bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 20
Numbers 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Mu mwezi omubereberye Abayisirayeli n'ekibiina kyonna ne batuuka mu ddungu ly'e Zini, ne basigala e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, n'aziikibwa eyo.
2
Ekibiina bwe kyabulwa amazzi, ne bakuŋŋaana okulumba Musa ne Aroni
3
ne bayombesa Musa, ne bagamba nti: “Singa nno twafa ku luli baganda baffe lwe baafiira mu maaso g'Omukama.
4
Lwaki waleeta ekibiina ky'Omukama mu ddungu, ffe n'ebisolo byaffe tufiire muno?
5
Lwaki watwambusa n'otuggya mu Misiri, n'otuleeta mu kifo kino eky'akabi, mw'otoyinza kusiga, omutadda na mikunyu na mizabbibu, wadde amakomamawanga? Temuli na mazzi ga kunywa!”
6
Musa ne Aroni, ne bava awali ekibiina, ne bajja ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe, ekitiibwa ky'Omukama ne kibalabikira.
7
Omukama n'agamba Musa nti:
8
“Kwata omuggo, ggwe ne Aroni muganda wo mukuŋŋaanye ekibiina; mwogere eri olwazi awo mu maaso gaabwe, lwo lujja kufumbukula amazzi gaalwo. Mujja kuggya amazzi mu lwazi, abantu banywe n'ebisolo.”
9
Musa n'akwata omuggo, ogwali mu maaso g'Omukama, ng'Omukama bwe yali amulagidde.
10
Musa ne Aroni ne bakuŋŋaanya abantu mu maaso g'olwazi, n'abagamba nti: “Muwulire, mmwe abajeemu; ffe tubaggyire amazzi mu lwazi luno?”
11
Musa bwe yasitula omukono n'akuba olwazi emirundi ebiri n'omuggo, amazzi nkumu ne gafumbukuka, abantu ne banywa n'ebisolo.
12
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti: “Kubanga temwanneesize kimala, ne mutampa kitiibwa ng'omutukuvu mu maaso g'Abayisirayeli, abantu bano temujja kubayingiza mu nsi gye ndibawa.”
13
Ge gano amazzi g'e Meriba, Abayisirayeli gye baayombesa Omukama, naye n'abeeraga nga bw'ali omutukuvu mu bo.
14
Musa n'atuma ababaka ewa kabaka wa Edomu ng'ayima e Kadesi bamugambe nti: “Muganda wo Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Omanyi ebizibu ebyatutuukirira,
15
nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tubeera eyo ebbanga eggwanvu, Abamisiri ne batubonyaabonya nga bwe baakola bajjajjaffe;
16
naye bwe twawanjagira Omukama, n'atuwulira, n'atuma malayika eyatuggyayo mu Misiri. Kati tuutuno wano mu kibuga ky'e Kadesi, ekiri ku nkingi z'ensi yo.
17
Tukwegayiridde tukkirize tukutulire mu nsi yo. Tetujja kuyita mu nnimiro oba mu mizabbibu, wadde okunywa amazzi mu nzizi zo; tujja kutambula nga tetukyamye ku ddyo oba ku kkono, nga tugoba oluguudo lwa kabaka lwokka, okutuusa lwe tunaakutula ensalo zo.’ ”
18
Naye Edomu n'amwanukula nti: “Tojja kukutulira wano, bw'onoogezaako, tujja kuvaayo n'ebitala nkulumbe.”
19
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Nzija kugoberera kkubo ddene lyokka, singa nze n'amagana gange tunaanywa ku mazzi go, ŋŋenda kugasasulira. Nsaba kimu kyokka, nkutulire wano ku bigere.”
20
Edomu n'ayanukula nti: “Tookutulire wano.” Amangu ago n'afuluma okumulumba n'eggye eddene ate ery'amaanyi.
21
Edomu bwe yamugaana okusalira mu nsi ye, ne Yisirayeli n'akyuka n'amuviira.
22
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne basitula ne bava e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Ori,
23
Omukama n'ayogera ne Musa ne Aroni ku lusozi Ori oluliraanye Edomu, n'amugamba nti:
24
“Aroni ajja kufa yeegatte ku bantu be. Tajja kuyingira nsi gye nnaawa Abayisirayeli, kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi g'e Meriba.
25
Ddira Aroni ne Eleyazari mutabani we obambuse ku lusozi Ori.
26
Aroni mwambulemu ebyambalo bye obyambaze Eleyazari mutabani we, kubanga Aroni ajja kufiira eyo yeegatte ku bantu be.”
27
Musa yakola ng'Omukama bwe yali alagidde, ne bayambuka olusozi Ori ng'ekibiina kyonna kiraba.
28
Musa n'ayambulamu Aroni ebyambalo bye, n'abyambaza Eleyazari mutabani we. Aroni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eleyazari ne baserengeta wansi w'olusozi.
29
Ekibiina kyonna bwe kyamanya nga Aroni afudde, ennyumba yonna eya Yisirayeli n'emukaabira okumala ennaku amakumi asatu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36