bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 13
Numbers 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Sindika abasajja bakette ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayeli; mu buli kika kya bajjajjaabwe olondamu omu ku bakulu baabwe.”
3
Musa n'akola Omukama kye yali amulagidde, n'ayima mu ddungu ly'e Parani n'asindika abasajja abakulu b'abantu;
4
gano ge mannya gaabwe: Eyava mu kika kya Rubeni ye Sammuwa mutabani wa Zakkuri;
5
mu kika kya Simewoni, Safati mutabani wa Ori;
6
mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne;
7
mu kika kya Yissakari, Yigali mutabani wa Yozefu;
8
mu kika kya Efurayimu, Ozeya mutabani wa Nuunu;
9
mu kika kya Benyamiini, Paluti mutabani wa Rafu;
10
mu kika kya Zebuluni, Gaddyeli mutabani wa Sodi;
11
mu kika kya Yozefu, kye kika kya Manasse, Gaddi mutabani wa Susi;
12
mu kika kya Daani, Ammyeli mutabani wa Gemalli;
13
mu kika kya Aseeri, Seturi mutabani wa Mikayeli;
14
mu kika kya Nafutali, Nakubi mutabani wa Vofusi;
15
mu kika kya Gaadi, Geweli mutabani wa Maki.
16
Ago ge mannya g'abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta ensi. Musa n'awa Ozeya mutabani wa Nuunu erinnya eddala erya Yoswa.
17
Musa n'abasindika okuketta ensi Kanaani, n'abagamba nti: “Mwambuke nga muyita mu Negevu mutuukire ddala mu nsi ey'ensozi.
18
Mwekkaanye ensi nga bw'eri, n'abantu abalimu oba ba maanyi oba banafu; oba batono oba bangi;
19
ensi yennyini mwe bali efaanana etya, nnungi oba mbi; ebibuga mwe basula bifaanana bitya, bya nsiisira oba bigo;
20
ettaka ggimu oba lya lunnyo; nsi ya miti oba malungu? Mubeere bagumu, mutuleeterangayo ku bibala by'ensi eyo.” Bwali budde bwa mizabbibu egisooka okwengera.
21
Bwe baayambuka, ne bekkaanya ensi okuva ku ddungu ly'e Zini okutuuka e Lekobu ku kkubo eriraga e Kamati.
22
Ne bayambukira mu Negevu, ne batuuka e Keburoni awaali Akimani, Sesayi ne Talumayi batabani ba Anaki. Keburoni yali yaakamala emyaka musanvu nga mukube Zowani, ekibuga ky'e Misiri, okukubibwa.
23
Bwe baatuuka mu Kiwonvu kya Esukoli ne batema ettabi ly'omuzabbibu n'ekirimba kyakwo kimu, abasajja babiri ne balyetikka ku musituliro omu eno n'omulala eri. Era baanogako ku makomamawanga n'entontogolo z'emikunyu.
24
Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu Esukoli, olw'okubeera ekirimba ky'emizabbibu kye baatemayo.
25
Oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana, abakessi baakomawo okuva mu kuketta ensi.
26
Ne bajja eri Musa, Aroni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani. Ne bababuulira n'ekibiina kyonna ebintu nga bwe byagenda, ne babalaga ebibala by'omu nsi eyo.
27
Musa ne bamugamba nti: “Twatuuka mu nsi gye mwatutuma, mu mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; bino bye bibala byayo.
28
Naye abantu baayo ba maanyi, n'ebibuga biriko ebigo ebinene ennyo. Twalabayo abasibuka mu Anaki.
29
Abaamaleki be bali mu Negevu; Abakitti, Abayebusi n'Abaamori be bali mu nsozi, bo Abakanaani bali kumpi n'ennyanja era ne ku mugga Yorudani.”
30
Awo Kalebu n'akkakkanya abantu abaali beetoolodde Musa, n'abagamba nti: “Twambuke, tulye ensi, kubanga mu mazima tusobola okukikola.”
31
Naye abalala be yagenda nabo ne bagaana nti: “Tetusobola kulumba bantu bano, kubanga ba maanyi okutusinga.”
32
Ne bayogera bubi eri abantu ku nsi gye baali bakesse nga bagamba Abayisirayeli nti: “Ensi gye twaketta ebwebwena abagirimu; abantu be twalabayo ba kiwago;
33
twalabayo n'Abanefili, bazzukulu ba Anaki, ab'olulyo lw'abawagguufu; ffe tweraba ng'enzige obuzige, era nabo bwe batyo bwe twabalabikira.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36