bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 15
Numbers 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Nga mutuuse mu nsi gye ndibawa, mwe munaabeeranga,
3
bwe muweerezanga Omukama ebitone n'omuliro, okuva mu ggana oba mu kisibo, akawoowo akasanyusa Omukama, ng'ekitambiro ekyokye, oba ng'ekitambiro eky'okutuukiriza obweyamo, oba ng'ekitambiro ekyeyagalire, oba ng'ekitambiro eky'embaga enkulu,
4
buli abanga aweerezza ekitambiro Omukama amuweererezangako ekitone ky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ekyekkumi ekya efa, nga mutabikiddwamu omuzigo oguweza ekyokuna ekya yini.
5
“ ‘Ku buli kaliga olw'ekitambiro ekyokye oba ekitambiro ekirala otegekerangako evviini eweza ekyokuna ekya yini ng'ekitone eky'okuyiwa.
6
Ku ndiga ennume otegekerangako obuwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bibiri ebya efa ng'ekitone eky'obuwunga, ng'obuwunga butabikiddwamu omuzigo oguweza kyakusatu ekya yini,
7
n'oleeterako ekyokusatu ekya yini eky'evviini ng'ekitone eky'okuyiwa. Obiweereze ng'akawoowo akasanyusa Omukama.
8
“ ‘Oba nte ennume gy'oweerezza Omukama ng'ekitambiro ekyokye oba ng'ekitambiro ekirala, olw'okutuukiriza obweyamo, oba ng'ekitambiro eky'okussa ekimu,
9
ku nte ennume otegekerangako obuwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bisatu ebya efa, nga mutabikiddwamu omuzigo oguweza kyakubiri ekya yini olw'ekitone eky'obuwunga.
10
Oleeterangako n'evviini olw'ekitone eky'okuyiwa eweza ekyokubiri ekya yini, ebitone ebiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
11
Bw'otyo bw'okolanga ku buli nte ennume, n'endiga ennume, ku buliga ne ku mbuzi.
12
“ ‘Ku buli kimu ku bitambiro byonna bye munaaweerezanga, munaakolanga bwe mutyo.
13
Buli muzaaliranwa yenna entereeza eyo gy'agobereranga ng'aweereza ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
14
Mu mazadde gammwe gonna, omugwira yenna, oba omulala yenna abeera mu mmwe, bw'aweerezanga ekitambiro ekiwonge n'omuliro, ng'akawoowo akasanyusa Omukama, akolanga mu ngeri ye emu nga mmwe.
15
Ekibiina kijja kubanga n'amateeka ge gamu, ku mmwe ne ku bagwira. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna. Mmwe n'abagwira mu maaso g'Omukama muliba be bamu.
16
Amateeka n'emikolo biriba bye bimu eri mmwe n'eri abagwira abasula mu mmwe.’ ”
17
Omukama yagamba Musa nti:
18
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Nga mutuuse mu nsi gye mbatwala,
19
bwe mulyanga ku migaati gy'omu nsi eyo, Omukama mumuweererezangako ekitone.
20
Ku butta bwe musookanga okugoya oggyangako kakkeeki n'okaweereza ng'ekitone ekivudde mu gguuliro lyo.
21
Mu mazadde gammwe gonna muweerezanga Omukama ekitone kino okuva ku butta obusooka okugoyebwa.
22
“ ‘Ku biragiro ebyo Omukama by'agambye Musa, bwe mubeerangako bye mutatuusizza olw'obutanwa,
23
ku ebyo Omukama bye yalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Omukama lwe yasooka okulagira ne gye bulijja mu mazadde gammwe gonna,
24
ng'oli ataniddwa butanwa, nga n'abantu tebakirabye, ekibiina kyonna kiweerezanga ente ennume ento olw'ekitambiro ekyokye, ng'akawoowo akasanyusa Omukama, awamu, ng'etteeka bwe ligamba, n'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, era n'embuzi ennume olw'ekitambiro olw'ekibi.
25
Kabona anaddaabirizanga olw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, olwo kiribasonyiyibwanga, kubanga baatanwa butanwa, ate nga kati bawongedde Omukama ekitambiro n'omuliro olw'ensobi zaabwe, ne baweereza n'ekitambiro olw'ekibi.
26
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo bagenda kusonyiyibwa, kubanga omusango gukwata bantu bonna olw'obutanwa bwabwe.
27
“ ‘Oba omuntu omu yekka y'aliba akoze ekibi mu butanwa, oyo aweerezanga embuzi enduusi ey'omwaka ogumu olw'ekibi kye.
28
Kabona aliddaabiriza ew'Omukama olw'omuntu oyo eyagwa mu nsobi mu butanwa, ng'okuddaabiriza kuwedde, alisonyiyibwa.
29
Etteeka likwata bombi, omuzaaliranwa Omuyisirayeli n'omugwira, bwe baba bayonoonye mu butanwa.
30
“ ‘Naye omuntu aliba ayonoonye ng'agenderedde, abeere munnansi oba mugwira, abeera avumye Katonda; omuntu oyo wa kukutulwanga ku bantu be.
31
Kubanga yagaya ekigambo ky'Omukama, n'amenya ebiragiro bye, ky'anaavanga akutulwako; omuntu oyo anaabanga n'omusango.’ ”
32
Olwatuuka, Abayisirayeli baali bali mu ddungu, ne basanga omuntu atyaba enku ku lunaku olwa Sabbaato.
33
Abaamusanga ng'atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Aroni n'ekibiina kyonna,
34
ne bamuggalira mu kaduukulu nga tebamanyi kya kumukolera.
35
Omukama n'agamba Musa nti: “Omuntu oyo wa kuttibwa; ekibiina kyonna kimukube amayinja ebweru w'olusiisira.”
36
Ne bamufulumya ebweru, ne bamukuba amayinja; ne bamutta, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
37
Omukama yagamba Musa nti:
38
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mu mazadde gammwe gonna ku mikugiro gy'ebyambalo byamwe mutungirangako obututtwa, nga buli katuttwa mukatungira ku mukugiro n'ewuzi eza kakobe.
39
Bwe munaatunulanga ku bututtwa bunaabajjukizanga ebiragiro by'Omukama byonna, ne mubikwatanga muleme kukola bwamalaaya nga mugoberera amaddu g'emitima gyammwe n'amaaso gammwe.
40
Bwe mutyo mulijjukira okukwata ebiragiro byange byonna, ne mubeera batukuvu mu maaso ga Katonda wammwe.
41
Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mbeere Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36