bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 11
Numbers 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Abantu ne batandika okwemulugunya olw'ebizibu ng'Omukama awulira. Omukama bwe yakiwulira, obusungu bwe ne bwesera, omuliro gw'Omukama ne gukoleera mu bo, ne gwokya ekitundu ky'olusiisira ekisembayo.
2
Abantu bwe baaleekaana eri Musa, Musa ne yeegayirira Omukama, omuliro ne guzikira.
3
Ekifo ekyo ne bakituuma Tabera, kubanga omuliro gw'Omukama gwakoleera mu bo.
4
Abantu abamu abalalulalu mu bo ne batandika okwoya emmere endala; Abayisirayeli ne baddamu nate okukuba emiranga nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye?
5
Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri awatali na kusasula; tujjukira ensujju ne wujju, obutungulu, katungulu-ccumu n'ebika by'obutungulu ebirala.
6
Twenyiyiddwa; amaaso gaffe mpaawo kirala kye galaba wabula manu.”
7
Manu yali nga bw'olaba akasigo ka jjada oba ng'aka budelliyo.
8
Abantu baagendanga bagikuŋŋaanya, ne bagisa ku lubengo, oba ne bagisekula mu kinu. Oluusi nga bagifumba mu ntamu, olulala nga bagifumba ng'obundaazi. Yawoomanga ng'omugaati omuli omuzigo.
9
Ekiro omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira, nga kugwirako ne manu.
10
Musa n'awulira ng'abantu bakaaba, buli nnyumba ku mulyango gwa weema yaabwe. Obusungu bw'Omukama ne bwesera nnyo; Musa naye n'alaba ng'akabi kazze,
11
n'agamba Omukama nti: “Lwaki omuweereza wo omulabya ennaku? Nakukola ki obutasanga kisa mu maaso go, n'onteekako omugugu gw'abantu bano bonna?
12
Nze naba olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nabazaala olyoke oŋŋambe nti: ‘Mbakwatire mu mikono gyange ng'omujjanjabi bw'asitula akaana akawere,’ mbatwale mu nsi gye walayirira okuwa bajjajjaabwe?
13
Nzigye wa ennyama mpe abantu bano bonna? Tebata kunkaabirira: ‘Tuwe ennyama, tulye.’
14
Nze obw'omu siyinza kuwanirira bantu bano bonna; omugugu gumpitiriddeko obuzito.
15
Oba bw'oti bw'onompisa, waakiri nzita kati; nkwegayiridde, obanga nsanze ekisa mu maaso go, tondeka kulaba bwe mbonaabona.”
16
Omukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abakadde nsanvu abasajja ng'obaggya mu bakadde ba Yisirayeli, ggwe b'omanyi nti bakulu mu bantu era abaami baabwe, obaleete ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, bayimirire awo wamu naawe.
17
Nzija kukka, njogere naawe awo; nzija kutoola ku mwoyo gwo mbaweeko, bakwetikkireko ku mugugu gw'abantu, oleme kugwetikka wekka.
18
N'abantu bagambe nti: ‘Mwetukuze mwetegekere olw'enkya, kubanga enkya mujja kulya ennyama; anti mpulidde nga mukaaba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye? Twali bulungi mu Misiri.” Omukama ajja kubawa ennyama, ate mujja kugirya.
19
Mujja kugirya si lunaku lumu, wadde bbiri bubiri oba ttaano, wadde kkumi oba makumi abiri,
20
wabula mwezi mulamba okutuusa lw'eneebafulumira mu nnyindo, ebatame n'okubatama, kubanga mwegaana Omukama ali mu mmwe, ne mukaaba mu maaso ge nti: “Lwaki ye twava mu Misiri?” ’ ”
21
Musa n'addamu nti: “Abantu be nnimu, abasobola okuyimirira ku magulu gaabwe, bali obusiriivu mukaaga, ate ggwe ogamba nti: ‘Nzija kubawa balye ennyama mwezi mulamba.’
22
Endiga n'ente zonna nga zittiddwa zinaabamala okusobola okukkuta? Oba ebyennyanja byonna mu nnyanja nga bikwatiddwa binaabakkusa?”
23
Omukama n'amwanukula nti: “Olowooza kino Omukama kimuli kizibu? Kale nno ojja kulaba obanga kye nsuubizza tekiituukirire.”
24
Musa n'afuluma, n'abuulira abantu Omukama bye yali agambye. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ng'abaggya mu bakadde mu Yisirayeli, n'abayimiriza awo ku Weema.
25
Omukama n'akka mu kire n'ajja gy'ali, n'addira ku mwoyo ogwali mu Musa n'awaako abasajja abakadde ensanvu. Omwoyo bwe gwabakkaako, ne balanga, naye tebaayongera nate.
26
Mu lusiisira waali wasigaddeyo abasajja babiri, omu ng'ayitibwa Eludadi ate omulala Medadi, nabo omwoyo gwabakkako. Nabo baali bamenyeddwa mu bakadde abaalondebwa, naye bo nga tebazze ku Weema; bo ne balanga nga basinziira mu lusiisira.
27
Omuvubuka n'addukanako n'abuulira Musa, n'agamba nti: “Eludadi ne Medadi baabali balanga eri mu lusiisira.”
28
Awo Yoswa mutabani wa Nuunu omuyambi wa Musa okuva mu buvubuka bwe, n'ayanukula n'agamba nti: “Mukama wange Musa, bayimirize.”
29
Ko Musa nti: “Okwatiddwa obuggya ku lwange; singa nno abantu b'Omukama bonna baali balanzi, ng'abawadde mwoyo we?”
30
Musa n'abakadde ba Yisirayeli ne baddayo mu lusiisira.
31
Empewo n'efuluma ew'Omukama n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja n'ezigwa mu lusiisira. Zaabikkirira okwetooloola olusiisira ebbanga nga lya lugendo lwa lunaku lulamba ku buli luuyi, ate ng'okuva ku ttaka zeetuumye emikono ebiri obugulumivu.
32
Olunaku olwo lwonna n'ekiro n'enkeera abantu ne bafuluma, ne bakuŋŋaanya entiitiri; eyakuŋŋaanya entono, yakuŋŋaanya komeri kkumi; ne bazaanika okwetooloola olusiisira.
33
Naye ennyama yali ekyabali mu kamwa, nga bakyali mu kulya, tebannamalawo, obusungu bw'Omukama ne bweserera ku bantu, n'abakubamu ekibonerezo ekinene ennyo.
34
Ekifo ekyo ne kiyitibwa Kiburoti Attaava, kubanga eyo gye baaziika abantu abaali bayoyezza emmere endala.
35
Ne bava e Kiburoti Attaava ne bagenda e Kazeroti, ne basigala eyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36