bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 31
Numbers 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Woolera eggwanga ku Bamidiyaani olw'Abayisirayeli. ng'omaze, ojja kwegatta ku bajjajjaabo.”
3
Ne Musa n'agamba abantu nti: “Mwambaze abasajja mu mmwe bagende balwanyise Abamidiyaani musobole okutuukiriza Omukama ky'asabye eky'okuwoolera eggwanga ku Bamidiyaani.
4
Buli kika mu Yisirayeli kirondeyo abasajja lukumi, mubasindike ku lutalo.”
5
Buli kika mu Yisirayeli ne mulondebwamu lukumi, gwe mutwalo mu enkumi bbiri abaayambala okugenda mu lutalo.
6
Musa n'abasindika mu lutalo, abasajja lukumi okuva mu buli kika, wamu ne Finekasi mutabani wa Eleyazari kabona. Yatwala n'ebintu okuva mu Ekitukuvu, n'eŋŋombe ey'okufuuwa.
7
Ne balwanyisa n'Abamidiyaani, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa, ne batta abasajja bonna,
8
ne mu be batta mwalimu bakabaka ba Midiyaani: Evi, Rekemu, Zuru, Kuru ne Reba, bakabaka abataano Abamidiyaani. Ne Balaamu mutabani wa Bewori ne bamutta n'ekitala.
9
Ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe n'amagana g'ente n'endiga, ne buli kintu ne bakyaya.
10
Baayokya ebyalo byabwe n'ensiisira zaabwe mwe baasulanga.
11
Ne batwala omunyago n'olwayo lwonna, omwali abantu, n'ebisolo.
12
Abasibe, olwayo n'omunyago ne babireeta eri Musa ne Eleyazari kabona n'eri ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli mu lusiisira mu miseetwe gy'e Mowabu okumpi ne Yorudani emitala wa Yeriko.
13
Musa ne Eleyazari kabona n'abakulembeze bonna mu kibiina ne bafuluma okugenda okubasisinkana ebweru w'olusiisira.
14
Musa n'anyiigira abagabe, abaaduumira enkumi n'ebikumi, abaali bavudde ku lutalo,
15
n'ababuuza nti: “Mwalese abakazi bonna ne basigalawo?
16
Si be baabo abaalimbalimba Abayisirayeli ne babawugula okuva ku Mukama n'amagezi ga Balaamu ge yabawa, ne babakoza ebyo ebyagwa e Pewori, ekibonerezo ne kigwira abantu b'Omukama?
17
Kale mutte abaana ab'obulenzi bonna. Mutte na buli mukazi eyali yeebase n'omusajja,
18
kyokka mwesigalizaawo abawala bonna abateebakanga na basajja.
19
Nammwe eyatta ku muntu oba eyakwata ku mufu, amale ennaku musanvu ng'ali bweru wa lusiisira; yeetukuze ku lunaku olwokusatu ne ku lwomusanvu, mmwe n'abasibe bammwe.
20
Mutukuze ebyambalo byonna na buli kintu ekikole mu ddiba, mu byoya by'embuzi ne mu mbaawo.”
21
Eleyazari kabona n'agamba abasajja abaali bagenze mu lutalo nti: “Eno y'enkola ey'etteeka Omukama gye yalagira Musa:
22
Zaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, essasi, ebbaati,
23
buli kyonna ekiyinza okuyita mu muliro, bakiyise mu muliro kitukuzibwe, oluvannyuma era kyozebwe n'amazzi agatukuza, olwo kinaaba kirongoofu.
24
Ku lwomusanvu mwoze engoye zammwe, olwo munaaba balongoofu, era olwo muliyinza okuyingira mu lusiisira.”
25
Omukama n'agamba Musa nti:
26
“Ggwe ne Eleyazari n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe mu kibiina mubale omunyago n'ebyawambibwa byonna, abantu n'ebisolo.
27
Olwayo mulugabanyeemu wabiri wakati w'abo abaagenda ku lutalo n'ekibiina kyonna.
28
N'Omukama omuggyireko empooza ku mugabo gw'abatabaazi, ng'omuggyirako kimu kimu ku buli bikumi bitaano eby'abantu, endogoyi, endiga n'embuzi.
29
Empooza eno evudde ku kyokubiri kye bagabanye giwe Eleyazari ng'ekitone ky'Omukama.
30
Ate ku kyokubiri ekiweereddwa Abayisirayeli, toolako kimu kimu ku buli makumi ataano ag'abantu, ente, endogoyi, endiga n'ebirala byonna, obiwe Abaleevi abalina obuvunaanyizibwa okulabirira Ekisulo ky'Omukama.”
31
Musa ne Eleyazari kabona ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
32
Olwayo olwasigalawo eggye lye lyali linyaze: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano,
33
ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri,
34
endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi,
35
n'abakazi abateebakanga na musajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri.
36
Ekyokubiri ekyaweebwa abaali balwanye mu lutalo kyali endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano,
37
okwo ne kuvaako empooza y'Omukama ya ndiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano;
38
ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga, okwo nga kuvaako empooza y'Omukama ya nte nsanvu mu bbiri;
39
endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano, okwo nga kuvaako empooza y'Omukama ya ndogoyi nkaaga mu emu;
40
abantu baali omutwalo gumu mu kakaaga, kuno nga kuvaako empooza y'Omukama ya bantu amakumi asatu mu babiri.
41
Musa n'awa Eleyazari kabona ekitone ky'Omukama ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
42
Ate ekyokubiri Musa kye yaggyirako Abayisirayeli, kye yali aggye ku mugabo gw'abasajja abaalwana,
43
kwe kugamba nti ekyokubiri ku lw'ekibiina, kyalimu endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano,
44
ente emitwalo esatu mu kakaaga,
45
endogoyi emitwalo esatu mu ebikumi bitaano
46
n'abantu omutwalo gumu mu kakaaga.
47
Musa yaggyako kimu ku buli makumi ataano ag'abantu n'ensolo, n'akiwa Abaleevi abaalina obuvunaanyizibwa okulabirira Ekisulo ky'Omukama, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
48
Abagabe b'eggye abaaduumira enkumi n'ebikumi ne basembera eri Musa,
49
ne bamugamba nti: “Abaweereza bo twabaze abatabaazi buli omu b'aduumira, tekwabuzeeko n'omu.
50
Olw'okubeera ekyo, buli omu aweerezza Omukama ekitone ekya zaabu gwe twasobola okusanga: obukomo, obunyere, empeta, empeta z'oku matu n'ebibira, tuddaabirize ku lwaffe mu maaso g'Omukama.”
51
Musa ne Eleyazari kabona ne babaggyako zaabu, bye biweese byonna.
52
Zaabu yenna ow'abagabe b'enkumi n'ebikumi Musa ne Eleyazari gwe baaweereza eri Omukama, ng'ekitone eky'okuwuuba, yali azitowa sekeli omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano.
53
Buli mutabaazi yali yeenyagidde omunyago gwe.
54
Musa ne Eleyazari ne baggya zaabu ku bagabe b'enkumi n'ab'ebikumi ne bamutwala mu Weema ey'Ensisinkano kibeere kijjukizo eri Abayisirayeli mu maaso g'Omukama.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36