bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 8
Numbers 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Aroni nti: ‘Bw'oteekangayo ettawaaza, laba nti ettawaaza omusanvu zimulisa oludda olutunuulidde ekikondo ky'ettawaaza.’ ”
3
Ne Aroni bwe yakola: yateeka ettawaaza nga zitunuulidde mu maaso g'ekikondo ky'ettawaaza ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
4
Ekikondo ky'ettawaaza kyali kikoleddwa bwe kiti: okuva ku ntobo yaakyo okutuusa ku bimuli byakyo kyali kikoleddwa mu zaabu omukubeekube. Musa yakola ekikondo ky'ettawaaza ng'agoberera entereeza Omukama gye yali amuwadde.
5
Omukama yagamba Musa nti:
6
“Ggya Abaleevi mu Bayisirayeli obatukuze.
7
Okubatukuza ojja kukola bw'oti: Bamansire amazzi agatukuza, obagambe bamwe buli kooya konna akabaliko, booze n'engoye zaabwe, olwo obatukuze.
8
“Bagambe baleete ente ennume ento wamu n'ekitone kyakyo eky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo; ate naawe oleete ente ennume olw'ekitambiro olw'ekibi.
9
Awo oleete Abaleevi mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano, okuŋŋaanye ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
10
Abaleevi baleete mu maaso g'Omukama Abayisirayeli babateekeko emikono.
11
Aroni anaaweereza Abaleevi eri Omukama mu kitone eky'okuwuuba ekivudde mu Bayisirayeli, bwe batyo basaanire okukola omulimu gw'Omukama.
12
N'Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy'ente zombi ennume ento, emu n'ogiweereza ng'ekitambiro olw'ekibi, endala ng'ekitambiro ekyokye oddaabirize ku lwabwe.
13
Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Aroni ne batabani be, obaweereze Omukama mu kitone eky'okuwuuba,
14
bw'otyo onooyawula Abaleevi mu Bayisirayeli, babe bange,
15
ng'omaze okubatukuza n'okubaweereza mu kitone eky'okuwuuba, banaayingira ne batandika okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
16
“Bano be bampeereddwa nga baggyibwa mu Bayisirayeli; mbeerondedde okudda mu kifo ky'abaggulanda ba buli lubuto ab'Abayisirayeli.
17
Kubanga ebiggulanda byonna mu Yisirayeli ebisajja, mu bantu ne mu bisolo, byange. Ku luli lwe natta buli kiggulanda mu nsi y'e Misiri, nabyeyawulira bibeere byange.
18
Mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'Abayisirayeli, ntuttemu Abaleevi.
19
Mbatonedde Aroni ne batabani be nga mbaggya mu Bayisirayeli bonna, balyoke bampeereze mu Weema ey'Ensisinkano ku lw'Abayisirayeli, baddaabirize ku lwabwe, akabi kaleme kugwira Bayisirayeli singa baba basemberedde Ekitukuvu.”
20
Musa ne Aroni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli Abaleevi ne babakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
21
Abaleevi beetukuza, ne bayoza ebyambalo byabwe, olwo Aroni n'abaweereza eri Omukama mu kitone eky'okuwuuba, n'addaabiriza ku lwabwe okubatukuza.
22
Oluvannyuma Abaleevi bajja ku mulimu gwabwe mu Weema ey'Ensisinkano nga balagirirwa Aroni ne batabani be. Abaleevi ne babakola ng'Omukama bwe yali alagiridde Musa.
23
Omukama yagamba Musa nti:
24
“Kino kikwata ku Baleevi: abasajja abawezezza emyaka amakumi abiri mu etaano n'okweyongerayo, ba kujjanga baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
25
Bwe bawezanga emyaka amakumi ataano, bawummulanga okuweereza kwabwe, tebongeranga kukola.
26
Bakyayinza okusigala nga bakyayamba ku bannaabwe mu bisanja byabwe mu Weema ey'Ensisinkano, naye bo nga tebakyafuna bisanja. Bw'otyo bw'oba ogabira Abaleevi ebisanja byabwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36