bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jeremiah 16
Jeremiah 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi nti:
2
“Towasa mukazi era tozaalira mu kifo kino baana,
3
kubanga Omukama kino ky'agamba ku baana abalenzi n'abawala abazaalirwa mu kifo kino, ne ku bakazi bannyaabwe ne ku basajja bakitaabwe:
4
‘Balifa endwadde ezitta; tebalikaabirwa yadde okuziikibwa, wabula baliba ng'obusa obumanse wonna ku ttaka. Balisaanyizibwawo ekitala n'enjala, n'emirambo gyabwe giribeera mmere ya binyonyi eby'omu bbanga n'ey'ebisolo ku nsi.’
5
“Kubanga Omukama kino ky'agamba: Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, togenda kukaaba yadde okukubagiza, kubanga abantu abo mbaggyeeko emirembe gyange, ekisa kyange n'okusaasira kwange, Omukama y'agamba.
6
Abanene n'abatene balifiira mu nsi eno, awataliba kuziikibwa yadde abantu okubakungubagira; tebalibeesalira misale na kubamwera nviiri.
7
Teriba mmere eweebwa mukungubazi okumukubagiza olw'okufiirwa; teriba amuwa kaakunywa olw'okumukubagiza, ne bw'aliba akungubagira kitaawe oba nnyina.
8
“Toyingira mu nnyumba muli mbaga, otuule, onywe nabo.
9
Kubanga Omukama w'Amagye Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Mu kifo kino, mu budde bwo, ng'olaba bw'oti, ŋŋenda kukomya eddoboozi ly'essanyu n'okujaguza, n'eddoboozi ly'awasa n'ery'omugole.’
10
“Bw'oliba omaze okubuulira abantu bano ebigambo ebyo byonna, ne bakubuuza nti: ‘Lwaki Omukama atulangirira akabi akanene ako konna? Musango ki gwe twazza? Kibi ki kye twasobya Omukama Katonda waffe?’
11
obagambanga nti: ‘Kubanga bajjajjammwe banjabulira,’ Omukama y'agamba, ‘ne bagoberera balubaale, ne babaweereza, ne babavunnamira okubasinza. Nze bandeka, ne batakwata tteeka lyange.
12
Naye ate nammwe mukoze na bubi okusinga bajjajjammwe. Kale mulabe, buli omu mu mmwe agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi mu kifo ky'okumpulira.
13
N'olw'ekyo ŋŋenda kubakasuka okuva mu nsi muno, mbasuule mu nsi mmwe ne bajjajjammwe gye mutamanyangako. Eyo gye muliweerereza balubaale emisana n'ekiro, kubanga sijja kubalaga busaasizi.’
14
“Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’
15
wazira nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi yaabwe gye nawa bajjajjaabwe.
16
“Naye kati ŋŋenda kusindika abavubi bangi babavube,” Omukama y'ayogera. “Ate oluvannyuma ndibasindikira abayizzi bangi; abalibayigga ku buli lusozi ne ku buli kasozi ne yonna eyo mu mpampagama z'enjazi.
17
Amaaso gange gatunuulidde amakubo gaabwe gonna, tewali we ganeekisiza, n'ebibi byabwe tebirina we byekwese maaso gange.
18
Ndibabonereza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'ekibi kyabwe, kubanga bajaajaamizza ensi yange n'emirambo gy'ebintu byabwe ebitaliimu, n'obusika bwange ne babujjuza ebyenyinyalwa byabwe.”
19
Ayi Mukama, amaanyi gange, ekigo kyange, obuddukiro bwange mu budde obw'akabi, ewuwo amawanga gye galijja okuva ku nkingi z'ensi, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe bye baasikira temuli, wazira bulimba bwereere, ebitaliimu era ebitaliiko kye byabagasa.
20
Omuntu asobola okwekolera balubaale? Yee, naye ebyo tebiba Katonda.”
21
Kale nno nzija kubamanyisa, ku luno nzija kubamanyisa omukono gwange n'obuyinza bwange, olwo balitegeera ng'erinnya lyange nze Mukama.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52