bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 1
Numbers 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Omukama yayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinayi mu Weema ey'Ensisinkano, ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri bukya Bayisirayeli bava mu Misiri, n'amugamba nti:
2
“Mubale ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe, nga muwandiika amanya ga buli musajja kinnoomu.
3
Ggwe ne Aroni mujja kubala nga mugoba ebibinja byabwe abo bonna mu Yisirayeli abasobola okutabaala, nga muva ku w'emyaka abiri n'okusingawo.
4
Mu buli kika omukulu w'ennyumba ya bajjajjaabwe y'alikuyambako.
5
“Gano ge mannya g'abanaabayambako: mu Rubeni, Elizuri mutabani wa Sedewuri;
6
mu Simewoni, Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi;
7
mu Yuda, Nakusoni mutabani wa Amminadabu;
8
mu Yissakari, Netaneli, mutabani wa Zuwari;
9
mu Zebuluni, Eliyabu mutabani wa Keloni;
10
mu batabani ba Yozefu: mu Efurayimu, Elisama mutabani wa Ammiwudi; mu Manasse, Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri;
11
mu Benyamiini, Abidani mutabani wa Gidewoni;
12
mu Daani, Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi;
13
mu Aseeri, Pagyeli mutabani wa Okurani;
14
mu Gaadi, Eliyasafu mutabani wa Deweli;
15
mu Nafutali, Akira mutabani wa Enani.”
16
Abo be bantu abakulu abaalondebwa okuva mu kibiina, abakulu b'ebika bya bajjajjaabwe, emitwe gy'enkumi za Yisirayeli.
17
Musa ne Aroni ne batwala abasajja bano, amannya gaabwe agaali galondeddwa,
18
ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokubiri. Abantu ne bawandiisa endyo zaabwe mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe, ate bo abasajja okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo amannya gaabwe ne gawadiikibwa buli omu kinnoomu
19
ng'Omukama bwe yali alagidde Musa. Musa n'ababala bw'atyo mu ddungu ly'e Sinayi.
20
Mu bazzukulu ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe buli omu kinnoomu mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
21
Omuwendo gwabwe mu kika kya Rubeni gwali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano.
22
Mu bazzukulu ba Simewoni: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baabalibwa okusinziira ku muwendo gw'amannya gaabwe buli omu kinnoomu mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
23
Abaabalibwa mu kika kya Simewoni baawera emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu.
24
Mu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
25
Abaabalibwa mu kika kya Gaadi baawera emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26
Mu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
27
Abaabalibwa mu kika kya Yuda baawera emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28
Mu bazzukulu ba Yissakari: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
29
Abaabalibwa mu kika kya Yissakari baawera emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina.
30
Mu bazzukulu ba Zebuluni: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
31
Abaabalibwa mu kika kya Zebuluni baawera emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina.
32
Mu bazzukulu ba Yozefu: okuva mu bazzukulu ba Efurayimu: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
33
Abaabalibwa kika kya Efurayimu baawera emitwalo ena mu ebikumi bitaano.
34
Mu bazzukulu ba Manasse: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
35
Abaabalibwa mu kika kya Manasse baawera emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36
Mu bazzukulu ba Benyamiini: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
37
Abaabalibwa mu kika kya ba Benyamiini baawera emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina.
38
Mu bazzukulu ba Daani: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
39
Abaabalibwa mu kika kya Daani baawera emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40
Mu bazzukulu ba Aseeri: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
41
Abaabalibwa mu kika kya Aseeri baawera emitwalo ena mu lukumi mu bitaano.
42
Mu bazzukulu ba Nafutali: Abasajja bonna abawezezza emyaka abiri n'okusingawo, abasobola okutabaala, baawandiikibwa amannya gaabwe mu masiga gaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe.
43
Abaabalibwa mu kika kya Nafutali baawera emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
44
Abo be baabalibwa, Musa ne Aroni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ba Yisirayeli ekkumi n'ababiri, buli omu ku lw'ennyumba ya bajjajjaabwe.
45
Abasajja bonna Abayisirayeli abaali basobola okugenda okutabaala abawezezza emyaka abiri n'okusingawo baabalibwa mu nnyumba za bajjajjaabwe.
46
Bonna abaabalibwa baawera obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu ataano.
47
Abaleevi mu masiga ga bajjajjaabwe tebaabalibwa wamu na bali.
48
Omukama yagamba Musa nti:
49
“Ekika kya Leevi leka kukibala, era omuwendo gwabwe togugatta ku gwa Bayisirayeli,
50
wabula bo basse ku kulabirira Ekisulo eky'Endagaano, byonna ebyamu na buli kyonna ekidda ku Kisulo. Bo bennyini be banaasitulanga Ekisulo na byonna ebyamu; be banaakirabiriranga, era bajja kusimbanga weema zaabwe okwetooloola Ekisulo.
51
Ekisulo bwe kinaatuukanga okusitula, Abaleevi be banaakimenyanga; ate bwe kinaatuukanga okusimba, be banaakisimbanga. Omuntu owa bulijjo anaakisembereranga wa kuttibwanga.
52
Abayisirayeli banaasiisiranga buli omu mu kibinja kye, ku bendera ye.
53
Bo Abaleevi weema ba kuzisimba okwetooloola Ekisulo eky'Endagaano, obusungu buleme kugwira Bayisirayeli. Bo Abaleevi ba kulabiriranga Kisulo eky'Endagaano.”
54
Abayisirayeli ne bakola byonna ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36