bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 7
Numbers 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Musa bwe yamaliriza Ekisulo n'akiyimirizaawo, yakisiiga omuzigo n'akitukuza n'ebyamu byonna. Yasiiga omuzigo n'atukuza omwaliiro n'ebigukozesebwako byonna.
2
Ku olwo abakulu mu Yisirayeli, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe n'emitwe gy'ebika by'abaali babaliddwa, baaleeta ebitone.
3
Baatonera Omukama ebigaali mukaaga ebizimbiddwa, ko ente ezibisika kkumi na bbiri. Abakulu babiri baaleeta ekigaali kimu, ate buli omu yaleeta ente emu emu. Bano baabireeta mu maaso g'Ekisulo.
4
Omukama n'agamba Musa nti:
5
“Bikkirize obibaggyeko, bikole ku mulimu gw'omu Weema ey'Ensisinkano; bikwase Abaleevi ng'ogerera ku mirimu gyabwe kye gibeetaagisa.”
6
Musa n'akwata ebigaali n'ente n'abiwa Abaleevi;
7
ebigaali bibiri n'ente nnya yabiwa Abagerusoni ng'agerera ku mirimu gyabwe kye gibeetaagisa.
8
Ebigaali ebirala ebina n'ente omunaana n'abiwa aba Merari ng'agerera ku mirimu gyabwe kye gibeetaagisa. Bano baali bakulirwa Yitamari mutabani wa Aroni kabona.
9
Aba Kewati teyabawa bigaali na nte kubanga ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baali ba kubyetikkanga ku bibegabega byabwe.
10
Abakulembeze baaleeta ebitone byabwe ku lw'okutukuza omwaliiro, ku lunaku lwe gwasiigibwa omuzigo, ne babireeta mu maaso g'omwaliiro.
11
Omukama yali agambye Musa nti: “Abakulembeze baleete buli omu ku lunaku lwawufu ekitone olw'okutukuza omwaliiro.”
12
Eyaleeta ekitone kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadabu, ow'omu kika kya Yuda, yaleeta ekitone kye.
13
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
14
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
15
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
16
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
17
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Nakusoni mutabani w'Amminadabu kye yaleeta.
18
Ku lunaku olwokubiri Netaneli mutabani wa Zuwari, omukulu w'ekika kya Yissakari, yaleeta ekitone kye.
19
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
20
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
21
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
22
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
23
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Netaneli mutabani wa Zuwari kye yaleeta.
24
Ku lunaku olwokusatu Eliyabu mutabani wa Keloni, omukulu w'abazzukulu ba Zebuluni, yaleeta ekitone kye.
25
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
26
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
27
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
28
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
29
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Eliyabu mutabani wa Keloni kye yaleeta.
30
Ku lunaku olwokuna Elizuri mutabani wa Sedewuri, omukulu w'abazzukulu ba Rubeni, yaleeta ekitone kye.
31
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
32
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
33
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
34
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
35
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Elizuri mutabani wa Sedewuri kye yaleeta.
36
Ku lunaku olwookutaano Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi, omukulu w'abazzukulu ba Simewoni, yaleeta ekitone kye.
37
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
38
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
39
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
40
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
41
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi kye yaleeta.
42
Ku lunaku olwomukaaga Eriyaasafu mutabani wa Deweli, omukulu w'abazzukulu ba Gaadi, yaleeta ekitone kye.
43
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
44
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
45
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
46
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
47
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Eriyaasafu mutabani wa Deweli kye yaleeta.
48
Ku lunaku olwomusanvu Elisama mutabani wa Ammiwudi, omukulu w'abazzukulu ba Efurayimu, yaleeta ekitone kye.
49
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
50
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
51
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
52
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
53
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Elisama mutabani w'Ammiwudi kye yaleeta.
54
Ku lunaku olwomunaana Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri, omukulu w'abazzukulu ba Manasse, yaleeta ekitone kye.
55
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
56
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
57
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
58
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
59
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri kye yaleeta.
60
Ku lunaku olwomwenda Abidani mutabani wa Gidewoni, omukulu w'abazzukulu ba Benyamiini, yaleeta ekitone kye.
61
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
62
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
63
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
64
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
65
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Abidani mutabani wa Gidewoni kye yaleeta.
66
Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi, omukulu w'abazzukulu ba Daani, yaleeta ekitone kye.
67
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
68
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
69
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
70
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
71
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Akiyezeri mutabani w'Ammisaddayi kye yaleeta.
72
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagyeli mutabani wa Okurani, omukulu w'abazzukulu ba Aseeri, yaleeta ekitone kye.
73
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
74
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
75
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
76
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
77
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Pagyeli mutabani wa Okurani kye yaleeta.
78
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abazzukulu ba Nafutali, yaleeta ekitone kye.
79
Ekitone kye kyalimu essowaani eya ffeeza ezitowa sekeli kikumi mu asatu, n'ekibya ekya ffeeza eky'okukozesa mu kumansira ekizitowa sekeli nsanvu, ku byombi ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu; byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋunte obulungi obutabuddwamu omuzigo, olw'ekitone eky'obuwunga,
80
ekijiiko ekya zaabu ekisena obubaani ekizitowa sekeli kkumi, nga kijjudde obubaani,
81
ente ennume ento, endiga ennume emu, n'akaliga akalume kamu akawezezza omwaka, ku lw'ekitambiro ekyokye;
82
embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi;
83
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Akira mutabani wa Enani kye yaleeta.
84
Ebyo abakulu mu Yisirayeli bye baaleeta okutukuza omwaliiro ku lunaku lwe gwasiigibwa omuzigo: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya ebya ffeeza eby'okukozesa mu kumansira kkumi na bibiri.
85
Buli ssowaani yali ezitowa sekeli kikumi mu asatu, ate buli kibya eky'okukozesa mu kumansira nga kizitowa sekeli nsanvu; okukwatira awamu, ebya ffeeza nga bizitowa sekeli enkumi bbiri mu bina, ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu;
86
ebijiiko ebisena obubaani ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaani, buli kimu nga kizitowa sekeli kkumi, ng'ogeredde ku sekeli ey'omu Kitukuvu; okukwatira awamu ebijiiko ebya zaabu byazitowa sekeli kikumi mu abiri;
87
ebisolo byonna awamu olw'ekitone ekyokye zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, obuliga obulume obw'omwaka ogumu kkumi na bubiri, wamu n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa; embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekitambiro olw'ekibi;
88
ebisolo byonna awamu olw'ekitambiro eky'okussa ekimu byali ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'obuliga obulume obw'omwaka ogumu nkaaga. Bino bye bitone ebyaleetebwa okutukuza omwaliiro lwe gwasiigibwa omuzigo.
89
Musa bwe yayingira mu Weema y'Endagaano ayogere naye, n'awulira eddoboozi eryogera nga liva wakati wa bakerubi ababiri ku Ntebe y'Obusaasizi eyali ku Sanduuku ey'Endagaano. N'ayogera naye.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36