bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 34
Numbers 34
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli nti: ‘Bwe muyingiranga mu nsi y'e Kanaani, ensi egenda okubaweebwa ng'obusika bwammwe, zino ze ziriba ensalo zaayo:
3
“ ‘Ensalo zammwe ku ludda olw'emaserengeta zinaabanga ddungu ly'e Zini eriri ku nsalo ne Edomu. Ku ludda lw'ebuvanjuba ensalo zammwe zirisimbuka ku Nnyanja ey'Omunnyo,
4
ne zisalira wansi w'akasozi k'e Akurabbimu ne zituuka ku Zini, awo ne ziserengeta mu Kadesi-Baruneya. Bwe ziva eyo ne ziraga e Kazari-Addari okutuuka ku Azumoni.
5
Ensalo ziriweta okuva e Azumoni ne zidda ku Kiwonvu kya Misiri, ne zikoma ku nnyanja.
6
“ ‘Ku ludda olw'ebugwanjuba, olubalama lw'Ennanyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe ebugwanjuba.
7
“ ‘Ku ludda olw'emambuka, mulirambika ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Ennene okutuuka ku lusozi Ori.
8
Mulizirambika n'okuva ku lusozi Ori ne muzituusa ku Lebo Kamati. Ensalo ziriva eyo ne ziraga e Zedadi,
9
zirigenda e Zifurona ne zikoma e Kazari-Anani. Ezo ze nsalo zammwe emambuka.
10
“ ‘Olw'ensalo zammwe ebuvanjuba mulambike ensalo okuva e Kazari-Anani okutuuka Sefamu.
11
Ensalo zammwe olwo ne zikkirira okuva e Sefamu ne ziraga e Ribula ebuvanjuba wa Ayini, ziserengete nga zigoba ekikko ky'ebuvanjuba ekya Kinnereti,
12
ensalo olwo ne zikkirira nga zigoba Yorudani ne zikoma ku Nnyanja ey'Omunnyo. “ ‘Eyo y'eribeera ensi yammwe n'ensalo zaayo ku njuyi zonna.’ ”
13
Musa n'alagira Abayisirayeli nti: “Ensi mugigabanyangamu ng'obusika bwammwe nga mugikubako akalulu, Omukama gye yalagira eweebwe ebika omwenda n'ekitundu,
14
kubanga ab'ekika eky'abazzukulu ba Rubeni mu nnyumba za bajjajjaabwe, ekika ky'abazzukulu ba Gaadi mu nnyumba za bajjajjaabwe, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baafunye dda obusika bwabwe.
15
Bino ebika ebibiri n'ekitundu byafunye dda obusika bwabyo ebuvanjuba, emitala wa Yeriko enjuba gy'eva.”
16
Omukama n'agamba Musa nti:
17
“Gano ge mannya g'abasajja abanaakugabanyiza mu nsi, be ba Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu.
18
Londa omukulu mu buli kika, akuyambeko mu kugabanyamu ensi.
19
Gano ge mannya gaabwe: mu kika kya Yuda, omukulembeze ye Kalebu mutabani wa Yefunne;
20
mu kika ky'abazzukulu ba Simewoni, omukulembeze ye Semweli mutabani wa Ammiwudi;
21
mu kika kya Benyamiini, omukulembeze ye Elidadi mutabani wa Kisuloni;
22
mu kika ky'abazzukulu ba Daani, omukulembeze ye Bukki mutabani wa Yoguli;
23
mu bazzukulu ba Yozefu; mu kika ky'abazzukulu ba Manasse, omukulembeze ye Kanniyeli mutabani wa Efodi;
24
mu kika ky'abazzukulu ba Efurayimu, omukulembeze ye Kemweli mutabani wa Sifutani;
25
mu kika ky'abazzukulu ba Zebuluni, omukulembeze ye Elizafani mutabani wa Parunaki;
26
mu kika ky'abazzukulu ba Yissakari, omukulembeze ye Palutyeli mutabani wa Azzani:
27
mu kika ky'abazzukulu ba Aseeri, omukulembeze ye Akikudi mutabani wa Selomi;
28
mu kika ky'abazzukulu ba Nafutali, omukulembeze ye Pedaweli mutabani wa Ammiwudi.”
29
Abo Omukama be yalagira bagabanyize Abayisirayeli obusika mu nsi Kanaani.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36