bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 2
Jeremiah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 3 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi, nga kigamba nti:
2
“Genda oleekaanire mu matu ga Yeruzaalemu, ogambe nti: Omukama kino ky'agamba: “ ‘Nzijukira omukwano gw'omu buvubuka bwo, okwagala kw'obugole bwo, nga bwe wangobereranga mu ddungu, mu nsi omutaasigibwa kantu.
3
Yisirayeli yali mutukuvu eri Omukama; ebibala ebisooka eby'amakungula ge; bonna abaamukavvulanga bazzizza omusango, era akabi kaabajjira,’ ” Omukama y'agamba.
4
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, nammwe mwenna ebika eby'ennyumba ya Yisirayeli.
5
Omukama kino ky'agamba: “Bajjajjammwe banzuulamu bubi ki balyoke banneesambire ewala, ne bagoberera ekitaliimu, ne bafuuka ekitagasa?
6
Tebaabuuza nti: ‘Omukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri, eyatuyisa mu ddungu, mu nsi ey'ensenyi n'ebikonko, mu nsi enkalu n'enzikiza ekutte, mu nsi omutayita muntu, omutaali yasengamu?’
7
Nabayingiza mu nsi ey'ennimiro z'ebibala, mulyenga ku bibala byayo n'ebirungi byamu enfaafa. Naye bwe mwajja, ne mujaajaamya ensi yange, obusika bwange ne mubufuula ekyenyinyalwa.
8
Bakabona tebaabuuza nti: ‘Omukama aluwa?’ Abakuumi b'Etteeka tebaamanya; abakulembeze banjeemera; abalanzi ne balanga nga bajulira Babaali, ne bagoberera ekitaliimu.
9
“Kyenva mbavunaana nate,” Omukama y'agamba, “ndivunaana n'abaana b'abaana bammwe.
10
Kale muwunguke mulage ku bizinga bye Kittimu mulabe, oba mutume e Kedari mwekkaanye nnyo, mulabe obanga waali wabaddeyo ekintu ekifaanana kiti:
11
Waali wabaddewo eggwanga eryali likyusizza balubaale baalyo? So nno ate bo mu butuufu si balubaale, naye abantu bange ekitiibwa kyabwe bakiwanyisaamu n'ekitaliimu.
12
Ggulu, wuniikirira olwa kino, tekemuka, wesisiwale nnyo,” Omukama y'agamba,
13
“kubanga abantu bange bazzizza emisango ebiri: Banjabulidde nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebyatifu ebitanyweza mazzi.
14
Yisirayeli muweereza, muddu eyazaalibwa awaka? Lwaki bafuuse omunyago?
15
Empologoma zimuvuumidde, ziwulugumye. Ensi ye bagizisizza; ebibuga bye byokeddwa, bifuuse matongo.
16
Abasajja b'e Memfi ne Takupanikesi bakubotodde akawompo.
17
Kino si ggwe wakyereetera ng'oyabulira Mukama Katonda wo bwe yali ng'akukulembera mu kkubo?
18
Kati okima ki e Misiri okunywa amazzi ga Sikori, Kiki ekikutwala mu Assuri okunywa amazzi g'Omugga?
19
Obugwenyufu bwo bulikubonereza, n'obujeemu bwo bulikuvunaana. Weetegereze olabe bwe kiri ekibi ate bwe kiruma, ggwe okwabulira Omukama Katonda wo, n'obutantyako n'akamu,” Omukama Katonda w'Amagye y'agamba.
20
“Dda wamenya ekikoligo kyo, wakutula emiguwa gyo; n'ogamba nti: ‘Sijja kuweereza.’ Naye ku buli kasozi akawanvu, na buli wansi wa muti oguggumizza weeyala wansi nga malaaya.
21
Sso nze nakusimba ng'omuzabbibu ogw'embala, oguva ku kikolo namaddala; ate wajja otya okuneefuukira n'ofuuka omuzabbibu omugwira?
22
Newandibadde ng'onaaba n'oluvu, ne weeyamba sabbuuni mungi, ekko ly'ekibi kyo likyandi awo mu maaso,” Omukama Katonda y'agamba.
23
“Oyinza otya okugamba nti: ‘Seegwagwawazza, sigobereranga Babaali’? Laba nga bwe weeyisa mu kiwonvu, tegeera kye wakola. Ggwe omwana gw'eŋŋamiya oguwenyuka, ogutabaalira mu bisinde byagwo;
24
endogoyi ey'ettale emanyidde eddungu, ewejjawejjera empewo ng'erunduzze; ng'esaze ani anaagitambaala? Eziginoonya tezirina kwekooya, zijja kugisanga mu biseera byayo.
25
Ekigere kyo tokireka kubeera kyereere, n'omumiro toguganya kukala. Naye ggwe wagamba nti: ‘Bya busa! Nze neeyagalira bagwira, era be nzija okugoberera.’
26
“Ng'omubbi bw'aswala ng'akwatiddwa, n'ennyumba ya Yisirayeli bw'eswadde, bo, bakabaka baabwe n'abakungu baabwe, bakabona baabwe n'abalanzi baabwe.
27
Bagamba omuti nti: ‘Ggwe kitange,’ n'ejjinja nti: ‘Ggwe onzaala.’ Nze bankubye amabega, tebantunuulira; naye akabi bwe kabagwira, olwo nga bagamba nti: ‘Situka otuwonye!’
28
Balubaale be mwekolera bali ludda wa? Basituke bakuwonye obanga basobola bw'oba mu kabi. Ndaba ebibuga byo bwe byenkana obungi, ne balubaale bo we benkana, Yuda.
29
“Lwaki munvunaana? Mmwe mwenna mwanjeemera,” Omukama y'agamba.
30
“Nabonerereza bwereere abaana bammwe; tebalina kye baayiga; ekitala kyammwe kyasaanya abalanzi bammwe, ng'empologoma enkavvuzi.
31
Mmwe ab'ezzadde lino, muwulire ekigambo ky'Omukama: Yisirayeli mmubeeredde ddungu, oba ensi ey'enzikiza ekutte? Lwaki abantu bange bagamba nti: ‘Ffe twebungeetera, tetukyajja gy'oli’?
32
Omuwala embeerera ayinza okwerabira ebyokwewoomya, oba omugole ebyambalo by'obugole? Naye bo abantu bange banneerabira n'ennaku kati tezikyabalika.
33
“Ng'omanyi okusala amagezi ng'onoonya okwagalibwa. N'abakazi ababi bayigidde ku ngeri zo.
34
Ne ku byambalo byammwe oli asangako enkulukuse z'omusaayi gw'abanaku abataliiko musango. Sso tewabasanga nga bamenya okuyingira. Newandibadde bwe gutyo bwe guli,
35
ggwe wagamba nti: ‘Siriiko musango, awo nno obusungu bwe bwanvaako.’ Naye nno nzija kugukusalira, olw'okugamba nti: ‘Sikolanga kibi.’
36
Ng'otangatanga nnyo! Ng'okyusakyusa amakubo go! Misiri ajja kukuswaza nga Assuri bwe yakukola.
37
Nayo olivaayo ng'emikono gikuli ku mutwe, kubanga Omukama asambazze abo be weesiga; togenda kubafunamu kirungi.” Balikomawo awali Katonda
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52