bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 25
Numbers 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Yisirayeli bwe yali akyali mu Sittimu, abasajja ne batandika okukola obwamalaaya ne bawala ba Mowabu.
2
Abawala ne babayita bagende ku bitambiro bya balubaale baabwe. Abantu ne balya, ne basinza balubaale baabwe.
3
Yisirayeli ne yeegatta ku Baali ow'e Pewori; obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli.
4
Omukama n'agamba Musa nti: “Ddira abakulembeze bonna ab'abantu bano obatte, obaanike mu maaso g'Omukama emisana ttuku, obusungu bw'Omukama obwesera bulyoke buve ku Yisirayeli.”
5
Musa n'agamba Abalamuzi ba Yisirayeli nti: “Buli omu atte mu bantu be abo abeegasse ku Baali ow'e Pewori.”
6
Awo mu maaso ga Musa, nga n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli balaba, nga bakyali mu kukungubaga awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano, omu ku Bayisirayeli n'ayingiza mu maka ge omukazi Omumidiyaani.
7
Finekasi mutabani wa Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, bwe yakiraba, n'ava mu kibiina, n'abaka effumu mu mukono gwe,
8
n'agoberera omusajja Omuyisirayeli mu kisenge munda, bombi n'abayisaamu effumu, mu musajja Omuyisirayeli ne mu lubuto lw'omukazi. Awo ekibonerezo ku Bayisirayeli ne kirekera awo.
9
Naye abaali bamaze okuttibwa baali baweze abantu emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10
Omukama n'agamba Musa nti:
11
“Finekasi mutabani wa Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, aggye obusungu bwange ku Bayisirayeli, kubanga alaze nti alumirwa ekitiibwa kyange mu makkati gaabwe nga nze kennyini bwe nkirumirwa. Lwa kukirumirwa bwe ntyo kyennava sibasaanyaawo.
12
Awo nno mugambe nti: ‘Nkoze naye endagaano ey'eddembe.
13
Ye ne bazzukulu be endagaano y'obwakabona obw'olubeerera eneebanga yaabwe, kubanga yatakabanira ekitiibwa kya Katonda we, n'addaabiriza ku lw'Abayisirayeli.’ ”
14
Omusajja Omuyisirayeli eyattibwa awamu n'Omumidiyaani yali ayitibwa Zimuri, mutabani wa Salu, nga mukulu wa nnyumba y'Abasimewoni.
15
Ye omukazi Omumidiyaani eyattibwa yali ayitibwa Kozubi, muwala wa Zuru omukulu w'ennyumba mu Bamidiyaani.
16
Omukama yagamba Musa nti:
17
“Muwalane Abamidiyaani mubatte,
18
kubanga nabo beeyisizza ng'abalabe bammwe, ne babasuula mu nkwe zaabwe n'ensonga za Pewori era n'ezo eza Kozubi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu Omumidiyaani, eyattibwa ku lunaku olw'ekibonerezo lwe kyajja olw'ensonga za Pewori.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36