! Munoonye amasanda g'eddagala olw'ekiwundu kye, oboolyawo n'awona.
9
‘Twandiwonyezza Babiloni, naye yagaana okuwona; tumuleke, buli omu yeddire mu nsi ye, kubanga omusango gwe gutuuse ne ku ggulu, gutumbidde okutuuka ku bire.
10
Omukama alaze nga bwe tuli abatuufu. Mujje tulombojjere mu Siyoni Omukama Katonda waffe by'akoze.’
11
“Musongole obusaale, mukwate engabo; Omukama asiikudde omutima gwa bakabaka b'Abamedi, kubanga ky'ateesezza ku Babiloni kya kuzikiriza; kubanga Omukama ajja kuwoolera eggwanga, okuwoolera eggwanga olw'Ekiggwa kye.
12
Musimbe bendera okwolekeza bbugwe wa Babiloni; mwongere ku bakuumi, musseewo abalabirira; mutegeke okuzinda. Kubanga Omukama aliko kye yateesa era akituukirizza, kye yalangirira ku bantu b'omu Babiloni.
13
Ggwe asula ku mazzi amangi, ggwe afumbekedde eby'obugagga, entuuko zo zituuse; akaseera ko ak'okukutulwako.
14
Omukama w'Amagye alayidde obulamu bwe nti: ‘Ndikujjuza abantu akeesedde ng'enzige, balikukubira obuluulu olw'obuwanguzi.’ ”
15
Yakola enkulungo y'ensi n'amaanyi ge; yabangawo ensi n'amagezi ge; n'okutegeera kwe n'abamba olubaale.
16
Bw'abwatuka, amazzi ku ggulu ne gayira; alinnyisa ebire okuva ku nkingi z'ensi; akola eraddu okuwa enkuba, era y'aggyayo empewo mu mawanika ge.
17
Buli muntu mubuyabuya, talina ky'amanyi; buli musaanuusa wa zaabu aswala olw'ekifaananyi kye. Ebifaananyi bye ebisaanuuse ebya balubaale bulimba busa, mu byo temuli mukka.
18
Temuli kantu; bikoleddwa kusekererwa; mu kadde ak'okubonerezebwa kwabyo bigenda kusaanawo.
19
Naye oyo Omugabo gwa Yakobo tafaanana ebyo, kubanga ye yakola byonna omuli ne Yisirayeli, ekika ky'obusika bwe, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
20
Ggwe ennyondo yange, ekyokulwanyisa kyange mu lutalo: nga ndi naawe nsanyaawo amawanga, nga ndi naawe nseseggula obwakabaka;
21
nga ndi naawe nseseggula embalaasi n'omwebagazi, nga ndi naawe nseseggula ekigaali n'omugoba waakyo;
22
nga ndi naawe nseseggula omusajja n'omukazi; nga ndi naawe nseseggula omukadde n'omuvubuka; nga ndi naawe nseseggula omulenzi n'omuwala;
23
nga ndi naawe nseseggula omusumba n'eggana lye; nga ndi naawe nseseggula omulimi ne byalimisa; nga ndi naawe nseseggula abaamasaza n'abaami.
24
“Kyokka ndisasuza Babiloni n'abantu bonna ab'e Kaludeya awo mu maaso gammwe olw'obugwenyufu bwonna bwe baalaga e Siyoni,” Omukama bw'agamba.
25
“Nkuli bukiika, ggwe olusozi olusaanyaawo, ggwe azikiriza ensi yonna,” Omukama y'agamba, “nzija kukugololerako omukono gwange, nkuyiringise wansi okuva ku bbanga, nkufuule olusozi olusirisse omuliro.
26
Tebalikuggyamu jjinja lya mu nsonda, wadde ejjinja ery'okussa mu musingi; wabula oliba matongo ag'emirembe gyonna,” Omukama y'agamba.
27
Musitule ebendera mu nsi, mufuuwe eŋŋombe mu mawanga. Mutegeke amawanga gakirumbe, mukunge obwakabaka buno bumulumbe: obwa Ararati, obwa Minni ne Asukenazi; musseewo omugabe amulwanyise, muleete embalaasi eziri ng'enzige ez'egginirizi.
28
Mutegeke amawanga gakirumbe: bakabaka b'Abamedi, abaamasaza n'abaami baabwe n'ensi zonna ze bafuga.
29
Ensi ekankana, yeenyoola olw'obulumi, kubanga entegeka y'Omukama ku Babiloni ekyatuukirira: ensi y'e Babiloni okugifuula amatongo nga temuli n'asulamu.
30
Abatabaazi b'omu Babiloni bakomye okulwana; beekuumidde mu bigo byabwe; amaanyi gabawedde, bafuuse ng'abakazi; amayumba ge gakutte omuliro, emiyingo gyabwe gimenyeddwa.
31
Bamatalisi bagobagana bugobaganyi, ababaka bagobagana bugobaganyi, okuleetera kabaka w'e Babiloni amawulire nti ekibuga kikwatiddwa ku njuyi zonna,
32
nti emisomoko giwambiddwa; nti ebisaalu biteekeddwa omuliro; nti abasajja abatabaazi bakubiddwa encukwe.
33
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Muwala wa Babiloni ali ng'egguuliro ku lunaku lwe balirinnyirira; ebbanga lisigadde ttono obudde bwe obw'okukungulibwa butuuke.”
34
“Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni anvaabidde, ankavvudde; anfudde ng'ensumbi enkalu; ammize nga ssessota; ajjuzza olubuto lwe n'ebicepere byange, olwo nze n'ampandula eri.
35
Obukambwe obwankolwako ne ku baana bange buli ku Babiloni,” abantu b'omu Babiloni bwe bagamba; “Omusaayi gwaffe gubeere ku abo abasula mu Kaludeya,” n'ab'omu Yeruzaalemu bwe bagamba.
36
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Nzija kulondoola ensonga zo, nkuwoolerere eggwanga. Ennyanja nzija kugikaza, ensulo ze nzikalize.
37
Babiloni kirifuuka ntuumu ya mayinja, nfo ya bibe, ekintu ekyesisiwaza era ekinyoomebwa, ekifo omutasula muntu n'omu.
38
Bonna baliwuluguma wamu ng'empologoma, balivuuma ng'obuwologoma obuto.
39
Nga bakyabuguumiridde, ndibakolera embaga, ne mbatamiiza okutuusa nga babongoose, olwo beebake emirembe gyonna, tebalizuukuka.
40
Ndibaserengesa ng'obuliga mu bbaagiro, ng'endiga ennume n'embuzi ennume.
41
Sesaki ddala kiwambiddwa! Ettendo ly'ensi yonna liwambibwa litya! Nga kyekango Babiloni ky'afuuse mu mawanga!
42
Ennyanja eyambuse ku Babiloni; abuutikiddwa amayengo gaayo agevvujjuula.
43
Ebibuga byayo bifuuse matongo; ensi enkalu, eddungu, ensi omutali muntu asulamu, omutali n'ayitamu.
44
Nzija kubonereza Beeli mu Babiloni, mmuwanze ekyo kye yamira. Okuva kati amawanga tegakyamukuluggukirako, ne bbugwe wa Babiloni yagudde dda.
45
“Mukiddukemu, bantu bange. Buli omu awonye obulamu bwe, mudduke obusungu bw'Omukama obwesera.
46
Omutima gwammwe guleme kutengera, nammwe temutya; olw'eŋŋambo eziwulirwa mu nsi, anti olugambo olumu lujja mu mwaka ogumu, n'olulala ne lujja mu mwaka omulala; obukambwe buli mu nsi, n'omufuzi omu aggyako omulala.
47
Kyo kituufu, ennaku zijja lwe nnaabonereza ebifaananyi bya balubaale eby'e Babiloni. Ensi ye yonna erikubwa ensonyi, n'abattiddwa baligaŋŋalama mu makkati ge.
48
Olwo eggulu n'ensi na byonna ebirimu biriyimba n'essanyu ku Babiloni, kubanga okuva emambuka abazikiriza bamujjira,” Omukama y'agamba.
49
Babiloni kiteekwa okugwa olw'abattibwa mu Yisirayeli, ng'abattibwa wonna mu nsi bwe baagwa olwa Babiloni.
50
Mmwe abawonye ekitala mugende, temwesiisa! Mujjukire Omukama nga muyima ewala, ne Yeruzaalemu abajje ku mutima.
51
Twaswadde, kubanga twawulira ebivumo; amaaso gaffe gajjudde okuswala, kubanga abagwira baayingira mu bifo ebitukuvu eby'Ekiggwa ky'Omukama.
52
“Kale nno, ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe nnaabonereza ebifaananyi bye ebya balubaale; era mu nsi ye yonna abaafumitibwa balisinda.
53
Babiloni ne bw'anaatumbiira n'atuuka eggulu, n'anyweza eminaala gye emitumbiivu, abalimuzikiriza baliva gye ndi,” Omukama y'agamba.
54
Eddoboozi ly'emiranga lifuluma mu Babiloni, eddoboozi ly'okuzikiriza okunene liva mu nsi y'Abakaludeya.
55
Omukama azikirizza Babiloni; eddoboozi lye eddene alisirisizza. Amayengo gaabwe gayira ng'amazzi amangi; eddoboozi ly'okuvvujjuula kwagwo liyira.
56
Kubanga abazikiriza batuuse e Babiloni; abazira abaliyo bawambiddwa, emisaale gyabwe gimenyeddwa, kubanga Omukama Katonda awoolera eggwanga, talema kuddiza.
57
“Nzija kutamiiza abakungu n'abagezi be, era n'abaamasaza be, abaami n'abazira; balyebaka otulo twa mirembe gyonna, tebalizuukuka,” y'agamba Kabaka, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
58
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Bbugwe wa Babiloni omugazi wa kusendawo, n'emiryango gye emiwanvu gyokebwe omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga geekooyeza si kirala, wabula omuliro.”
59
Obubaka Yeremiya omulanzi bwe yawa Seraaya mutabani wa Neriya, mutabani wa Makuseeya, bwe yali agenda e Babiloni wamu ne Zedekiya kabaka wa Yuda, mu mwaka ogwokuna ogw'obwakabaka bwe. Seraaya ye yali omukulu eyakuliranga kabaka w'awummulira.
60
Yeremiya yali awandiise mu kitabo kimu obubenje bwonna obwali bugenda okugwira Babiloni - ebigambo bino byonna ebyawandiikibwa ku Babiloni.
61
Yeremiya yali agambye Seraaya nti: “Bw'otuukanga e Babiloni, laba nti ebigambo bino obisoma mu lwatu.
62
Olwo n'ogamba nti: ‘Ayi Mukama, ogambye nti ojja kuzikiriza ekifo kino wabulewo ensolo esulamu oba omuntu asulamu, lisigale matongo ag'emirembe gyonna.’
63
Bw'omalanga okusoma ekitabo kino, ng'okisibako ejjinja, ng'okikasuka mu Furaati
64
eno nga bw'olaamiriza nti: ‘Babiloni bwe kirisaanawo kityo; tekiriddamu kusituka olw'akabi nze ke nnaakireetera.’ ” Ebigambo bya Yeremiya wano we bikoma.
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52