bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 22
Numbers 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 23 →
1
Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu miseetwe gy'e Mowabu ku Yorudani emitala wa Yeriko.
2
Balaki mutabani wa Zippori bwe yalaba byonna Yisirayeli bye yali akoze Abaamori,
3
Mowabu n'atya abantu, kubanga baali bangi nnyo. Mowabu n'atekemuka olw'Abayisirayeli.
4
Balaki n'agamba abakadde mu Midiyaani nti: “Ebbiina lino lijja kusenkenya byonna ebitwetoolodde wano, ng'ente bw'esenkenya omuddo gw'ettale.” Awo Balaki mutabani wa Zippori, ye yali kabaka wa Mowabu mu budde obwo,
5
n'atuma ababaka ewa Balaamu mutabani wa Bewori mu Petori, ekiri ku Mugga mu nsi y'eggwanga lye, bamuyite, ng'agamba nti: “Abantu bali wano baavudde mu Misiri, babisse ku nsi wonna, basenze kumpi nange.
6
Jjangu nno obavumirire, kubanga bampitiridde amaanyi, mpozzi lwe nnaasobola okubakuba ne mbagoba mu nsi yange. Mmanyi nti gw'owa omukisa abeera aguwereddwa, gw'ovumirira abeera avumiriddwa.”
7
Abakadde b'omu Mowabu ne bannaabwe ab'omu Midiyaani ne bagenda nga batutte eby'okuwa omulaguzi. Bwe baatuuka eri Balaamu ne bamugamba byonna Balaki bye yabatuma.
8
Balaamu n'abagamba nti: “Musule wano; nzija kubabuulira kyonna Omukama ky'anaaba aŋŋambye.” Abakungu ba Mowabu ne basigala ne Balaamu.
9
Katonda n'ajja gy'ali, n'amubuuza nti: “Baani abo abali ewuwo?”
10
Balaamu n'agamba Katonda nti: “Balaki mutabani wa Zippori kabaka w'Abamowabu antumidde,
11
ng'agamba nti: ‘Abantu baabano abaava mu Misiri, babisse ku nsi wonna. Jjangu obanvumiririre, mpozzi lwe nnaasobola okubalwanyisa ne mbagoba.’ ”
12
Katonda n'agamba Balaamu nti: “Togenda nabo, n'abantu tobavumirira, kubanga baaweebwa omukisa.”
13
Balaamu bwe yazuukuka enkya, n'agamba abakungu ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Omukama aŋŋaanyi okugenda nammwe.”
14
Abakungu b'e Mowabu ne baddayo ewa Balaki, ne bamugamba nti: “Balaamu agaanyi okujja naffe.”
15
Balaki n'atuma omulundi omulala abakungu abasingawo obungi n'ekitiibwa ku bali.
16
Bwe bajja eri Balaamu, ne bamugamba nti: “Balaki mutabani wa Zippori agamba bw'ati: ‘Toganya na kimu kukuziyiza kujja gye ndi.
17
Ebitiibwa nzija kukuwa bingi, na buli kyonna ky'onooba oŋŋambye, nzija kukikola. Jjangu onvumirire abantu bano.’ ”
18
Naye Balaamu n'ayanukula ababaka ba Balaki nti: “Balaki ne bw'aba wa kumpa lubiri lwe lwonna olujjudde ffeeza ne zaabu, siyinza kusukka ku kigambo kya Mukama Katonda wange, kibeere kinene oba kitono kitya.
19
Mbasaba musule wano nga bannammwe bwe baakola, mmale okumanya ekirala Omukama ky'anaŋŋamba.”
20
Katonda n'ajja ekiro eri Balaamu, n'amugamba nti: “Oba abantu abo bazze kukuyita, situka ogende nabo, kyokka okola ekyo kyokka kye nnaaba nkugambye.”
21
Bwe yazuukuka ku makya, Balaamu n'asituka, n'atandiika endogoyi ye, n'agenda n'abakungu b'e Mowabu.
22
Bwe yagenda, obusungu bwa Katonda ne bwesera; malayika w'Omukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balaamu yali yeebagadde endogoyi nga n'abaweereza be babiri bali naye.
23
Endogoyi bwe yalaba malayika w'Omukama ng'ayimiridde mu kkubo, ng'alina n'ekitala ekisowole mu mukono gwe, n'eva mu kkubo n'egenda mu nnimiro. Balaamu n'agikuba ekomewo mu kkubo.
24
Malayika w'Omukama n'ayimirira mu muwaatwa ogwali wakati w'ebisenge by'ennimiro z'emizabbibu, erudda n'erudda nga kisenge.
25
Endogoyi bwe yalaba malayika ne yeekukuutiriza ku kisenge, n'enyigiriza ekigere kya Balaamu ku kisenge; Balaamu n'addamu okugikuba.
26
Malayika w'Omukama ne yeeyongerayo mu maaso, n'ayimirira awafunda awatayinza kukyukirwa ku kkono oba ku ddyo.
27
Endogoyi bwe yalaba malayika w'Omukama, n'egalamira awo wansi wa Balaamu. Obusungu bwa Balaamu ne bwesera, n'agikuba omuggo.
28
Omukama n'aggula omumwa gw'endogoyi, n'eyogera nti: “Kiki kye nkukoze olyoke onkube? Laba guno gwa kusatu ng'onkuba.”
29
Balaamu n'ayanukula nti: “Kubanga onjooze. Mba na kitala mu ngalo kati, nandikusse.”
30
Endogoyi n'egamba nti: “Siri nsolo yo, gy'ozze weebagala bulijjo n'okutuusa ku lunaku lwa leero? Mmanyidde okukukola ekifaanana kiti?” Ye n'agamba nti: “Nedda.”
31
Amangu ago Omukama n'azibula amaaso ga Balaamu, n'alaba malayika w'Omukama ng'ayimiridde mu kkubo, n'ekitala ekisowole mu mukono gwe; n'avunnama n'asinza nga yeevuunise.
32
Malayika w'Omukama n'amubuuza nti: “Lwaki endogoyi yo ogikubye, guno gwa kusatu? Nze nzize nkuziyize, kubanga olugendo luno terunsanyusizza.
33
Endogoyi bw'endabye, kwe kunviira emirundi egyo esatu; teba kunviira, ggwe nandikusse, naye yo nandigirese.”
34
Balaamu n'agamba malayika w'Omukama nti: “Nnyonoonye; saategedde nti ggwe onneesimbye mu maaso mu kkubo okunziyiza; kale oba tokisiimye, ka nzireyo.”
35
Malayika w'Omukama n'agamba Balaamu nti: “Kale genda na bano, kyokka oyogera ebyo byokka bye nnaakugamba.” Balaamu n'agenda n'abakungu ba Balaki.
36
Balaki bwe yawulira nti Balaamu azze, n'agenda okumusisinkana e Ari mu Mowabu, ku nsalo ku mugga Arunoni, ensi ye w'ekoma.
37
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Saakutumidde ababaka okukuyita? Lwaki tewazze gye ndi? Olowooza sisobola kukuwa bitiibwa?”
38
Ye n'amwanukula nti: “Kati nzuuno nzize. Olowooza nsobola okwogera buli kye njagadde? Njogera ekyo kyokka Omukama ky'atadde mu kamwa kange.”
39
Awo Balaamu ne Balaki ne bagenda bombi e Kiriyati-Kuzoti.
40
Balaki n'atta ente n'endiga, n'aweerezaako Balaamu n'abakungu abaali naye.
41
Bwe bwakya, Balaki n'atwala Balaamu e Bamoti-Baali, ng'asinziira awo abantu n'abalengerako ekitundu.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36