bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 32
Numbers 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Bazzukulu ba Rubeni ne bazzukulu ba Gaadi baalina amagana manene nnyo; ne balaba ensi y'e Yakuzeeli ne Gileyaadi nga kifo kirungi ku magana.
2
Bazzukulu ba Rubeni ne bazzukulu ba Gaadi kwe kujja eri Musa ne Eleyazari kabona n'abakulembeze b'ekibiina, ne babagamba nti:
3
“Ataroti, Diboni, Yazeri, Nimura, Kesuboni, Elewale, Sebamu, Nebo ne Bewoni,
4
ensi Omukama gye yakuba mu maaso g'ekibiina kya Yisirayeli, kitundu kirungi ku magana, ate ffe abaweereza bo tulina amagana.
5
Obanga tusanze ekisa mu maaso go, ensi eyo eweebwe abaweereza bo ebeere obutaka bwabwe; naye totusomosa Yorudani.”
6
Musa n'ayanukula abazzukulu ba Rubeni ne bazzukulu ba Gaadi nti: “Baganda bammwe bwe banaagenda okulwana mmwe munaasigala mutudde wano?
7
Lwaki muterebula Abayisirayeli batye okusomoka okulaga mu nsi Omukama gye yabawa?
8
Bajjajjammwe bwe baakola batyo, lwe nabatuma okuva e Kadesi-Baruneya okugenda okuketta ensi.
9
Bwe baava mu Kiwonvu kya Esukoli, ne balaba ekitundu ekyo, naye ne baterebula buterebuzi emitima gy'Abayisirayeli, baleme kuyingira mu nsi Omukama gye yabawa.
10
Obusungu bw'Omukama ne bwesera ku olwo, n'alayira nti:
11
‘Abantu bano abaayambuka nga bava mu Misiri, okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo, tebagenda kulaba nsi gye nalayira kuwa Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo, kubanga bagaanyi okungoberera n'omutima gwabwe gwonna,
12
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne ow'omu ssiga ly'Abakenizzi ne Yoswa mutabani wa Nuunu; abo baagoberera Omukama n'omutima gwonna.’
13
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'amubungeeseza mu ddungu emyaka amakumi ana, okutuusa ng'ezzadde eryo lyonna liweddewo eryali likoze ekibi mu maaso ge.
14
Kati muumuno, ezzadde ly'abantu aboonoonyi, muzze mu kifo kya bajjajjammwe obusungu bw'Omukama mubwongere okweserera ku Yisirayeli n'okusingawo.
15
Bwe muva ku ky'okumugoberera, abantu bano ajja kubaleka mu ddungu omulundi omulala; mmwe munaaba mubaleetedde okuzikirira.”
16
Ne bamusemberera ne bamugamba nti: “Twagala tukolere wano ebisolo byaffe engo, era tuzimbire bakazi baffe n'abaana baffe ebibuga,
17
ffe twetegese okubagalira ebyokulwanyisa tukulemberemu Abayisirayeli, okutuusa lwe tunaabayingiza mu bifo byabwe. Bakazi baffe n'abaana baffe bajja kusigala mu bibuga okuli ebigo ebinywevu okubataasa okulumbibwa bannansi.
18
Tetugenda kukomawo mu mayumba gaffe okutuusa ng'Abayisirayeli bamaze okufuna obusika bwabwe;
19
era tetujja kufuna busika mitala wa Yorudani, kubanga obusika obwaffe tubufunye eno ebuvanjuba wa Yorudani.”
20
Musa n'abagamba nti: “Bwe mulikola kye musuubizza, ne mubagalira ebyokulwanyisa eby'olutalo mu maaso g'Omukama,
21
era mwenna bwe mulyebagalira ebyokulwanyisa ne musomoka Yorudani, okutuusa Omukama lw'aligobawo abalabe be mu maaso ge,
22
ng'ensi yonna emaze okuwangulibwa mu maaso g'Omukama, olwo mulikomawo mu nsi eno, nga temuliiko kye muvunaanibwa mu maaso g'Omukama ne Yisirayeli, n'ensi eno eribeera yammwe ng'obutaka mu maaso g'Omukama.
23
Naye kino bwe mutaakikole, munaaba mukoze ekibi ew'Omukama; era mutegeere nti ekibi kyammwe kiribasanga.
24
Kale bakazi bammwe n'abaana bammwe mubazimbire ebibuga, n'ebisolo byammwe mubizimbire engo; naye kye mugambye, mukikolanga.”
25
Bazzukulu ba Gaadi ne bazzukulu ba Rubeni ne bakakasa Musa nti: “Abaweereza bo tujja kukola nga mukama waffe bw'olagidde.
26
Abaana ne bakazi baffe, ente n'endiga zaffe, bijja kusigala wano mu bibuga bya Gileyaadi.
27
Bo abaweereza bo bonna, buli musajja, ng'ayambaziddwa okugenda mu lutalo bajja kugenda ku lutalo mu maaso g'Omukama, nga ggwe, mukama waffe, bw'oyogedde.”
28
Awo Musa n'abawaako ekiragiro eri Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abayisirayeli nti:
29
“Bazzukulu ba Gaadi ne bazzukulu ba Rubeni bwe basomokanga Yorudani mu maaso g'Omukama buli muntu ng'ayambaziddwa okugenda mu lutalo, ensi bwe mumalanga okugiwangula, mubawanga Gileyaadi ng'obutaka bwabwe.
30
Naye bwe basomokanga nga tebabagalidde bya kulwanyisa, ebyabwe balibifuna nammwe mu Kanaani.”
31
Bazzukulu ba Gaadi ne bazzukulu ba Rubeni ne baanukula nti: “Nga Omukama bw'agambye, n'abaweereza be bwe tunaakola.
32
Ffennyini tujja kusomoka tugende mu nsi y'e Kanaani nga tubagalidde ebyokulwanyisa mu maaso g'Omukama; naye ebyaffe, obusika bwaffe, bijja kubeera eno emitala wa Yorudani.”
33
Musa n'addira obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abaamori n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byabwe ebyetooloddewo, n'abiwa abazzukulu ba Gaadi, bazzukulu ba Rubeni n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse mutabani wa Yozefu.
34
Bazzukulu ba Gaadi ne bazimba Diboni, Ataroti-Aroweri,
35
Aturoti-Sofani, Yazeri, Yogubewa,
36
Beti-Nimura ne Beti-Karani, ebibuga okuli n'ebigo, ne bazimba n'engo olw'amagana gaabwe.
37
Ab'ekika kya Rubeni ne bazimba Kesuboni, Elewale, Kiriyatayimu,
38
Nebo ne Baali-Mewoni, naye ng'amannya bagafudde, ssaako Sibuma. Ebibuga bye bazimbye ne babituuma amannya.
39
Ab'essiga lya Makiri mutabani wa Manasse ne bagenda mu nsi ya Gileyaadi ne bagiwamba ne bagobamu Abaamori abaalimu.
40
Ensi ya Gileyaadi Musa n'agiwa ab'essiga lya Makiri mutabani wa Manasse, ne basenga omwo.
41
Ate Yayiri, muzzukulu wa Manasse, n'agenda n'akwata ebyalo byakwo, n'abituuma Kavvoti-Yayiri.
42
Ne Noba n'agenda n'awamba Kenati n'ebyalo byako, n'abituuma erinnya lye Noba.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36