bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 4
Numbers 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Bala abazzukulu ba Leevi bonna aba Kewati, mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe,
3
abasajja bonna abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, abasobola okutabaala, baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
4
“Guno gwe mulimu gw'aba Kewati mu Weema ey'Ensisinkano: okulabirira ebintu ebitukuvu ennyo.
5
Olusiisira bwe lutuukanga okusitula, Aroni ne batabani be bayingiranga ne bawanula olutimbe olusiikiriza ne balubikka ku Sanduuku y'Endagaano.
6
Bongeranga ne bassaako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, kungulu kwonna ne babikkako olugoye olwa kakobe, olwo ne bayisaamu emisituliro.
7
“N'emmeeza ey'Emigaati egy'Okwolesebwa bagibikkanga olugoye olwa kakobe, ne bateekako essowaani, ebijiiko, ebibya, n'ensumbi ezeyambisibwa mu bitone eby'okuyiwa; naye Emigaati gy'Okwolesebwa gyo gisigalangako.
8
Kungulu banjululizangako olugoye olutwakaavu, ate nalwo ne balubikkako n'ekibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne bayisaamu emisituliro.
9
“Baddiranga olugoye olwa kakobe ne balubikka ekikondo ky'ettawaaza, ettawaaza, magalo zaakwo, ebiteekebwamu evvu, n'ejjaagi omubeera omuzigo ogw'okussa mu ttawaaza;
10
byonna ebyo bagenda kubizinga mu kibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne babissa ku kisituliro.
11
“Omwaliiro ogwa zaabu bagwanjululizangako olugoye olwa kakobe, kungulu ne babikkako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, ne bayisaamu emisituliro.
12
Byonna ebyeyambisibwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu babizinganga mu lugoye olwa kakobe, kungulu ne babikkako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne babissa ku kisituliro.
13
“Omwaliiro bagwerangako evvu ly'amasavu, ne bagwanjululizaako olugoye olumyufu;
14
ne bassa kuli kyonna ekyeyambisibwa ku mwaliiro: ensaniya okubeera omuliro, entoozo, ebitiiyo, ebikopo, n'ebibya ebyeyambisibwa mu kumansira, ne byonna ebyeyambisibwa ku mwaliiro. Banjululizangako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne bayisaamu emisituliro.
15
“Aroni ne batabani be bwe bamalanga okuzingako ekitukuvu na byonna ebigenderako olusiisira nga lusitula, olwo aba Kewati nga bayingira basitule. Kyokka sibakwatanga ku bitukuvu ebyo, sikulwa nga bafa. Egyo gye mirimu gy'aba Kewati mu Weema ey'Ensisinkano.
16
Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, y'anaakuumanga omuzigo ogwakira mu ttawaaza, obubaani obw'akawoowo, obuwunga obw'ekitambiro ekya buli lunaku, n'omuzigo ogusiiga. Era y'anaavunaanyizibwanga ku Kisulo, ebyamu byonna, ebintu ebitukuvu ebikozesebwamu, na ku buli kyonna ekidda ku Kisulo.”
17
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
18
“Mulabenga nti ekika n'ennyiriri z'Abakewati tebikutulibwa ku Baleevi bannaabwe.
19
Kino kye muba mukola, balame, baleme kufa nga babadde basemberedde ebintu ebitukuvu ennyo: Aroni ne batabani be bayingiranga ne bakwasa buli omu ky'anaakola ne ky'anaasitula.
20
Naye bo tebayingiranga kulaba n'akatono ku bitukuvu, sikulwa nga bafa.”
21
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
22
“Bala Abaleevi bonna abazzukulu ba Gerusoni, mu nnyumba za bajjajjaabwe ne mu masiga gaabwe;
23
bala abasajja bonna abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, abasobola okutabaala, baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
24
“Guno gwe mulimu gw'Abagerusoni, eby'okukola n'eby'okusitulanga:
25
ba kusitulanga entimbe z'Ekisulo, Weema ey'Ensisinkano, ekigibikka, n'ekibikkako ekisooka kungulu eky'eddiba ekkunye, olutimbe olw'oku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano,
26
entimbe eza bbugwe w'oluggya olwetooloola Ekisulo n'omwaliiro, olutimbe olw'omu muzigo gwa wankaaki wa bbugwe, emiguwa, na byonna ebikola n'ebyeyambisibwa ku mirimu gyabyo. Abagerusoni be balivunaanyizibwa ku ebyo byonna.
27
Aroni ne batabani be be banaalagiriranga Abagerusoni buli omu ky'anaakolanga ne ky'anaasitulanga. Ggwe onobategeezanga bye banaakolanga ne bye banaasitulanga.
28
Egyo gye mirimu gy'ab'essiga ly'Abagerusoni mu Weema ey'Ensisinkano. Anaabalagiriranga ye Yitamari mutabani wa Aroni kabona.
29
“Bala Abaleevi bonna aba Merari mu masiga gaabwe ne nnyumba za bajjajjaabwe;
30
bala n'abasajja bonna abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, abasobola okutabaala, baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
31
“Gino gye mirimu gyabwe nga bwe banaakolanga mu Weema ey'Ensisinkano: ba kusitulanga embaawo z'Ekisulo, emikiikiro, empagi n'entobo zaazo,
32
era n'empagi za bbugwe w'oluggya olwetooloola Ekisulo n'omwaliiro, entobo zaazo, enkondo za Weema n'emiguwa gyako, ebikozesebwamu byonna, na buli kigendera ku mulimu gwazo. Buli muntu musalire by'anaasitulanga.
33
Ogwo gwe mulimu gw'ab'essiga lya Merari mu Weema ey'Ensisinkano. Anaabalabiriranga ye Yitamari mutabani wa Aroni kabona.”
34
Musa ne Aroni n'abakulu b'ekibiina baabala aba Kewati mu nnyiriri zaabwe ne nnyumba za bajjajjaabwe
35
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, bonna abasobola okutabaala, ab'okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
36
Abaabalibwa mu nnyiriri zaabwe baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano.
37
Abo be baabalibwa mu nnyiriri z'Abakewati abaweereza mu Weema ey'Ensisinkano; abo Musa ne Aroni baababala ng'Omukama bwe yali ayogedde ng'ayita mu Musa.
38
N'Abagerusoni baabalibwa mu nnyiriri zaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe
39
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, bonna abasobola okutabaala, ab'okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
40
Abaabalibwa mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe baawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu.
41
N'ab'ennyiriri z'Abagerusoni baabalibwa, bonna abaweereza mu Weema ey'Ensisinkano. Musa ne Aroni be baabala ng'Omukama bwe yali abagambye.
42
N'ab'ennyiriri z'aba Merari baabalibwa mu nnyiriri zaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe
43
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, bonna abasobola okutabaala, ab'okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
44
Abaabalibwa mu nnyiriri zaabwe baawera enkumi ssatu mu bibiri.
45
Abo be baabalibwa mu nnyiriri z'aba Merari. Musa ne Aroni be baabala ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
46
Abo be baabalibwa, Musa, Aroni n'abakulembeze mu Yisirayeli be baabala, kwe kugamba Abaleevi bonna mu nnyiriri zaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe,
47
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano abasobola okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano n'okwetikka emigugu.
48
Abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana.
49
Nga Omukama bwe yayogera ng'ayita mu Musa, buli omu yaweebwa omulimu gwe n'abuulirwa n'eby'okusitulanga. Bwe batyo bwe baabalibwa Musa ne Aroni ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36