bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 6
Numbers 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'ayagalanga okweyama, kwe kugamba, okukuba obweyamo obw'okweyawulira Omukama ng'omunazireewo,
3
yeggyanga ku vviini ne ku buli kyonna ekitamiiza; era tanywanga nkaatu ya vviini oba enkaatu y'ekitamiiza kyonna. Tanywanga mubisi gwa mizabbibu oba okugirya, gibeere mibisi oba egy'omuwotokwa.
4
Ebbanga lyonna ly'alimala nga munazireewo takombanga ku kyonna ekiyinza okuva mu mizabbibu, newandibadde obusigo oba obukuta bwagyo.
5
Ebbanga lyonna ly'alimala mu bweyamo nga munazireewo, akamwano tekayitanga mu mutwe gwe. Okutuusa ng'obudde buweddeyo bwe yeeyawuliramu Omukama, anaabeeranga mutukuvu; enviiri z'oku mutwe gwe azirekanga ne zikula.
6
Ebbanga lyonna nga yeeyawulidde Omukama, tasemberanga awali omufu.
7
Ne bw'abeeranga nga kitaawe y'afudde, oba nnyina, oba muganda we, oba mwannyina, taganyanga n'ataba mulongoofu olw'okubeera bo, kubanga ku mutwe gwe akyalina akabonero nga bwe yeeyawulira Omukama.
8
Ebbanga lyonna nga yeeyawudde, alibanga muwonge wa Mukama.
9
“ ‘Singa omuntu afiira awo w'ali ekibwatukira, enviiri ze ze yawonga ziriba zoonoonese; azimwanga ku lunaku olwo lwennyini lwe yeetukuza, kwe kugamba olunaku olwomusanvu.
10
Ku lunaku olwomunaana aleetanga ewa kabona amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
11
Akamu kabona anaakaweerezanga ng'ekitambiro olw'ekibi, ate kalala ng'ekitambiro ekyokye, addaabirize ku lulwe, kubanga yakola ekibi okuba awali omufu. Ku olwo alitukuza omutwe gwe.
12
Era alitukuza ennaku nga yeeyawulidde Omukama; aleetanga akaliga ak'omwaka ogumu akalume olw'ekitambiro eky'omusango. Naye ennaku ziri ezaakulembera ziriba zifudde, kubanga yayonoona okweyawula kwe.
13
“ ‘Lino lye tteeka ku munazireewo ng'ennaku z'okweyawula kwe zibadde ziweddeko. Bamuleetanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano,
14
n'awaayo ebitone ew'Omukama: akaliga akalume ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo olw'ekitambiro ekyokye, akaliga akaluusi ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo olw'ekitambiro olw'ekibi, endiga ennume etaliiko kamogo olw'ekitambiro eky'okussa ekimu,
15
obuwunga olw'ekitone eky'obuwunga, n'eby'ekitone eky'okuyiwa, ekisero ky'emigaati egitazimbulukuse, bukkeeki obugoye mu buwunga obukuŋŋunte obulungi nga butabuddwamu omuzigo, n'obugaati obw'oluwewere obusiigiddwa omuzigo.
16
Kabona ebyo abireetanga mu maaso g'Omukama n'aweereza ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro ekyokye.
17
Omunazireewo alireeta ekisero ky'emigaati egitazimbulukuse, ate kabona n'aweereza eri Omukama endiga ennume ng'ekitambiro eky'okussa ekimu awamu n'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'eky'okuyiwa.
18
Omunazireewo awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano w'amweranga enviiri ze yawonga; aziddiranga n'azissa ku muliro oguli wansi w'ekitambiro eky'okussa ekimu.
19
Ng'omunazireewo amaze okumwako enviiri ze yali awonze, kabona addiranga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'aggya mu kisero kakeeki kamu akatazimbulukuse n'akagaati ak'oluwewere kamu akatazimbulukuse, n'abissa mu mukono gwe.
20
Kabona abiwuubanga mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba; bino bitukuvu, bya kabona wamu n'ekifuba kye yawuubye n'ekisambi ekyayawuliddwako. Ebyo nga biwedde, omunazireewo ayinza okunywa evviini.
21
“ ‘Lino lye tteeka ku munazireewo eyeeyamye okwewa Omukama mu kweyawula kwe, nga tobaze birala by'asobola kukola. Obweyamo bw'abanga akoze, abutuukirizanga ng'etteeka ku banazireewo bwe ligamba.’ ”
22
Omukama yagamba Musa nti:
23
“Gamba Aroni ne batabani be nti: ‘Abayisirayeli mubawanga bwe muti omukisa, mubagambanga nti:
24
“ ‘Omukama akuwe omukisa, akukuume;
25
“ ‘Omukama akwakize amaaso ge, akugirire ekisa;
26
“ ‘Omukama akukyukize amaaso ge, akuwe emirembe.’
27
“Bwe batyo banaakoowooleranga erinnya lyange ku Bayisirayeli, nange ne mbawa omukisa.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36