bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 52
Jeremiah 52
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
1
Zedekiya yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu gumu; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka kkumi na gumu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
2
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga Yoyakimu bwe yakola.
3
Bino byonna byagwira Yeruzaalemu ne Yuda olw'obusungu bwa Katonda, obwamuleetera okubagoba mu maaso ge. Kati nno Zedekiya yagenda n'ajeemera kabaka w'e Babiloni.
4
Awo mu mwaka ogwomwenda ogw'obwakabaka bwe, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi, Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni n'eggye lye lyonna yalumba Yeruzaalemu, ne basiisira ebweru wakyo ne bazimba ekikomera okukyetooloola.
5
Ekibuga ne bakizingiza okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obwakabaka bwa Zedekiya.
6
Ku lwomwenda olw'omwezi ogwokuna enjala mu kibuga n'ekanya, abantu mu nsi nga tebakyalina kaakulya.
7
Bbugwe w'ekibuga ne bamubomola, abasajja bonna abatabaazi ne batoloka mu kibuga ekiro nga bayitira mu muzigo oguli wakati w'ebisenge ebibiri ng'olaga ku nnimiro ya kabaka, newandibadde nga Abakaludeya baali bakitaayizza, ne bakwata ekkubo eriraga mu Araba.
8
Eggye ly'Abakaludeya ne liwondera kabaka ne limukwatira mu lusenyi lwa Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne libuna emiwabo.
9
Kabaka ne bamuwamba, ne bamutwala ewa kabaka w'e Babiloni e Ribula mu nsi y'e Kamati, n'amusalira omusango.
10
Eyo e Ribula kabaka w'e Babiloni n'attira batabani ba Zedekiya awo mu maaso ge, era n'atta n'abakungu ba Yuda bonna.
11
Amaaso ga Zedekiya n'agatungulamu, n'amusiba n'enjegere ez'ekikomo, n'amutwala e Babiloni, n'amusuula mu kkomera okutuusa ku lunaku lwe yafa.
12
Mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka w'e Babiloni yajja e Yeruzaalemu.
13
N'ayokya Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka n'ennyumba zonna mu Yeruzaalemu; buli kizimbe ekyegasa n'akyokya omuliro.
14
Eggye lyonna ery'Abakaludeya eryali n'omukulu w'abakuumi ba kabaka ne limenyawo bbugwe wa Yeruzaalemu ku njuyi zonna.
15
Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'atwala abaali basinga obwavu mu bantu n'abalala abaali bakyasigadde mu kibuga, n'abaali beegasse ku kabaka w'e Babiloni, n'abantu abalala abafundi.
16
Naye Nebuzaradani Omukulu w'abakuumi ba kabaka yalekamu mu abasinga obwavu mu ggwanga ng'abakozi mu mizabbibu n'ennimiro.
17
Abakaludeya baamenya empagi ez'ekikomo ezaali mu Kiggwa ky'Omukama, obutandaalo n'Ennyanja ey'ekikomo ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, n'ekikomo kyabyo kyonna ne bakitwala mu Babiloni.
18
Baatwala n'entamu, ebitiiyo, makansi, ebijiiko n'ebintu byonna eby'ekikomo ebyeyambisibwanga mu kuweereza mu Kiggwa.
19
Omukulu w'abakuumi ba kabaka era yatwala ebinaabirwamu, ebyoterezo n'ebibya eby'okumansira, entamu, ebikondo by'ettawaaza, ebibya n'essowaani ebikozesebwa ku bitone eby'okuyiwa, na byonna ebyali ebya zaabu omulungi n'ebya ffeeza.
20
Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, Ennyanja n'obutandaalo Solomoni bye yali akoledde e Kiggwa ky'Omukama, ekikomo ekyava mu bintu bino byonna, kyalema empima.
21
Empagi emu ng'eriko emikono kkumi na munaana mu buwanvu, ng'obwetooloovu ya mikono kkumi n'ebiri; omubiri gwayo nga guweza engalo nnya obunene; yalimu omuwulungwa wakati.
22
Enkata ey'ekikomo ku mutwe gw'empagi emu nga ya mikono etaano obuwanvu; yali etoneddwa n'akatimba n'amakomamawanga okwetooloola entwe nga byonna bya kikomo; n'empagi eyookubiri n'amakomamawanga gaakwo yali ewundiddwa mu ngeri ye emu.
23
Amakomamawanga gaali kyenda mu mukaaga ku njuyi zonna. Amakomamawanga gonna awamu gaali kikumi agaali mu butimba okwetooloola.
24
Omukulu w'abakuumi ba kabaka yatwala Seraaya kabona omukulu, Zefaniya kabona owookubiri n'abakuumi b'oku mulyango abasatu.
25
Mu kibuga yatwalamu omugabe omu eyali omukulu w'abatabaazi, abasajja musanvu mikwano gya kabaka be yasangiriza mu kibuga, n'omuwandiisi w'omukulu w'eggye eyawandiisanga abayingira eggye ly'eggwanga, n'abasajja nkaaga ab'eggye ly'eggwanga abaali basangiddwa mu kibuga.
26
Bonna abo Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka yabatwala eri kabaka w'e Babiloni mu Ribula.
27
Kabaka w'e Babiloni n'abakuba n'abattira mu Ribula mu nsi y'e Kamati. Bw'atyo Yuda n'aggyibwa mu nsi ye n'awaŋŋangusibwa.
28
Bano be bantu Nebukadurezzari be yawaŋŋangusa: mu mwaka ogwomusanvu Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu;
29
mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadurezzari abantu abaggyibwa mu Yeruzaalemu baali lunaana mu asatu mu babiri;
30
mu mwaka ogw'abiri mu esatu ogwa Nebukadurezzari, Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka yatwala Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano. Bonna wamu be bantu enkumi nnya mu lukaaga. Yoyakini addirwamu
31
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogw'okuwaŋŋangusibwa kwa Yoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, ku lunaku olwabiri mu olumu, Evili-Merodaki kabaka w'e Babiloni, mu mwaka ogusooka ogw'obwakabaka bwe, yakwatirwa ekisa Yoyakini kabaka wa Yuda n'amusumulula mu kkomera.
32
Yayogeranga naye bulungi; n'amuwa entebe ey'ekitiibwa eyali esukkulumye ku ntebe za bakabaka banne abaali naye mu Babiloni.
33
Yoyakini n'akyusa ebyambalo by'obusibe, era yaliiranga bulijjo ku mmeeza ya kabaka ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
34
Ku kulabirirwa, yabwewanga ensako ye bulijjo okuva ewa kabaka wa Babiloni buli lunaku ebbanga lyonna ery'obulamu bwe okutuusa ku lunaku lwe yafa.
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52