bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 35
Numbers 35
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Omukama yagamba Musa mu miseetwe gya Yorudani emitala wa Yeriko nti:
2
“Lagira Abayisirayeli bawe Abaleevi ku busika bwe balifuna ebibuga omw'okubeera, babawe amalundiro okwetooloola ebibuga byabwe.
3
Nabo babeere n'ebibuga babawe amalundiro aw'okulundira ente zaabwe, endiga n'ebisolo byabwe ebirala.
4
Amalundiro gaabwe galiba mu kibangirizi kya mikono lukumi okwetooloola ekibuga ebweru wa bbugwe w'ebibuga bye mulibawa.
5
Ebweru w'ekibuga mupimangayo emikono enkumi bbiri ku ludda lw'ebuvanjuba, n'emaserengeta era emikono enkumi bbiri, n'ebugwanjuba, nayo emikono enkumi bbiri, n'emambuka era emikono enkumi bbiri, ekibuga nga kiri wakati. Ekibangirizi ekyo kyonna kyabwe ku lw'eddundiro ly'ekibuga.
6
“Ku bibuga ebyo bye munaawa Abaleevi, mukaaga ku byo biriba bibuga bya bwewogomo, asse omuntu gy'aba addukira. Ate ku ebyo, mubaweeyo ebibuga ebirala amakumi ana mu bibiri.
7
Awamu bye bibuga ana mu munaana bye munaawa Abaleevi, n'amalundiro gaakwo.
8
Ebibuga bye munaggya ku butaka bw'Abayisirayeli binaagererwa ku busika buli kika bwe kirina; abalina obungi mubaggyangako bingi, abalina ebitono mubaggyangako bitono.”
9
Omukama yagamba Musa nti:
10
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Bwe musomokanga Yorudani ne muyingira mu nsi y'e Kanaani,
11
mulondangayo ebibuga bibeere ebibuga byammwe eby'obuddukiro, aliko omuntu gw'asse mu butanwa gy'ayinza okuddukira.
12
Biriba bibuga byammwe eby'obuddukiro oli gy'ayinza okuddukira awoolera eggwanga, avunaanibwa okutta alemenga kuttibwa nga tamaze kuleetebwa mu maaso ga kibiina n'awozesebwa.
13
Ebibuga bino omukaaga bye munaawa biriba bibuga bya buddukiro.
14
Ebisatu bisse emitala wa Yorudani, ate n'ebisatu mu nsi y'e Kanaani ng'ebibuga eby'obuddukiro.
15
Ebibuga bino omukaaga kifo kya buddukiro ku buli mwana wa Yisirayeli, n'omugwira, oba omusenze asula mu mmwe, ng'abadde asse omuntu mu butanwa gy'anaddukiranga.
16
“ ‘Oli bw'akubisanga omuntu ekyuma, gw'akubye n'afa, oyo mutemu, omutemu wa kuttibwanga.
17
Oli ng'alina ejjinja mu ngalo eriyinza okutta, amala akuba omuntu n'afa, oyo mutemu; omutemu wa kuttibwanga.
18
Oba alina omuggo mu ngalo oguyinza okutta, amala akuba omuntu n'afa, oyo mutemu; omutemu wa kuttibwanga.
19
Awoolera eggwanga olw'omusaayi attanga omutemu; bw'amusanganga, amuttanga.
20
Singa oli asindikanga munne n'ettima, oba n'amukasukira ekintu mu bugenderevu oli n'afa,
21
oba olw'obukyayi amukuba ekikonde, oli n'afa, omuntu oyo wa kuttibwanga, kubanga mutemu; awoolera eggwanga olw'omusaayi bw'asanganga omutemu, amuttanga.
22
“ ‘Singa amangu ago, nga si lwa bukyayi, oli asindika munne oba amukasukira ekintu mu bugenderevu,
23
oba n'amuteera ejjinja eriyinza okutta, sso ng'abadde tamulabye, oli amala afa, kubanga teyali mulabe we era nga teyagenderera kumulumya,
24
ekibiina kinaawulirizanga akubye n'oli awoolera eggwanga olw'omusaayi ne kiramula nga kigerera ku mateeka gano.
25
Ekibiina kinaataasanga omutemu ku oli awoolera eggwanga olw'omusaayi, nga bamuzza mu kibuga eky'obuddukiro gye yali addukidde; asigalanga eyo okutuusa kabona omukulu, eyasiigibwa omuzigo omutukuvu lw'afa.
26
Oli eyatta bwe kamutandanga n'afuluma ebweru w'ekibuga eky'obuddukiro mwe yaddukira,
27
awoolera eggwanga olw'omusaayi amala amusanga eyo, ayinza okumutta n'atavunaanibwa gwa kuyiwa musaayi.
28
Avunaanibwa ogw'okutta ateekwa okubeera mu kibuga omwo okutuusa nga kabona omukulu afudde. Okuggyako nga kabona omukulu amaze okufa, lw'asobola okuddayo ku butaka bwe.
29
Eno ye nkola ey'etteeka enaagobererwanga mu mazadde gammwe gonna, na wonna gye munaabeeranga.
30
“ ‘Asse omuntu attibwanga wamaze kubaawo kulumiriza kw'abajulirwa. Tewabangawo attibwa ng'alumiriziddwa omujulirwa omu yekka.
31
Temukkirizanga mutango lwa bulamu bwa mutemu bw'aba ddala ng'aliko omusango ogumusaanyiza okufa; oyo wa kuttibwanga.
32
Era temukkirizanga mutango olw'oyo addukidde mu kibuga eky'obuddukiro, mbu adde ku busika bwe nga kabona omukulu tannafa.
33
Temujaajaamyanga nsi yammwe mwe muli. Okuyiwa omusaayi kujaajaamya ensi, ate ettaka terisobola kuddaabirizibwa olw'omusaayi gw'omuntu oguliyiseeko, okuggyako omusaayi gw'oyo yennyini eyayiwa omusaayi.
34
Temujaajamyanga nsi mwe muli, nange mwe nsula; anti nze Mukama asula mu Bayisirayeli.’ ”
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36