bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 16
Numbers 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Kora muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Yizuwari, mutabani wa Kewati, ng'ali ne bazzukulu ba Rubeni: Datani ne Abiramu, batabani ba Eliyabu, ne Oni mutabani wa Peleti, beekulumbaza
2
ne basitukira mu Musa wamu n'Abayisirayeli bibiri mu ataano, abaali abakulembeze mu kibiina, abakiise mu lukiiko era abantu ab'ekitiibwa.
3
Bonna wamu ne balumba Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Mweyitiriza! Kubanga n'ekibiina kyonna kitukuvu, ne mu bo Omukama mw'ali. Lwaki mwefuula abakulu ku kibiina ky'Omukama?”
4
Musa bwe yakiwulira, n'agwa wansi ku maaso ge,
5
n'agamba Kora n'abagoberezi be bonna nti: “Enkya Omukama anaamanyisa oyo gw'ayita owuwe, oyo omutukuvu; gw'anaaba alonze anaamusembeza w'ali.
6
Kora n'abagoberezi bo mwenna mukole kino:
7
enkya muddire ebyoterezo mubisseemu omuliro n'obubaani mu maaso g'Omukama; yenna gw'anaaba alonze, oyo y'anaaba omutukuvu. Naye, bazzukulu ba Leevi, ekyo kimala!”
8
Musa n'agamba Kora nti: “Muwulire, bazzukulu ba Leevi.
9
Mmwe tekibamalira Katonda wa Yisirayeli mmwe okubaawula mu kibiina kyonna ekya Yisirayeli, n'abayunga ku ye muweereze mu Kisulo ky'Omukama, muyimirire mu maaso g'abantu bonna nga muweereza mu kifo kyabwe?
10
Ggwe yakwesembereza ne baganda bo bonna bazzukulu ba Leevi, ate kati oyagala n'obwakabona kubwezza?
11
Ggwe n'abagoberezi bo Omukama gwe mujeemedde. Aroni ye ani okumwemulugunyaamu?”
12
Musa n'atumya Datani ne Abiramu batabani ba Eliyabu, bo ne baanukula nti: “Tetujja kujja.
13
Ggwe tekikumalira okulaba nga watuggya mu nsi eyali ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, otuttire mu ddungu; ate kati oyagala kudda ku ffe ofuge?
14
Kituufu, tewatuyingiza mu nsi mukulukuta migga gya mata na mubisi gwa njuki, wadde okutuwa eby'obusika byaffe: ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu. Kati oyagala kulimbalimba bantu bano? Tetujja kujja.”
15
Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Omukama nti: “Ebitone byabwe tobitunuulira; tewali gwe nali nzigyeko wadde akalogoyi ke, tewabangawo gwe nali nkoze bubi.”
16
Musa n'agamba Kora nti: “Enkya ggwe n'abagoberezi bo bonna muyimirire mu maaso g'Omukama wamu ne Aroni.
17
Buli omu addire ekyoterezo kye asseeko obubaani muweereze Omukama ebyoterezo bikumi bibiri mu ataano. Ggwe ne Aroni buli omu abeere n'ekyoterezo kye.”
18
Buli omu n'akwata ekyoterezo kye, n'assaamu omuliro n'obubaani, ne bayimirira ne Musa ne Aroni ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
19
Kora bwe yamala okukuŋŋaanya ekibiina kye kyonna ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okubawakanya, ekitiibwa ky'Omukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
20
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti:
21
“Mweyawule ku kibiina kino kyonna, ŋŋenda kubasaanyaawo kaakati.”
22
Bo ne bagwa nga beevuunise ku maaso gaabwe, ne beegayirira nti: “Ayi Katonda, Katonda awa obulamu buli muntu, onoonyiigira ekibiina kyonna sso ng'akoze ekibi ali omu bw'ati?”
23
Omukama n'agamba Musa nti:
24
“Lagira abantu bonna beesege ekisulo kya Kora, Datani ne Abiramu.”
25
Musa n'asituka n'agenda eri Datani ne Abiramu, abakadde bonna aba Yisirayeli ne bamugoberera.
26
N'agamba ekibiina nti: “Mwesege weema z'abasajja bano ababi; temukwata ku byabwe, sikulwa nga musaanyizibwawo wamu nabo olw'ebibi byabwe byonna.”
27
Ne bava awaali ekisulo kya Kora, Datani ne Abiramu baali bafulumye nga bayimiridde ku miryango gya weema zaabwe wamu ne bakazi baabwe ne batabani baabwe n'amabujje gaabwe.
28
Musa n'agamba nti: “Kuno kwe munaategeerera nti Omukama ye yantuma nkole byonna bye mulaba, si ntegeka zange ku bwange:
29
abasajja bano bwe banaafa enfa eya bulijjo, ne babonerezebwa nga bwe kitera okugwa ku bantu abalala, olwo ng'Omukama si ye yantuma.
30
Naye Omukama bw'anaakolawo ekintu ekiggya, ettaka ne lyasama ne libamira n'ebyabwe byonna, ne bakka emagombe nga balamu, munaategeera nti abantu bano baanyoomye Omukama.”
31
Aba yaakamala okwogera, ettaka ne lyeyasaamu awo we baali bayimiridde;
32
bwe lyayasama, ne libamira wamu n'ebyabwe byonna, n'abagoberezi ba Kora na byonna bye baali balina.
33
Ne bakkirira emagombe nga balamu, ettaka ne libabikka, ne bazikirira, ne babulawo mu kibiina.
34
Bwe baawulira emiranga gyabwe, Abayisirayeli abaali bayimiridde awo ne baddukawo nga baleekaana nti: “Ka oti, naffe ettaka ligenda kutumira!”
35
Omuliro ne guva ew'Omukama ne gusenkenya abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali baweereza obubaani.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36