bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 12
Numbers 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
1
Miriyamu ne Aroni ne bakolokota Musa olw'okubeera mukazi we Omukuusi, kubanga yali awasizza omukazi Omukuusi,
2
ne bagamba nti: “Omukama yayogerera mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Omukama n'akiwulira.
3
Sso nno Musa yali musajja mwetoowaze, nga mwetoowaze nnyo okusinga abantu bonna abaali ku nsi.
4
Amangu ago Omukama n'agamba Musa, Aroni ne Miriyamu nti: “Muveeyo mmwe mwensatule, mujje ku Weema ey'Ensisinkano.” Bonsatule ne bafuluma.
5
Omukama n'akka mu mpagi ey'ekire, n'eyimirira ku mulyango gwa Weema, n'ayita Aroni ne Miriyamu. Bwe baayingira,
6
n'abagamba nti: “Muwulire bye ŋŋamba: “Mu mmwe bwe mubaamu omulanzi w'Omukama, mmweraga mu kulabikirwa; njogera naye mu birooto.
7
So si bwe kiri ku muweereza wange Musa, mwesigwa mu nnyumba yange yonna;
8
ye njogera naye maaso ku maaso, njogera naye kyere sso si mu ngero; Omukama amulabira ddala bw'afaanana. Lwaki nno temwatidde kukolokota muweereza wange Musa?”
9
Obusungu bw'Omukama ne bubesererako, n'agenda.
10
Ekire bwe kyava ku Weema, okutunula ku Miriyamu nga yenna apeeruuse ekigenge, mweru ng'omuzira. Aroni bwe yakebuka n'alaba ng'ekigenge kimubunye,
11
n'agamba Musa nti: “Ssebo, nkwegayiridde, totussaako kibi kino, twakikozezza busiru.
12
Ono tomuleka kufaanana nga kikulekule, ng'omwana afuluma mu nda ya nnyina ng'omubiri gwe mulyeko ekitundu.”
13
Musa n'aleekaana eri Omukama, n'agamba nti: “Ayi Katonda, nkwegayiridde, muwonye.”
14
Omukama n'amwanukula nti: “Singa kitaawe yamuwandulidde amalusu mu maaso, teyandimaze kiryose ennaku musanvu nga si mulongoofu? Mumumaze ennaku musanvu ng'ali bweru wa lusiisira, oluvannyuma akomezebwewo.”
15
Bw'atyo Miriyamu n'amala ennaku musanvu ng'ali bweru wa lusiisira; abantu ne batava mu kifo ekyo, okutuusa Miriyamu lwe yazzibwa.
16
Abantu ne bava mu Kazeroti ne bagenda, ne basiisira mu ddungu Parani.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36